Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Matthew 14 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 At that time Herod the tetrarch heard the reports about Jesus. Mu kiseera ekyo Kabaka Kerode bwe yawulira ettutumu lya Yesu
2 He told his attendants, "This is John the Baptist, raised from the dead—that's why these powers are at work in him." n’agamba abaweereza be nti, “Oyo ye Yokaana Omubatiza azuukidde mu bafu, era y’akola eby’amagero.”
3 For Herod had arrested John, chained him, and locked him in prison over Herodias, his brother Philip's wife, Kuba Kerode yali amaze okukwata Yokaana n’amussa mu kkomera, kubanga Yokaana yamunenya olwa Kerodiya muka Firipo muganda we,
4 because John had been telling him, "It is not lawful for you to have her." kubanga Yokaana yagamba Kerode nti, “Si kituufu okusigula muka muganda wo n’omufuula owuwo.”
5 Herod wanted to kill him but feared the crowd, since they held John as a prophet. Kerode yali ayagala kumutta naye n’atya abantu kubanga baalowooza Yokaana okuba nnabbi.
6 But when Herod's birthday came, the daughter of Herodias danced before them and pleased Herod, Olunaku lw’amazaalibwa ga Kerode bwe lwatuuka muwala wa Kerodiya n’azina nnyo ku mbaga n’asanyusa nnyo Kerode.
7 so he promised with an oath to give her whatever she asked. Awo Kerode n’asuubiza omuwala ng’alayira okumuwa kyonna ky’anaamusaba.
8 Prompted by her mother, she said, "Give me John the Baptist's head here, on a platter." Naye bwe yaweebwa nnyina amagezi, n’agamba nti, “Mpeera wano omutwe gwa Yokaana Omubatiza ku lusaniya.”
9 The king was grieved, but because of his oaths and his dinner guests, he gave the order, Ekintu ekyo ne kinakuwaza nnyo kabaka. Naye olwokubanga yali yakisuubiza mu maaso g’abagenyi be, kyeyava alagira bagumuleetere.
10 and he sent and had John beheaded in the prison. Ne bagenda mu kkomera, ne batemako Yokaana omutwe
11 His head was brought on a platter, given to the girl, who brought it to her mother. ne baguleetera ku lusaniya ne baguwa omuwala, naye n’agutwalira nnyina.
12 Then John's disciples came, took the body, and buried it; and they went and told Jesus. Abayigirizwa ba Yokaana ne banonayo omulambo gwe ne bagutwala ne baguziika, ne balyoka bagenda ne babikira Yesu.
13 Hearing this, Jesus withdrew by boat to a remote place alone. But the crowds heard and followed him on foot from the towns. Yesu bwe yabiwulira ebyo, n’asaabala mu lyato, n’abaako gy’alaga abeere yekka mu kyama. Naye abantu bangi nnyo bwe baakiwulira ne bava mu bibuga bingi, ne beekooloobya, ne bamugoberera nga bayita ku lukalu.
14 When he went ashore, he saw a big crowd, felt compassion for them, and healed their sick. Yesu bwe yava eyo n’alaba, abantu bangi n’abasaasira n’awonya abalwadde baabwe.
15 When evening came, the disciples said to him, "This is an isolated place, and the hour is already late. Send the crowds away to go into the villages and buy themselves food." Obudde bwe bwawungeera abayigirizwa be ne bajja gy’ali ne bamugamba nti, “Laba obudde buzibye ate tuli mu ddungu, ssiibula abantu bagende beegulire emmere mu bibuga.”
16 But Jesus told them, "They don't need to leave. You feed them." Naye Yesu n’abaddamu nti, “Tekyetaagisa kubasiibula, mmwe mubawe ekyokulya.”
17 They said to him, "We have nothing here but five loaves and two fish." Ne bamuddamu nti, “Ffe tetulina kyakulya kiyinza kubamala, wabula tulinawo emigaati etaano gyokka n’ebyennyanja bibiri.”
18 He said, "Bring them here to me." N’abagamba nti, “Kale mubindetere wano.”
19 He told the crowds to sit on the grass. Taking the five loaves and two fish, he looked up to heaven, gave thanks, broke the loaves, and gave them to the disciples, who gave them to the crowds. N’alagira ekibiina kituule wansi ku muddo, n’addira emigaati etaano n’ebyennyanja ebibiri, n’atunula waggulu ne yeebaza, emigaati n’agimenyaamenyamu n’agiwa abayigirizwa ne batandika okugabula ekibiina.
20 They all ate and were satisfied, and they picked up twelve baskets full of the leftover pieces. Bonna ne balya ne bakkuta; obutundutundu obwafikkawo ne babukuŋŋaanya wamu ne bujjuza ebisero kkumi na bibiri!
21 Those who ate were about 5,000 men, besides women and children. Abantu bonna abaalya baali ng’enkumi ttaano nga totaddeeko bakazi na baana.
22 Immediately he made the disciples board the boat and go ahead of him to the other side, while he sent the crowds away. Amangwago Yesu n’alagira abayigirizwa be basaabale eryato bagende emitala w’ennyanja, ye asigale ng’akyasiibula abantu.
23 After sending the crowds away, he went up the mountain privately to pray. When evening came, he was there alone. Bwe yamala okusiibula ekibiina n’ayambuka ku lusozi yekka okusaba. Obudde ne buziba ng’ali eyo yekka.
24 The boat was already far from land, battered by waves, the wind against them. Eryato abayigirizwa mwe baali bwe lyatuuka ebuziba, omuyaga mungi ne gubafuluma mu maaso eryato ne lyesunda.
25 About three o'clock in the morning he came to them, walking on the sea. Awo ku ssaawa nga mwenda ez’ekiro, Yesu n’ajja gye bali ng’atambula ku nnyanja.
26 Seeing him walking on the sea, the disciples were terrified, saying, "A ghost!" and cried out in fear. Naye abayigirizwa bwe baamulaba ng’atambulira ku nnyanja ne batya, nga balowooza nti muzimu.
27 But Jesus spoke to them at once: "Take courage! It is I; do not be afraid." Awo amangwago Yesu n’abagamba nti, “Mugume, Nze nzuuno temutya.”
28 Peter answered him, "Lord, if it is you, command me to come to you on the water." Peetero n’amugamba nti, “Obanga ye ggwe ddala Mukama waffe, ndagira nange nzije gy’oli nga ntambulira ku mazzi.”
29 He said, "Come." Peter got out of the boat, walked on water, and went toward Jesus. Yesu n’amuddamu nti, “Kale jjangu.” Peetero n’ava mu lyato n’atambulira ku mazzi okugenda eri Yesu.
30 But seeing the strong wind, he was afraid, and beginning to sink, he cried out, "Lord, save me!" Naye Peetero bwe yalaba omuyaga ogw’amaanyi, n’atya n’atandika okusaanawo, n’akoowoola Yesu nti, “Mukama wange, ndokola!”
31 Jesus immediately reached out his hand, caught him, and said, "You of little faith, why did you doubt?" Amangwago Yesu n’agolola omukono gwe n’amukwata, n’amugamba nti, “Ggwe alina okukkiriza okutono, lwaki obuusizzabuusizza?”
32 And when they got into the boat, the wind died down. Bwe baalinnya mu lyato omuyaga gwonna ne guggwaawo.
33 Then those in the boat worshiped him, saying, "Truly you are the Son of our Father." N’abo abaali mu lyato ne bamusinza nga bagamba nti, “Ddala ddala oli Mwana wa Katonda!”
34 When they had crossed over, they came to land at Gennesaret. Bwe baasomoka ne bagukkira ku lukalu e Genesaleeti.
35 When the men of that place recognized him, they sent word through that whole region and brought him all who were sick. Abantu b’omu kitundu ekyo bwe baamutegeera ne batumya abalwadde bonna ne babamuleetera.
36 They begged him to let them just touch the fringe of his robe, and all who touched it were healed. Ne bamwegayirira waakiri bakomeko bukomi ku lukugiro lw’ekyambalo kye, era buli eyakomako n’awonyezebwa.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]