Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Leviticus 22 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Then our Father said to Moses, Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
2 "Tell Aaron and his sons to be careful with the holy offerings Israel's people dedicate to me, so they don't desecrate my holy name. I am your Father. “Tegeeza Alooni ne batabani be bassengamu ekitiibwa ebiweebwayo abaana ba Isirayiri bye bandeetera, ebyawuliddwa, bwe batyo balemenga okuvumisa erinnya lyange. Nze Mukama Katonda.
3 "Tell them: In every generation, any descendant of yours who is unclean and approaches the holy offerings Israel's people dedicate to me will be cut off from my presence. I am your Father. Era bagambe nti, Omuntu yenna ow’omu zadde lyabwe mu mirembe gyonna eginajjanga giddiriragana bw’ataabenga mulongoofu, naye n’asemberera ebiweebwayo ebyawuliddwa ebitukuvu, abaana ba Isirayiri bye banaabanga baleese eri Mukama Katonda, omuntu oyo anaagoberwanga ddala n’ava mu maaso gange. Nze Mukama Katonda.
4 "No descendant of Aaron with a skin disease or discharge may eat the holy offerings until clean. Whoever touches something unclean from a corpse, or a man who has a semen emission, Omuntu yenna ow’omu zadde lya Alooni alina obulwadde obukwata oba alwadde ekikulukuto taalyenga ku biweebwayo ebitukuvu okutuusa ng’afuuse omulongoofu. Omuntu yenna taabenga mulongoofu bw’anaakwatanga ku kintu kyonna ekitali kirongoofu ekivudde ku kukolagana n’omusajja eyavuddemu amazzi g’obusajja, oba olw’okukomako ku mulambo,
5 or touches any swarming creature that makes him unclean, or a person who makes him unclean, whatever his uncleanness. oba okukwata ku kyekulula ekiyinza okumufuula atali mulongoofu, oba okukoma ku muntu ayinza okumusiiga obutali bulongoofu, oba engeri yonna ey’obutali bulongoofu bw’efa yenkana.
6 Whoever touches it is unclean until evening and must not eat the holy offerings unless he has washed his body in water. Omuntu ng’oyo taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi. Taalyenga ku biweebwayo ebitukuvu wabula ng’amaze okunaaba yenna mu mazzi.
7 At sunset he is clean; then he may eat the holy offerings, for it is his food. Enjuba bw’eneebanga egudde anaabeeranga mulongoofu; n’oluvannyuma anaalyanga ku biweebwayo ebitukuvu ebyo, kubanga ye mmere ye.
8 He must not eat anything dead or torn by wild animals, for that makes him unclean. I am your Father. Taalyenga ku kintu kyonna ekinaabanga kifudde obufi, oba ekinaabanga kitaaguddwataaguddwa ebisolo, kubanga kinaamufuulanga atali mulongoofu. Nze Mukama.
9 Priests must keep my instructions, or bear guilt and die for treating them with contempt. I am your Father, who makes them holy. Bwe batyo bakabona kibagwanira okukuumanga ebiragiro byange, balemenga okwereetako omusango ne bafa olw’okubigayaaliriranga. Nze Mukama Katonda abatukuza.
10 "No outsider may eat the holy offering; no guest or hired worker of a priest may eat it. “Omuntu yenna atali wa mu lulyo lwa kabona, ne bw’anaabanga omugenyi we, oba omupakasi we, taalyenga ku biweebwayo ebyo ebitukuvu.
11 But if a priest buys a slave with his own money, that slave may eat it; those born in the priest's house may eat his food. Naye kabona bw’aneeguliranga omuddu n’ensimbi, oba omuddu bw’anaazaalirwanga mu nnyumba ya kabona, omuddu oyo anaalyanga ku mmere eyo.
12 If a priest's daughter marries a non-priest, she may not eat the holy contributions. Omwana owoobuwala owa kabona bw’anaafumbirwanga omusajja atali kabona, talyenga ku biweebwayo ebyo ebitukuvu.
13 But if a priest's daughter is widowed or divorced, has no child, and returns to her father's house as in her youth, she may eat her father's food. No outsider may eat it. Naye singa muwala wa kabona afuuka nnamwandu, oba singa ayawukanira ddala ne bba, kyokka nga talina mwana, n’akomawo okubeeranga mu nnyumba ya kitaawe nga bwe yakolanga ng’akyali muvubuka, anaalyanga ku mmere ya kitaawe. Omuntu yenna atakwatibwako mizizo egyo taalyenga ku mmere eyo.
14 "Anyone who eats a holy offering by mistake must add a fifth of its value and give it to the priest. Era omuntu bw’anaalyanga ku kiweebwayo ekitukuvu nga tagenderedde, anaaleetanga ekitundu kimu kyakutaano eky’ekiweebwayo ekyo, n’akigatta ku kiweebwayo ekyo, kyonna n’akikwasa kabona.
15 Priests must not desecrate the holy offerings Israel's people present to me, Bakabona tebavumisanga bintu bitukuvu abaana ba Isirayiri bye banaawangayo eri Mukama,
16 and bring guilt requiring payment on them by their eating their holy offerings. For I am your Father, who makes them holy." nga babakkiriza okulyanga ku biweebwayo byabwe ebitukuvu, bwe batyo ne babateekesaako omusango ogunaabaweesanga ekibonerezo. Nze Mukama Katonda abatukuza.”
17 Then our Father said to Moses, Awo Mukama n’agamba Musa nti,
18 "Tell Aaron, his sons, and all Israelites: When any of you—native-born or a foreigner living in Israel—brings a burnt offering to me, to fulfill a vow or as a voluntary gift. “Tegeeza Alooni ne batabani be n’abaana ba Isirayiri bonna, obagambe nti, Omuntu yenna ow’omu nnyumba ya Isirayiri omu ku mmwe, oba omunnaggwanga abeera mu Isirayiri, bw’anaaleeteranga Mukama Katonda ekirabo eky’ekiweebwayo ekyokebwa okutuukiriza obweyamo bwe, oba ekiweebwayo olw’okweyagalira,
19 Present a male without defect from cattle, sheep, or goats, so it's accepted for you. kinaateekwanga okubeera sseddume ey’ente oba ey’endiga, oba ey’embuzi etaliiko kamogo, ekirabo ekyo kiryokenga kikkirizibwe.
20 Do not present anything with a defect, because it will not be accepted on your behalf. Temuwangayo kintu kyonna ekiriko akamogo kubanga tekikkirizibwenga.
21 When anyone brings a peace offering to me from herd or flock to fulfill an extraordinary vow or as a freewill offering, it must be flawless to be accepted—no defect in it. Omuntu yenna bw’anaaleetanga ekiweebwayo eri Mukama Katonda olw’emirembe, oba okutuukiriza obweyamo, oba ekiweebwayo olw’okweyagalira, ng’akiggya mu kiraalo oba mu kisibo, okukkirizibwa kinaabeeranga ekituukiridde nga tekiriiko kamogo.
22 Do not offer me anything blind, broken, maimed, wart-covered, scabbed, or oozing. Do not put any of these on the altar as a food offering to me. Temuwangayo eri Mukama Katonda ensolo enzibe y’amaaso, oba eriko obuvune, oba ennema oba egongobadde, oba ezimbyezimbye ku mubiri, oba eriko amabwa agakulukuta. Ezo temuziwangayo ku kyoto eri Mukama Katonda ng’ekiweebwayo ekyokebwa.
23 You may present an ox or sheep that's deformed or stunted as a voluntary offering, but it won't be accepted for a vow. Naye ente oba endiga ng’eriko ekitundu kyayo ekisukkiridde obuwanvu oba ekisukkiridde obumpi eneeyinzanga okuleetebwa ng’ekiweebwayo eky’okweyagalira, naye tekkirizibwenga ng’ekiweebwayo olw’okutuukiriza obweyamo.
24 Don't offer me an animal with testicles bruised, crushed, torn, or cut. Don't do this in your own land. Mukama Katonda temumuleeteranga ekiweebwayo eky’ensolo erina enjagi ezaanuubulwa, oba ezaabetentebwa, oba ezaayuzibwa, oba ezaasalibwa. Ekyo temukikolanga mu ggwanga lyammwe,
25 You must not accept such animals from a foreigner to offer as your Father's food, since they are deformed and defective—they will not be accepted for you." wadde okukkirizanga ng’ensolo ezo bannamawanga bazibatonedde ne muziwaayo ng’ekiweebwayo eri Katonda wammwe. Kubanga nnyonoonefu mu mubiri era ziriko obukyamu.”
26 Then our Father said to Moses, Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
27 "When a calf, lamb, or goat is born, it stays with its mother seven days; from the eighth day on, it is acceptable as a food offering to me. “Ente, oba endiga, oba embuzi bw’eneezaalibwanga eneesigalanga ne nnyina waayo okumala ennaku musanvu. Okuva ku lunaku olw’omunaana n’okweyongerayo ennekkirizibwanga bw’eneeweebwangayo eri Mukama Katonda ng’ekiweebwayo ekyokebwa mu muliro.
28 Do not slaughter a cow or a sheep and its young on the same day. Ente oba endiga temugittanga na mwana gwayo ku lunaku lwe lumu.
29 "When you sacrifice a thank offering to me, sacrifice it so you'll be accepted. Bwe muwangayo eri Mukama Katonda ekiweebwayo olw’okwebaza, mukiwengayo mu ngeri ennungi eneekisobozesanga okukkirizibwa.
30 It must be eaten that same day; leave none of it until morning. I am your Father. Kinaalibwanga ku lunaku olwo lwennyini, temukifissangawo n’akatono okutuusa enkeera. Nze Mukama Katonda.
31 "Keep my commands and follow them. I am your Father. “Bwe mutyo mukwatenga amateeka gange era mugagonderenga. Nze Mukama Katonda.
32 Do not desecrate my holy name; I must be honored as holy among the Israelites. I am your Father, who makes you holy, Temuvumisanga linnya lyange. Abaana ba Isirayiri kibagwanira okunzisangamu ekitiibwa nga Nze mutukuvu. Nze Mukama Katonda abatukuza mmwe,
33 and who brought you out of Egypt to be your Father. I am your Father." era Nze nabaggya mu nsi y’e Misiri mbeerenga Katonda wammwe. Nze Mukama Katonda.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]