Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Leviticus 23 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Our Father spoke to Moses, saying: Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
2 "Speak to the Israelites and tell them: My appointed feasts, which you are to proclaim as holy gatherings—these are my appointed feasts. “Yogera n’abaana ba Isirayiri obagambe nti, Zino ze mbaga zange ze nnonze, nga ze mbaga za Mukama Katonda ezirondeddwa ze munaakubirangako enkuŋŋaana entukuvu.
3 "Six days work may be done; the seventh is a sabbath of complete rest, a holy gathering—do no work at all. It is my sabbath, wherever you live. “Mu nnaku omukaaga munaakolerangamu emirimu gyammwe, naye olunaku olw’omusanvu ye Ssabbiiti ey’okuwummula; lunaabeeranga olunaku olw’okukuŋŋaana okutukuvu. Temulukolerangako mulimu n’akatono yonna gye munaabeeranga, kubanga ye Ssabbiiti ya Mukama Katonda.
4 "These are my appointed feasts, the holy gatherings that you are to proclaim at their appointed times. “Zino ze mbaga Mukama Katonda ze yeerondera okunaakubirwanga enkuŋŋaana entukuvu ze munaalangiriranga mu ntuuko zaazo:
5 In the first month, on the fourteenth day of the month at twilight, is my Passover. Embaga ya Mukama Katonda ey’Okuyitako eneetandikanga ng’obudde buwungeera ku lunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi ogw’olubereberye.
6 On the fifteenth day of that month is my Feast of Unleavened Bread; eat unleavened bread seven days. Ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano olw’omwezi ogwo, Embaga ya Mukama Katonda ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse kw’eneetandikiranga; munaamalanga ennaku musanvu nga mulya emigaati egifumbiddwa nga temuli kizimbulukusa.
7 On the first day hold a holy gathering; do no ordinary work. Ku lunaku olusooka olw’embaga eyo ey’Okuyitako munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu, era temuukolerengako mirimu gyammwe egya bulijjo.
8 Present a food offering to me for seven days. The seventh day is a holy gathering—do no ordinary work." Munaamalanga ennaku musanvu nga buli lunaku muleeta ekiweebwayo ekyokebwa n’omuliro eri Mukama. Ku lunaku olw’omusanvu munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu, era temuukolerengako mirimu gyammwe egya bulijjo.”
9 Our Father spoke to Moses, saying: Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
10 "Speak to the Israelites and say to them: When you enter the land I am giving you and reap its harvest, bring the priest a sheaf of the first of your harvest. “Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, Bwe mutuukanga mu nsi gye nzija okubawa ne mukungula ebibala byamu, muleetanga eri kabona ekinywa eky’ebibala byammwe eby’olubereberye;
11 He will wave the sheaf before me for your acceptance; the priest will wave it the day after the Sabbath. naye anaawuubawuubanga ekinywa ekyo awali Mukama Katonda kiryoke kikkirizibwe ku lwammwe. Kabona anaakiwuubawuubanga ku lunaku oluddirira Ssabbiiti.
12 The day you wave the sheaf, offer me a flawless year-old male lamb as a burnt offering, Ku lunaku olwo lwe munaawuubirawuubirangako ekinywa, munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama Katonda eky’omwana gw’endiga omulume, ogwakamala omwaka gumu ogw’obukulu era nga teguliiko kamogo.
13 with its grain offering—about four quarts of fine flour mixed with oil, a food offering to me, a pleasing aroma—and its drink offering, about a quart of wine. N’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ekigenderako kinaabanga kigero kya desimoolo bbiri eza efa, eky’obuwunga obulungi nga mutabuddwamu n’amafuta ag’omuzeeyituuni, nga kye kiweebwayo ekyokebwa n’omuliro eri Mukama, ne muvaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama n’ekiweebwayo ekyokunywa ekigenderako kinaabanga ekitundu kimu kya kuna ekya lita emu ey’envinnyo.
14 Eat no bread, roasted grain, or fresh grain until this day, until you bring your Father's offering. This is a lasting statute for all generations, wherever you live. Era temuulyenga ku mugaati n’akatono oba ku mmere ey’empeke ensiike oba eyaakakungulwa, okutuusa ku lunaku olwo lwennyini lwe munaaleeterangako ekiweebwayo kino eri Katonda wammwe. Lino linaabanga tteeka ery’enkalakkalira ery’emirembe gyonna egigenda okujja, mu bifo byonna gye munaabeeranga.
15 "Count off seven full weeks from the day after the Sabbath, the day you brought the wave-offering sheaf. “Okuva ku lunaku oluddirira Ssabbiiti, nga lwe lunaku kwe mwaleetera ekiweebwayo eky’ekinywa ekiwuubibwawuubibwa mubalanga ewiiki enzijuvu musanvu.
16 Count fifty days, until the day after the seventh Sabbath, then bring me a new grain offering. Munaabalanga ennaku amakumi ataano okutuuka ku Ssabbiiti ey’omusanvu, ne mulyoka muwaayo eri Mukama ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke empya eyaakakungulwa.
17 From your homes, bring two loaves of fine flour, about four quarts, baked with yeast, as a wave offering of firstfruits to me. Nga muva mu buli kitundu gye mubeera, munaaleetanga emigaati, ebiri ebiri nga gikoleddwa mu kigero ekya desimoolo bbiri eza efa ez’obuwunga obulungi, nga bufumbiddwa n’ekizimbulukusa; nga kye kiweebwayo eri Mukama Katonda ekiwuubibwawuubibwa eky’ebibala ebibereberye.
18 With the bread, present seven flawless year-old lambs, one young bull, and two rams. They are a burnt offering to me, with their grain and drink offerings—a food offering, a pleasing aroma to me. Era awamu n’emigaati egyo munaaleeterangako abaana b’endiga musanvu ab’omwaka gumu abataliiko kamogo; munaaleetanga n’ente eya seddume ento emu, n’endiga ennume ento bbiri. Binaabeeranga ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama, awamu n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke n’ekiweebwayo eky’ebyokunywa; nga kye kiweebwayo ekyokebwa n’omuliro, ne muvaamu evvumbe erisanyusa Mukama.
19 Offer one male goat as a sin offering, and two year-old male lambs as a sacrifice of peace offerings. Era munaawangayo embuzi emu ennume nga kye kiweebwayo olw’ekibi, era n’endiga ento ennume ez’omwaka ogumu bbiri nga kye kiweebwayo olw’emirembe.
20 The priest will wave them, with the bread of firstfruits and two lambs, as a wave offering before me. They are holy to me, for the priest. Kabona anaawubawuubanga ebiweebwayo ebyo awamu n’emigaati egikoleddwa mu bibala ebibereberye n’endiga zombi ento, nga kye kiweebwayo eri Mukama Katonda ekiwuubibwawuubibwa. Kinaabanga kiweebwayo eri Mukama Katonda ekitukuvu, era kabona y’anaakitwalanga.
21 Proclaim this same day, hold a holy gathering, and do no ordinary work. This is a lasting statute wherever you live, generation after generation. Ku lunaku olwo onoolangiriranga olukuŋŋaana olutukuvu; era temujjanga kukolerako mirimu gyammwe egya bulijjo. Eryo linaabeeranga etteeka ery’emirembe gyonna mu mmwe buli yonna gye munaabeeranga.
22 "Don't reap your field's edges bare or gather the gleanings when you harvest your land. Leave them for the poor and the foreigner. I am your Father." “Bwe munaakungulanga emmere mu ttaka lyammwe temugimalirangamu ddala okutuuka ku mbibiro z’ennimiro yammwe, wadde okukuŋŋaanyanga eneebanga ekunkumuse wansi nga mumaze okukungula. Eyo mugirekeranga abaavu ne bannamawanga. Nze Mukama Katonda wammwe.”
23 Our Father spoke to Moses, saying: Awo Mukama n’agamba Musa nti,
24 "Tell the Israelites: on the first day of the seventh month, keep a day of complete rest, a memorial of trumpet blasts, a holy gathering. “Tegeeza abaana ba Isirayiri nti olunaku olw’olubereberye mu mwezi ogw’omusanvu lunaabanga lwa kuwummula, munaakwatirangako olukuŋŋaana olutukuvu olunaalangirirwanga n’okufuuwa amakondeere ag’omwanguka.
25 Do no regular work; present me a food offering." Temukolerangako mirimu gyonna egya bulijjo, naye munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa n’omuliro eri Mukama Katonda.”
26 Our Father spoke to Moses, saying: Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
27 "The tenth day of this seventh month is the Day of Atonement—hold a holy gathering, deny yourselves, and bring me a food offering. “Olunaku olw’ekkumi olw’omwezi guno ogw’omusanvu lwe lunaabanga Olunaku olw’Okutangiririrwa. Munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu, muneefiirizanga ne mwerumya, era munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa n’omuliro eri Mukama Katonda.
28 Do no work on that very day—it's the Day of Atonement, to atone for you before me, your Father. Olunaku olwo temulukolerangako mulimu na gumu, kubanga lwe Lunaku olw’Okutangiririrwa, lwe munaatangiririrwanga awali Mukama Katonda wammwe.
29 Anyone who does not deny himself on that very day must be cut off from his people. Omuntu yenna anaagaananga okwefiiriza ku lunaku olwo kinaamugwaniranga okuwaŋŋangusibwa n’aggyibwa mu banne.
30 Anyone doing any work on that very day, I will destroy that person from among his people. Era buli muntu anaakolanga omulimu ku lunaku olwo ndimuggya mu banne ne mmuzikiriza.
31 Do no work at all—a lasting statute, generation to generation, wherever you live. Temulukolerangako mulimu n’akatono. Eryo linaabeeranga etteeka ery’enkalakkalira, ery’emirembe gyonna egigenda okujja mu bifo byonna gye munaabeeranga.
32 This is a sabbath of complete rest for you; deprive yourselves. From evening on the ninth of the month until the next evening, keep your sabbath." Lunaabeeranga lwa Ssabbiiti na kuwummulirako gye muli, era muneefiirizanga. Munaakuumanga Ssabbiiti yammwe okuva ku lunaku olw’omwenda olw’omwezi akawungeezi okutuusa ku kawungeezi akaddirira.”
33 Our Father spoke to Moses, saying: Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
34 "Tell the Israelites: On this seventh month's fifteenth day, my Feast of Tabernacles begins, lasting seven days. “Tegeeza abaana ba Isirayiri nti ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano Embaga ya Mukama ey’Ensiisira kw’eneetandikiranga, era eneemalanga ennaku musanvu.
35 The first day: a holy gathering. Do no ordinary work. Ku lunaku olw’olubereberye munaakubirangako olukuŋŋaana olutukuvu; temuulukolerengako mirimu egya bulijjo.
36 Seven days, present food offerings to me. On the eighth day hold a holy gathering and present a food offering to me—a solemn assembly. Do no ordinary work. Munaaleetanga ebiweebwayo eri Mukama ebyokye mu muliro okumalira ddala ennaku musanvu, ne ku lunaku olw’omunaana munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu ne muwaayo eri Mukama Katonda ekiweebwayo ekyokye n’omuliro. Olwo lwe lukuŋŋaana olukulu oluggalawo, temulukolerangako mirimu egya bulijjo.
37 "These are my appointed times, which you are to proclaim as holy gatherings, presenting food offerings to me—burnt offering and grain offering, sacrifice and drink offerings—each on its own day, “Ezo ze mbaga Mukama ze yalagira, ze munaalangiriranga nti mbaga ntukuvu okunaaleeterwanga ebiweebwayo eri Mukama Katonda ebyokeddwa mu muliro, ebiweebwayo ebyokye, ebiweebwayo eby’empeke, ssaddaaka n’ebiweebwayo ebinywebwa ebineetaagibwanga buli lunaku.
38 besides my Sabbaths, besides your gifts, all your vow offerings, and all your voluntary offerings you give me. Ebiweebwayo bino byeyongera ku biri eby’oku Ssabbiiti za Mukama Katonda, era ne byeyongera ku birabo byammwe ne ku ebyo byonna bye munaabanga mweyamye, ne ku biweebwayo ebirala byonna bye munaabanga muleetedde Mukama Katonda nga mweyagalidde.
39 "So on the fifteenth day of the seventh month, once you've gathered the land's produce, celebrate my feast seven days: the first day a complete rest, the eighth day a complete rest. “Kale nno okutandikira ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano olw’omwezi ogw’omusanvu, nga mumaze okukungula n’okuyingiza ebibala ebivudde mu ttaka lyammwe, munaakoleranga Mukama Katonda ekijaguzo okumala ennaku musanvu; olunaku olw’olubereberye lunaabanga lwa kuwummula era n’olunaku olw’omunaana nalwo nga lwa kuwummula.
40 On the first day, take fruit of majestic trees, palm fronds, leafy branches, and willows of the brook, and rejoice before me, your Father, seven days. Ku lunaku olw’olubereberye munaanoganga ku miti ebibala ebisingira ddala obulungi ne muddira n’amatabi g’enkindu, n’amatabi ag’emiti agaziyidde n’ebikoola ebigimu, n’emiti egy’oku migga, ne mulyoka musanyukira awali Mukama Katonda wammwe okumala ennaku musanvu.
41 Celebrate it as my feast seven days each year, a lasting statute for your generations; celebrate it in the seventh month. Mukolanga bwe mutyo ng’ekyo kye kijaguzo eri Mukama Katonda, okumala ennaku musanvu buli mwaka. Lino ly’etteeka ery’enkalakkalira erinaakwatibwanga n’ab’omu mirembe egigenda okujja; mujaguzenga mu mwezi ogw’omusanvu.
42 Live in booths seven days; every native Israelite is to live in booths, Munaasulanga mu busiisira okumala ennaku musanvu. Abo bonna abazaaliranwa ab’omu Isirayiri banaasulanga mu busiisira,
43 so your descendants may know I made the Israelites live in booths when I brought them out of Egypt. I am your Father." bwe batyo ab’omu zzadde lyammwe balyoke bamanye nga bwe nasuzanga abaana ba Isirayiri mu busiisira bwe nnali nga mbaggya mu nsi y’e Misiri. Nze Mukama Katonda wammwe.”
44 So Moses announced to the Israelites the appointed feasts of our Father. Bw’atyo Musa n’alangirira mu baana ba Isirayiri embaga za Mukama ennonde.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]