Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Leviticus 21 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Our Father said to Moses: "Tell the priests, Aaron's sons: No one may make himself unclean for the dead among his people, Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Yogera ne bakabona, batabani ba Alooni, obagambe nti tewabanga omuntu eyeeretako obutali bulongoofu olw’okukwata ku mufu mu bantu be,
2 except for his closest relatives—his mother, his father, his son, his daughter, his brother, wabula ng’amulinako oluganda olw’okumpi. Gamba nga nnyina, oba kitaawe, oba mutabani we, oba muwala we, oba muganda we,
3 or his virgin sister, close to him, still unmarried—for her he may become unclean. oba mwannyina embeerera atamanyi musajja, gw’alinako obuvunaanyizibwa kubanga tabeerangako na bba, kubanga ayinza okwereetako obutali bulongoofu.
4 He must not make himself unclean as a leader among his people and desecrate himself. Kabona nga bw’ali omukulembeze, tekimusaanira kwereetako obutali bulongoofu wakati mu bantu be.
5 They must not shave their heads bald, shave off their beard edges, or gash their bodies. Bakabona tebamwangako nviiri ku mitwe gyabwe, wadde okumwako ebirevu byabwe, oba okusala emisale ku mibiri gyabwe.
6 They must be holy to their Father and not desecrate his name; they present our Father's food offerings, his bread, so they must be holy. Kibasaanira okubeeranga abatukuvu eri Katonda waabwe balemenga okuleetera erinnya lya Katonda waabwe obutali bulongoofu. Kubanga be batuusa ebiweebwayo ebyokebwa mu muliro eri Mukama, ye mmere ya Katonda waabwe, noolwekyo kibasaanira okubeeranga abatukuvu.
7 They must not marry a prostitute, one made unclean, or one divorced from her husband; the priest is holy to his Father. Tebawasanga mukazi malaaya oba atali mulongoofu, oba oyo agobeddwa ewa bba; kubanga bakabona batukuvu eri Katonda waabwe.
8 Treat him as holy—he offers your Father's bread. He is to be holy to you, for I, your Father who makes you holy, your Father who sets you apart, am holy. Mubayisenga ng’abatukuvu, kubanga be bawaayo emmere eya Katonda wammwe. Mubayisenga ng’abatukuvu; kubanga Nze Mukama atukuza mmwe, ndi mutukuvu.
9 A priest's daughter who desecrates herself by prostitution desecrates her father; she is to be burned with fire. Era omwana omuwala owa kabona bw’anaakubanga obwamalaaya, bw’atyo ne yeereetako obutali bulongoofu, anaabeeranga aleetedde kitaawe obutali bulongoofu; anaayokebwanga mu muliro.
10 The high priest, greatest among his brothers, with anointing oil poured on his head and ordained to wear the garments, must not let his hair hang loose or tear his clothes. “Kabona Asinga Obukulu, nga ye mukulembeze mu baganda be, era nga ye yafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni ku mutwe gwe, era nga yayawulibwa ayambalenga ebyambalo by’Obwakabona, tasaanira kusumululanga nviiri ze ku mutwe gwe n’azita, wadde okuyuzanga ebyambalo bye.
11 He must not go near a corpse or make himself unclean, even for his father or mother. Tayingiranga mu kifo omuli omulambo, aleme kwereetako obutali bulongoofu. Omulambo ne bwe gunaabanga ogwa kitaawe oba ogwa nnyina.
12 He must not leave the sanctuary or desecrate his Father's sanctuary; his anointing oil has dedicated him. I am your Father. Era n’ekifo kya Katonda we ekitukuvu taakivengamu oba okukireetako obutali bulongoofu, kubanga yayawulibwa bwe yafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni ga Katonda we. Nze Mukama Katonda.
13 He is to marry only a virgin. Anaawasanga omukazi mbeerera atamanyanga musajja.
14 He may not marry a widow, divorced woman, or woman made unclean by prostitution—only a virgin from his own people. Tawasanga nnamwandu, oba omukazi bba gwe yagoba, oba omukazi eyeereeseeko obutali bulongoofu olw’okukuba obwamalaaya; naye anaawasanga omukazi embeerera ng’amuggya mu bantu be;
15 So he won't desecrate his offspring among his people, for I, your Father, make him holy—his Father who sets him apart." aleme okuleetera ezzadde lye obutali bulongoofu wakati mu bantu be. Kubanga Nze Mukama Katonda amutukuza.”
16 And our Father said to Moses: Awo Mukama n’agamba Musa nti,
17 "Speak to Aaron: no descendant of yours, in any generation, who has a defect may approach to offer his Father's food. “Tegeeza Alooni nti mu zadde lye, okuyita mu mirembe gyonna, bwe munaabangamu omuntu aliko akamogo ku mubiri gwe taasemberenga kuwaayo emmere ya Katonda we.
18 No man with a defect may approach: blind, lame, disfigured-faced, or deformed-limbed, Kubanga tewaabengawo muntu yenna aliko akamogo ku mubiri gwe anaasemberanga. Gamba: omuzibe w’amaaso, oba omulema, oba eyakyama ennyindo, oba eyakulako ekintu ekyasukkirira obuwanvu;
19 or a man who has a broken foot or a broken hand, oba omuntu alina ekigere ekyagongobala, oba omukono ogwalemala,
20 or a hunchback, a dwarf, an eye defect, festering sores, scabs, or crushed testicles. oba ow’ebbango, oba nakalanga, oba atalaba bulungi, oba ng’omubiri gwe gumusiiwa yeetakulatakula, oba ng’alina amabwa agakulukuta, oba nga yayabika enjagi.
21 No descendant of Aaron the priest with a defect may approach to offer our Father's food offerings; with a defect, he may not approach to offer his Father's bread. Tewaabengawo wa mu zadde lya Alooni kabona ng’aliko akamogo anakkirizibwanga okusembera okuleeta ebiweebwayo eri Mukama Katonda, ebyokebwa mu muliro. Kubanga aliko akamogo; tekiimusaanirenga kusembera n’okuwaayo ekiweebwayo eri Katonda we.
22 He may eat the bread of his Father, both the most holy and the holy things. Anaayinzanga okulya ku mmere entukuvu ennyo eya Katonda we;
23 He must not go near the veil or approach the altar, having a defect, so he won't desecrate my holy places—for I, your Father, make them holy, their Father who sets them apart." naye olwokubanga aliko akamogo ku mubiri gwe, taasaanirenga kusemberera ggigi, oba okulaga okumpi n’ekyoto, n’aleetera ebifo byange ebitukuvu obutali bulongoofu. Kubanga Nze Mukama Katonda abitukuza.”
24 So Moses spoke this to Aaron and his sons and to all the people of Israel. Bw’atyo Musa n’ategeeza Alooni ne batabani be, awamu n’abaana bonna aba Isirayiri ebigambo ebyo byonna.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]