Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Matthew 17 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Six days later, Jesus took Peter, James, and John his brother, and led them up a high mountain alone. Oluvannyuma lw’ennaku mukaaga Yesu n’atwala Peetero, ne Yakobo ne Yokaana muganda we, n’abalinnyisa ku lusozi oluwanvu.
2 He was transfigured before them: his face shone like the sun, his clothes turned white as light. N’afuusibwa nga balaba, amaaso ge ne gamasamasa ng’enjuba n’ebyambalo bye ne byeruka ne byakaayakana.
3 Suddenly, Moses and Elijah appeared to them, talking with him. Laba Musa ne Eriya ne balabika, ne boogera ne Yesu.
4 Peter said to Jesus, "Lord, it's good we're here. If you want, I'll build three shelters—one for you, one for Moses, and one for Elijah." Peetero n’agamba Yesu nti, “Mukama waffe, nga kya kitalo nnyo ffe okubeera wano! Bw’oba ng’osiimye, nzimbe wano ensiisira ssatu, emu yiyo endala ya Musa n’endala ya Eriya.”
5 While he was still speaking, a bright cloud covered them, and a voice from the cloud said, "This is my beloved Son; I delight in him. Listen to him." Bwe yali akyayogera ebyo ekire ekimasamasa ne kiva waggulu ne kibabuutikira eddoboozi ne liva mu kire ne ligamba nti, “Ono ye Mwana wange gwe njagala ennyo, era gwe nsanyukira ennyo. Mumuwulirenga.”
6 When the disciples heard it, they fell on their faces and were terrified. Abayigirizwa bwe baakiwulira ne bagwa wansi ne beevuunika nga batidde nnyo.
7 But Jesus came and touched them, "Rise, and do not be afraid." Yesu n’ajja gye bali n’abakwatako n’abagamba nti, “Mugolokoke temutya.”
8 When they looked up, they saw only Jesus. Bwe babbulula amaaso, baalabawo Yesu yekka!
9 Descending the mountain, Jesus ordered them, "Tell no one the vision until the Son of Man is raised from the dead." Bwe baali baserengeta olusozi, Yesu n’abakuutira nti, “Ebyo bye mulabye temubibuulirako omuntu n’omu okutuusa Omwana w’Omuntu lw’alimala okuzuukira mu bafu.”
10 The disciples asked him, "Then why do the scribes say that Elijah must come first?" Abayigirizwa ne bamubuuza nti, “Kale lwaki abannyonnyozi b’amateeka bagamba nti, Eriya kimugwanira okumala okujja?”
11 He answered, "Elijah does come, and he will restore all things. Yesu n’abaddamu nti, “Weewaawo, Eriya alijja n’azzaawo ebintu byonna.
12 But I tell you, Elijah has already come, and they didn't recognize him, but treated him as they pleased. So too the Son of Man is about to suffer at their hands." Naye mbagamba nti, Eriya yajja dda, naye tebaamutegeera, era naye ne bamukola buli kye baayagala. Bw’atyo n’Omwana w’Omuntu anaatera okubonyaabonyezebwa.”
13 Then the disciples understood that he was speaking to them about John the Baptist. Awo abayigirizwa be ne bategeera nti yali ayogera ku Yokaana Omubatiza.
14 And when they came to the crowd, a man came up to him, kneeling before him, Awo bwe yatuuka awaali ekibiina, omusajja n’ajja gy’ali n’afukamira we yali, n’amugamba nti,
15 and saying, "Lord, have mercy on my son, for he has seizures and suffers terribly, often falling into fire, often into water. “Mukama wange, ssaasira mutabani wange, kubanga mulwadde agwa ensimbu, era zimubonyaabonya nnyo kubanga emirundi mingi zimusuula mu muliro ne mu mazzi.
16 And I brought him to your disciples, and they could not heal him." Bwe namuleese eri abayigirizwa bo tebasobodde kumuwonya.”
17 Jesus answered, "Unfaithful, twisted generation! How long must I remain with you, how long put up with you? Bring him here to me." Yesu n’addamu nti, “Mmwe omulembe ogutalina kukkiriza omubi. Ndituusa ddi okubeera nammwe? Ndibagumiikiriza kutuusa ddi? Kale mumundeetere wano.”
18 And Jesus rebuked the demon, and it came out of him, and the boy was healed instantly. Yesu n’aboggolera dayimooni, n’ava ku mulenzi, omulenzi n’awona mu kiseera ekyo.
19 Then the disciples came to Jesus privately and said, "Why could we not cast it out?" Awo oluvannyuma abayigirizwa ne bajja eri Yesu mu kyama ne bamubuuza nti, “Lwaki ffe tetwasobodde kugoba dayimooni oyo?”
20 He said to them, "Because your faith is small. Truly I tell you: with faith like a mustard seed, you will tell this mountain, 'Move from here to there,' and it will move. Nothing will be impossible for you." Yesu n’abaddamu nti, “Olw’okukkiriza kwammwe okutono. Kubanga ddala ddala mbagamba nti, bwe muba n’okukkiriza okufaanana ng’akaweke ka kaladaali, mwandiyinzizza okugamba olusozi luno nti, ‘Vvaawo wano,’ era ne luvaawo era tewandibaddewo kye mulemwa.
21 Not in this edition Naye kyokka dayimooni ow’engeri eno tagobeka awatali kusaba na kusiiba.”
22 While gathering in Galilee, Jesus told them, "The Son of Man is about to be handed over to men, Ne bakuŋŋaanira mu Ggaliraaya, Yesu n’abagamba nti, “Omwana w’Omuntu anaatera okuliibwamu olukwe aweebweyo mu mikono gy’abantu
23 they will kill him, and on the third day he will be raised." They were deeply grieved. abalimutta, kyokka ku lunaku olwokusatu alizuukizibwa.” Abayigirizwa be ne banakuwala nnyo.
24 Arriving in Capernaum, the temple tax collectors approached Peter and asked, "Doesn't your teacher pay the temple tax?" Bwe baatuuka e Kaperunawumu abasolooza b’omusolo gwa Yeekaalu babiri ne bajja eri Peetero ne bamubuuza nti, “Mukama wammwe tawa musolo?”
25 He said, "Yes." When he entered the house, Jesus spoke first: "What do you think, Simon? From whom do earthly kings collect tolls or taxes—from their own sons, or from others?" Peetero n’abaddamu nti, “Awa!” Peetero n’ayingira mu nnyumba. Naye Yesu n’amwesooka n’amubuuza nti, “Olowooza otya Simooni, bakabaka b’ensi basolooza omusolo ku bantu baabwe abatuuze oba ku bannamawanga be baba bawangudde?”
26 And when Peter said, "From others," Jesus said to him, "Then the sons are free." Peetero n’addamu nti, “Basolooza ku bannamawanga.” Yesu n’amugamba nti, “Kale bannansi bo ba ddembe.”
27 "But so we don't offend them, go to the sea, cast a hook, and take the first fish that comes up. Open its mouth and you'll find a coin. Take it and give it to them for me and you." “Naye obutabanyiiza, genda ku nnyanja osuulemu eddobo, ekyennyanja ky’onoosooka okukwasa okyasamye akamwa. Mu kamwa kaakyo onoolabamu esutateri, ozitwale oziweeyo osasule omusolo gwange n’ogugwo.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]