Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Leviticus 20 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Our Father spoke to Moses: Awo Mukama n’agamba Musa nti,
2 "Tell the Israelites: Any Israelite, or foreigner living in Israel, who gives any of his children to Molech must surely be put to death—the people of the land are to stone him with stones. “Tegeeza abaana ba Isirayiri bw’oti nti, Omuyisirayiri yenna, oba omunnaggwanga atuula mu Isirayiri, bw’anaawangayo omwana we ng’ekiweebwayo eri Moleki, kitaawe w’omwana oyo ajjanga kuttibwa. Abantu ab’omu kitundu ekyo mw’abeera banaamukubanga amayinja.
3 I myself will set my face against that man and cut him off from among his people, for giving any of his children to Molech, making my sanctuary unclean and desecrating my holy name. Nange kennyini, omuntu oyo nnaamunyiigiranga, era nnaamugobanga ne mmugaana okukolagananga ne banne, kubanga awaddeyo omu ku baana be ng’ekiweebwayo eri Moleki, n’ayonoona Awatukuvu wange era n’avumisa erinnya lyange ettukuvu.
4 If the people of the land turn a blind eye when that man gives any of his offspring to Molech, and do not put him to death, Era abantu ab’omu kitundu ekyo mw’abeera, bwe banaamuzibiranga ku liiso, omuntu oyo awaddeyo omwana we eri Moleki, ne batamutta,
5 I will set my face against that man and his family, and cut him off—with all who follow him in prostitution to Molech—from among their people. omuntu oyo nnaamunyiigiranga, ne ku b’omu nnyumba ye, ne mbagoba ne mbagaana okukolagananga ne bannaabwe, ye ne banne abakolaganye naye mu kukuba obwamalaaya ne Moleki.
6 "Whoever turns to mediums or spiritists, prostituting themselves after them, I will set my face against that person and cut them off from among their people. “ ‘Omuntu bw’anaakolagananga n’abasamize, n’abalogo, n’akuba nabo obwamalaaya, nnaamunyiigiranga, era nnaamugobanga ne mugaana okukolagana ne banne.
7 "Set yourselves apart, therefore, and be holy, for I am your Father. “ ‘Noolwekyo mwetukuze mubeerenga batukuvu, kubanga Nze Mukama Katonda wammwe.
8 Keep my statutes and do them. I am your Father who makes you holy. Mukwatenga amateeka gange, mugagobererenga. Nze Mukama abatukuza.
9 "Whoever curses his father or his mother must be put to death; he has cursed his father or his mother—his blood is on him. “ ‘Omuntu yenna anaakolimiranga kitaawe oba nnyina wa kuttibwanga. Noolwekyo akolimidde kitaawe oba nnyina, omusaayi gwe gunaabanga ku mutwe gwe.
10 "If a man commits adultery with another man's wife—his neighbor's wife—both adulterer and adulterous woman must surely be put to death. “ ‘Omusajja bwanaayendanga ku muka omusajja, bombi, omusajja ayenze n’omukazi gw’ayenzeeko banattibwanga.
11 "A man who sleeps with his father's wife has exposed his father's nakedness; both must be put to death; their blood is on them. “ ‘Omusajja bw’aneebakanga ne muka kitaawe, anaabanga aweebudde kitaawe. Bombi omusajja n’omukazi banattibwanga; omusaayi gwabwe gunaabanga ku mitwe gyabwe.
12 "If a man sleeps with his daughter-in-law, both must be put to death; they have done a perversion; their blood is on them. “ ‘Omusajja bw’aneebakanga ne muka mutabani we, bombi banattibwanga. Kubanga bombi banaabanga bakoze ebyambyone; omusaayi gwabwe gunaabanga ku mitwe gyabwe.
13 "If a man lies with a male as with a woman, both have done a detestable thing; they must surely be put to death; their blood is on them. “ ‘Omusajja bw’aneebakanga ne musajja munne nga bwe yandyebase n’omukazi, bombi banaabanga bakoze eky’ekivve; era banattibwanga, n’omusaayi gwabwe gunaabanga ku mitwe gyabwe.
14 "If a man takes a woman and her mother, that is evil; burn him and them with fire, so no evil remains among you. “ ‘Omusajja bw’anaawasanga omukazi ate n’atwalirako ne nnyina, ekyo kya kivve. Ye n’abakazi bombi banaayokebwanga mu muliro, bwe mutyo ekyonoono ekyo ne mukyegobako.
15 "If a man has sex with an animal, he must be put to death, and you must kill the animal. “ ‘Omusajja bw’anaakolanga eby’ensonyi ku nsolo, anattibwanga, era n’ensolo munaagittanga.
16 "If a woman approaches any animal to mate with it, kill the woman and the animal; both must be put to death; their blood is on them. “ ‘Omukazi bw’anaasembereranga ensolo alyoke akole nayo eby’ensonyi, mumuttanga n’ensolo ne mugitta. Omukazi anattibwanga n’ensolo nettibwa; omusaayi gw’omukazi gunaabanga ku mutwe gwe, n’ogw’ensolo gunaabanga ku mutwe gwayo.
17 "If a man marries his sister, his father's or mother's daughter, and they have sexual relations, it is a disgrace; they must be cut off before their people. He has exposed his sister; he bears his guilt. “ ‘Omusajja bw’anaawasanga mwannyina, oba nga mwanamuwala wa kitaawe, oba nga mwanamuwala wa nnyina, ne beebaka bombi, kinaabanga kya buwemu. Bombi banaagobwanga mu bannaabwe ne babagaana okukolagananga nabo. Kubanga omusajja oyo anaabanga aweebudde mwannyina, era y’aneetikkanga obuvunaanyizibwa bwonna olw’ekibi ekyo.
18 "If a man sleeps with a woman during her period, he exposes her flow, and she uncovers its source; both are cut off from their people. “ ‘Omusajja bw’aneebakanga n’omukazi mu biseera by’omukazi, ebya buli mwezi ng’empisa y’abakazi bw’eba, anaabanga abikudde ensulo y’omusaayi gw’omukazi oyo, era n’omukazi anaabanga yeebikudde. Bombi banaagobwanga mu bannaabwe ne babagaana okukolagananga nabo.
19 "Do not have sex with your mother's or father's sister—that disrespects a close relative; they will bear their guilt. “ ‘Teweebakanga na mukazi muganda wa nnyoko oba ne mwannyina wa kitaawo n’okola naye eby’ensonyi, kubanga ekyo kiweebuula owooluganda ow’okumpi. Mwembi munaavunaanyizibwanga olw’ekyonoono kyammwe ekyo.
20 A man who sleeps with his uncle's wife disrespects his uncle; they will bear their sin and die childless. “ ‘Omusajja bw’aneebakanga ne muka kitaawe omuto oba ne muka kojjaawe, anaabanga aweebudde bakadde be abo. Omusajja oyo n’omukazi oyo be baneetikkanga obuvunaanyizibwa obw’ekibi ekyo, era balifa nga tebalina baana.
21 "If a man marries his brother's wife, it is impurity; he exposed his brother's nakedness; they will be childless. “ ‘Omusajja bw’anaawasanga muka muganda we, kinaabanga ekikolwa ekitali kirongoofu, kubanga aweebudde muganda we. Tebalizaala baana.
22 "Keep all my statutes and all my rules, and do them, so the land I'm bringing you to live in won't vomit you out. “ ‘Kale nno, mukwatenga amateeka gange gonna n’ebiragiro byange byonna, era mubikolerengako, ensi mwe mbatwala okutuulanga eryoke ereme kubasesema.
23 You must not adopt the customs of the nation I am driving out before you, because they did all these things, and I detested them. Era temugobereranga mpisa ez’amawanga ge ŋŋenda ngoba mu nsi eyo; kubanga baakola ebintu ebyo byonna, noolwekyo mbakyawa nnyo.
24 I have told you: you will inherit their land; I myself will give it to you to possess, a land flowing with milk and honey. I am your Father, who set you apart from the peoples. Naye nabategeeza nti, “Mulisikira ensi yaabwe, era ndigibawa ne mugirya, ye nsi omukulukuta amata n’omubisi gw’enjuki.” Nze Mukama Katonda wammwe eyabaawula ku mawanga amalala.
25 "So distinguish clean animals from unclean, and unclean birds from clean. Do not make yourselves detestable by any animal, bird, or thing crawling on the ground that I have set apart for you as unclean. “ ‘Noolwekyo mujjanga kwawulamu ensolo ennongoofu n’etali nnongoofu, n’ennyonyi ennongoofu n’etali nnongoofu. Temufuukanga abatali balongoofu olw’ensolo oba ennyonyi, oba ebiramu byonna ebitambula ku ttaka, bye mmaze okwawulako ne mbibategeeza nti si birongoofu.
26 Be holy to me, for I, your Father, am holy, and I have set you apart from the peoples to be mine. Kibasaanira okubeeranga abatukuvu gye ndi, kubanga Nze, Mukama, ndi mutukuvu, era mbaawudde ku mawanga amalala mubeerenga ggwanga lyange.
27 "A man or woman who is a medium or spiritist must be put to death—stoned; their blood is on them." “ ‘Omusajja oba omukazi mu mmwe anaabeeranga omusamize oba omulogo, wa kuttibwanga. Mubakubanga amayinja; era omusaayi gwabwe gunaabanga ku mitwe gyabwe.’ ”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]