Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Matthew 16 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 The Pharisees and Sadducees came to test him, asking him to show them a sign from heaven. Awo Abafalisaayo n’Abasaddukaayo ne bajja eri Yesu okumugezesa nga bamusaba akabonero akava mu ggulu.
2 He replied, "When evening comes, you say, 'The weather will be fair, for the sky is red.' Naye Yesu n’abaddamu nti, “Obudde bwe buwungeera mugamba nti, obudde bujja kuba bulungi kubanga eggulu limyuse nnyo.
3 "And in the morning, 'Stormy today, for the sky is red and gloomy.' You know how to read the sky's face, but can't read the times' signs. Ate eggulu bwe limyuka ku nkya mumanya nti olunaku lwonna obudde bujja kwefuukuula. Mumanyi bulungi endabika y’eggulu n’okwawula ebiseera, naye lwaki temusobola kutegeera bubonero bwa biro?
4 "An evil, unfaithful generation seeks a sign; no sign will be given except the sign of Jonah." Then he left them and went away. Mmwe ab’omulembe omwonoonefu era omwenzi musaba akabonero naye temuliweebwa kabonero okuggyako aka Yona.” Yesu n’abaviira n’agenda.
5 When the disciples crossed to the other side, they had forgotten to bring bread. Abayigirizwa bwe baasomoka okuva emitala w’eri ne beerabira okuleeta emigaati.
6 Jesus said to them, "Watch out and beware of the yeast of the Pharisees and Sadducees." Naye Yesu n’abagamba nti, “Mwekuume ekizimbulukusa ky’Abafalisaayo n’Abasaddukaayo.”
7 They discussed this among themselves and said, "It is because we brought no bread." Naye Abayigirizwa ne boogeraganya bokka ne bokka nti, “Ayogedde bw’atyo kubanga tetwaleese migaati.”
8 Aware of this, Jesus said, "Why discuss among yourselves, you of little faith, that you have no bread? Yesu bwe yamanya ebirowoozo byabwe n’abagamba nti, “Mmwe abalina okukkiriza okutono lwaki mweraliikirira nga mugamba nti, ‘temulina mmere?’
9 Still, don't you understand? Don't you remember the five loaves for the 5,000, and how many baskets you collected? Era temunnategeera wadde okujjukira emigaati etaano abantu enkumi ettaano gye baalya, n’ebisero bye mwakuŋŋaanya ebyafikkawo?
10 "Or the seven loaves for the 4,000, and how many baskets you gathered? Era n’emigaati omusanvu abantu enkumi ennya gye baalya n’ebisero bye mwakuŋŋaanya ebyafikkawo?
11 "Why don't you understand I wasn't talking to you about bread? Watch out for the yeast of the Pharisees and Sadducees." Kale lwaki temutegeera nti mbadde ssoogera ku migaati? Naye mwekuume ekizimbulukusa eky’Abafalisaayo n’Abasaddukaayo.”
12 Then they understood that he had not told them to beware of the yeast in bread, but of the Pharisees' and Sadducees' teaching. Ne balyoka bategeera nti yali tayogera ku kizimbulukusa kya migaati naye yali ayogera ku njigiriza y’Abafalisaayo n’Abasaddukaayo.
13 Arriving in the area of Caesarea Philippi, Jesus asked his disciples, "Who do people say the Son of Man is?" Awo Yesu bwe yatuuka mu kitundu kya Kayisaliya ekya Firipo n’abuuza abayigirizwa be nti, “Abantu Omwana w’Omuntu bagamba nti ye ani?”
14 They said, "Some say John the Baptist, others Elijah, still others Jeremiah or one of the prophets." Ne bamuddamu nti, “Yokaana Omubatiza, abalala nti Eriya, n’abalala nti Yeremiya oba omu ku bannabbi.”
15 He said to them, "But who do you say that I am?" Awo Yesu n’ababuuza nti, “Mmwe mundowooza kuba ani?”
16 Simon Peter replied, "You are the Christ, the Son of the living Father." Simooni Peetero n’addamu nti, “Ggwe Kristo, Omwana wa Katonda omulamu.”
17 Jesus replied, "Simon son of Jonah, you are blessed—flesh and blood didn't reveal this to you, but my Father in heaven. Yesu n’amugamba nti, “Olina omukisa Simooni, omwana wa Yona, kubanga ekyo Kitange ali mu ggulu y’akikubikkulidde, so tokiggye mu bantu.
18 "And I tell you: you are Peter, and on this rock I will build my church; the gates of the grave will not overpower it. Era nkutegeeza nti, Ggwe Peetero, olwazi, era ku lwazi okwo kwe ndizimba Ekkanisa yange, n’amaanyi gonna aga Setaani tegaligiwangula.
19 "I will give you the keys of our Father's kingdom; whatever you bind on earth will have been bound in heaven, and whatever you release on earth will have been released in heaven." Era ndikuwa ebisumuluzo by’obwakabaka obw’omu ggulu; era kyonna ky’onoosibanga ku nsi, ne mu ggulu kinaasibwanga, na buli ky’onoosumululanga ku nsi, ne mu ggulu kinaasumululwanga.”
20 Then he strictly ordered the disciples to tell no one that he was the Christ. Awo n’akuutira abayigirizwa be baleme kubuulirako muntu n’omu nti Ye Kristo.
21 From then on, Jesus began telling his disciples he must go to Jerusalem, suffer much from the elders, chief priests, and scribes, be killed, and be raised on the third day. Okuva mu kiseera ekyo Yesu n’atandika okunnyonnyola abayigirizwa be nga bwe kimugwanidde okugenda e Yerusaalemi, abakulembeze b’Abayudaaya ne bakabona abakulu, n’abannyonnyozi b’amateeka bamubonyeebonye, era bamutte; naye ku lunaku olwokusatu azuukire.
22 Peter took him aside and rebuked him: "Never, Lord! This will never happen to you." Peetero n’amuzza ebbali n’atandika okumunenya ng’amugamba nti, “Katonda akulage ekisa Mukama waffe. Bino tebirikutuukako.”
23 But he turned and told Peter, "Get behind me, Satan! You are an obstacle to me, because you're not thinking about what our Father cares about, but what people care about." Naye Yesu n’akyukira Peetero n’amugamba nti, “Dda ennyuma wange Setaani. Oli kyesittaza gye ndi, kubanga tolowoozeza bintu bya Katonda wabula olowooza bintu bya bantu.”
24 Then Jesus told his disciples, "Whoever wants to come after me must deny himself, take up his cross, and follow me. Awo Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Omuntu bw’ayagala okungoberera asaana yeefiirize yekka, yeetikke omusaalaba gwe alyoke angoberere.
25 "For whoever wants to save his life will lose it, but whoever loses his life for my sake will find it. Kubanga buli agezaako okuwonya obulamu bwe alibufiirwa, oyo alifiirwa obulamu bwe ku lwange alibuwonya.
26 "What good is it if a person gains the whole world but loses his soul? Or what can a person give in exchange for his soul? Kigasa ki omuntu okufuna ensi yonna naye n’afiirwa obulamu bwe? Oba kiki omuntu kyayinza okuwaayo olw’obulamu bwe?
27 "For the Son of Man is about to come in his Father's glory with his angels, and will then repay each person according to what they have done. Kubanga Omwana w’Omuntu anaatera okujja mu kitiibwa kya Kitange ne bamalayika be alyoke asasule buli muntu ng’ebikolwa bye bwe byali.
28 "Truly I tell you: some standing here will not taste death until they see the Son of Man coming in his kingdom." “Ddala ddala mbagamba nti ku mmwe abali wano kuliko abatalirega ku kufa okutuusa lwe baliraba Omwana w’Omuntu ng’ajja n’obwakabaka bwe.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]