Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Matthew 15 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Then Pharisees and scribes came to Jesus from Jerusalem and said, Awo Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka ne bava e Yerusaalemi ne bajja eri Yesu ne bamubuuza nti:
2 "Why do your disciples break the elders' tradition? They don't wash their hands when they eat." “Abayigirizwa bo lwaki banyoomoola obulombolombo bw’Abakadde? Kubanga tebanaaba mu ngalo nga bagenda okulya emmere.”
3 He answered, "Why do you also break our Father's commandment for your tradition? Naye Yesu naye n’ababuuza nti, “Lwaki mumenya amateeka ga Katonda, nga mwerimbika mu bulombolombo bwammwe?
4 For our Father said, 'Honor your father and your mother,' and, 'Whoever curses father or mother must surely be put to death.' Katonda yagamba nti, ‘Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa. Oyo anaavumanga kitaawe ne nnyina battanga mutte,’
5 But you say, 'Whoever tells his father or mother, "Whatever you gained from me is a gift devoted to our Father," Naye mmwe mugamba nti, Buli agamba kitaawe oba nnyina nti, ‘Ekirabo kye nandikuwadde nkiwaddeyo eri Katonda,’ omuntu oyo teyeetaaga kussaamu kitaawe kitiibwa.
6 he need not honor his father with it.' You've canceled our Father's word for your tradition's sake. Noolwekyo tassaamu kitaawe oba nnyina kitiibwa. Bwe mutyo ne mudibya etteeka lya Katonda olw’obulombolombo bwammwe.
7 You hypocrites! Isaiah prophesied rightly about you when he said: Mmwe bannanfuusi! Nnabbi Isaaya yayogera bulungi ebyobunnabbi ebibakwatako bwe yagamba nti,
8 'This people honors me with their lips, but their heart is far from me; “ ‘Abantu bano banzisaamu ekitiibwa kya ku mimwa.’ Naye emitima gyabwe gindi wala.
9 they worship me in vain, teaching the commandments of men as doctrine.'" ‘Okusinza kwabwe kwa bwereere. Kubanga bayigiriza amateeka abantu ge beekoledde.’ ”
10 Then he called the crowd to him and said, "Listen and understand: Yesu n’ayita ekibiina n’abagamba nti, “Mumpulirize era mutegeere.
11 Not what enters the mouth makes a person unclean, but what comes out of the mouth makes a person unclean." Omuntu ky’alya si kye kimwonoonyesa, wabula ekyo ekiva mu kamwa ke, kye kimwonoonyesa.”
12 Then the disciples came to him and said, "Do you know the Pharisees were offended hearing this saying?" Abayigirizwa be ne bajja gy’ali ne bamugamba nti, “Omanyi ebigambo byo nga bwe binyiizizza Abafalisaayo?”
13 He replied, "Every plant my heavenly Father didn't plant will be uprooted. Naye Yesu n’addamu nti, “Buli kisimbe Kitange ali mu ggulu ky’ataasimba kigenda kusimbulwa.
14 Leave them; they are blind guides. If a blind man guides a blind man, both fall into a pit." Noolwekyo mubaleke. Bakulembeze abazibe b’amaaso. Bafaanana omuzibe w’amaaso akulembera muzibe munne, kubanga bombi bagenda kugwa mu kinnya.”
15 Peter said to him, "Explain this parable to us." Peetero n’amugamba nti, “Tunnyonnyole olugero olwo.”
16 "Are you still as dull as the others?" Jesus said. Yesu n’abagamba nti, “Nammwe era temunnategeera?
17 "Don't you understand that whatever enters the mouth passes into the stomach and is then expelled? Temumanyi nti buli muntu ky’alya kigenda mu lubuto mwe kiva n’akifulumiza mu kiyigo?
18 But what comes out of the mouth comes from the heart, and that makes a person unclean. Naye ebintu ebiva mu kamwa, biva mu mutima ne byonoona omuntu.
19 For the heart produces evil thoughts: murder, adultery, sexual sin, theft, false testimony, slander. Kubanga mu mutima mwe muva ebirowoozo ebibi, obussi, n’obwenzi, eby’obukaba, n’obubbi, n’okuwaayiriza, n’okuvvoola.
20 These make a person unclean, but eating with unwashed hands does not make anyone unclean." Ebyo bye byonoona omuntu, naye okulya nga tonaabye mu ngalo, tekwonoona muntu.”
21 Leaving that place, Jesus withdrew to the region of Tyre and Sidon. Yesu n’ava mu kifo ekyo, n’agenda mu kitundu omuli ebibuga Ttuulo ne Sidoni.
22 A Canaanite woman from that region came, crying out, "Have mercy on me, Lord, Son of David! My daughter is severely tormented by a demon." Awo omukazi Omukanani eyali abeera mu bitundu ebyo, n’ajja eri Yesu n’amwegayirira nti, “Onsaasire Mukama wange, Omwana wa Dawudi! Muwala wange aliko dayimooni amubonyaabonya nnyo.”
23 He answered her nothing. His disciples came and urged him, "Send her away—she keeps shouting after us." Naye Yesu n’asirika n’atamuddamu kigambo na kimu. Abayigirizwa be ne bajja ne bamugamba nti, “Bw’omugoba n’agenda. Ng’ayitirizza okutukaabirira.”
24 He answered, "I was sent only to the lost sheep of the house of Israel." Naye Yesu n’addamu omukazi nti, “Nze saatumibwa walala wonna, wabula eri endiga za Isirayiri ezaabula.”
25 But she came and knelt before him, saying, "Lord, help me!" Naye omukazi n’asembera awali Yesu n’amusinza, n’amwegayirira ng’agamba nti, “Mukama wange, nnyamba.”
26 He replied, "It is not right to take the children's bread and throw it to the dogs." Yesu n’amuddamu nti, “Si kituufu okuddira emmere y’omwana okugisuulira embwa.”
27 "Yes, Lord," she said, "yet even the dogs eat the crumbs that fall from their masters' table." Omukazi n’addamu nti, “Weewaawo, Mukama wange, naye n’embwa nazo zirya ku bukunkumuka obugwa wansi okuva ku mmeeza ya mukama waazo.”
28 Jesus replied, "Woman, your faith is great. Let it happen as you wish." And her daughter was healed from that hour. Awo Yesu n’amugamba nti, “Mukazi watu, ng’okukkiriza kwo kunene! Kale kikukolerwe nga bw’oyagala.” Amangwago muwala we n’awonera mu kiseera ekyo.
29 Leaving there, Jesus went along the Sea of Galilee, went up the mountain, and sat down there. Yesu n’avaayo n’ajja emitala okumpi n’ennyanja y’e Ggaliraaya n’alinnya ku lusozi n’atuula eyo.
30 Large crowds came to him with the lame, blind, crippled, mute, and many others, laying them at his feet, and he healed them. Abantu bangi ne bajja gy’ali, ne bamuleetera, abakoozimbye, n’abatayogera n’abalala bangi ne babassa we yali n’abawonya.
31 So the crowd was amazed, seeing the mute speak, the crippled healed, the lame walk, and the blind see; they gave glory to the Father of Israel. Abantu bangi ne beewuunya, nga balaba ababadde batayogera nga boogera, n’ababadde bakoozimbye nga bawonye, n’ababadde abalema nga batambula, n’ababadde abazibe b’amaaso nga balaba. Ne bagulumiza Katonda wa Isirayiri.
32 Jesus called his disciples to him and said, "I feel for this crowd—they've already been with me three days with nothing to eat. I don't want to send them away hungry; they might collapse on the road." Awo Yesu n’ayita abayigirizwa be n’abagamba nti, “Abantu bano mbasaasira, kubanga baakamala nange ennaku ssatu ate tebalina kyakulya. Ssaagala kubasiibula ne bagenda enjala, si kulwa nga bagwa ku kkubo.”
33 The disciples asked, "Where in this remote place could we find enough bread to feed such a crowd?" Abayigirizwa ne bamugamba nti, “Wano mu ddungu tunaggya wa emigaati emingi gye tunaaliisa abantu abangi bwe bati?”
34 "How many loaves do you have?" Jesus asked. "Seven," they said, "and a few small fish." Yesu n’ababuuza nti, “Mulinawo emigaati emeka?” Ne bamuddamu nti, “Tulinawo emigaati musanvu n’ebyennyanja bitono.”
35 So he told the crowd to sit down on the ground. Yesu n’alagira abantu bonna batuule wansi,
36 And he took the seven loaves and fish, gave thanks, broke them, gave them to the disciples, and they gave them to the crowds. n’addira emigaati omusanvu n’ebyennyanja, bwe yamala okwebaza, n’abimenyaamenyamu, n’awa abayigirizwa be ne batandika okugabula ekibiina.
37 They all ate and were satisfied, and they gathered up seven baskets full of the leftover pieces. Buli muntu n’alya n’akkuta. Ne babukuŋŋaanya obutundutundu obwasigalawo ne bujjuza ebisero musanvu.
38 Those who ate were 4,000 men, besides women and children. Abaalya baawera abasajja enkumi nnya nga totaddeeko bakazi na baana.
39 After sending the crowds away, he boarded the boat and went to the region of Magadan. Awo Yesu n’asiibula ekibiina, n’asaabala mu lyato n’agenda mu nsalo y’e Magadani.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]