Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Leviticus 24 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Our Father spoke to Moses: Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
2 "Command the Israelites to bring you pure, crushed olive oil for the light, to keep a lamp burning continually. “Lagira abaana ba Isirayiri bakuleetere amafuta ag’omuzeeyituuni aga zeyituuni amalungi amaka ag’okukozesa mu ttaala ziryoke zaakenga buli kiseera awatali kusalako.
3 Outside the testimony's curtain in the tent of meeting, Aaron is to tend it before me from evening to morning, continually—a lasting law for your generations. Wabweru w’Eggigi ery’Endagaano mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, Alooni w’anaalabiririranga ettabaaza ezo nga zaakira awali Mukama Katonda okuva akawungeezi okutuusa mu makya awatali kusalako. Eryo linaabanga tteeka ery’enkalakkalira ne mu mirembe egigenda okujja.
4 On the pure lampstand he must tend the lamps before me continually. Alooni anaalabiriranga ettaala ez’oku kikondo ekya zaabu omuka awali Mukama Katonda nga zaaka awatali kusalako.
5 "Take fine flour and bake twelve loaves, each about four and a half pounds of flour. “Ojja kuddiranga obuwunga bw’eŋŋaano obulungi ofumbe emigaati kkumi n’ebiri ng’okozesa desimoolo bbiri eza efa.
6 Arrange them in two rows, six to a row, on the pure table before me. Onoogitegekanga mu nnyiriri bbiri nga mu buli lunyiriri mulimu emigaati mukaaga. Onoogiteekanga ku mmeeza eya zaabu omuka awali Mukama.
7 Put pure frankincense on each row as the bread's memorial portion, a food offering to me. Era ku buli lunyiriri onooteekangako obubaane obuka nga bugendera wamu n’emigaati nga kye kijjukizo eky’ekiweebwayo eri Mukama Katonda nga kyokeddwa mu muliro.
8 Every Sabbath he must arrange it before me continually, from the Israelites, a lasting covenant. Emigaati egyo ginaategekebwanga awali Mukama buli Ssabbiiti awatali kwosa, ng’ekyo kikolebwa ku lw’abaana ba Isirayiri nga ye ndagaano ey’emirembe n’emirembe.
9 It belongs to Aaron and his sons, who must eat it in a holy place; it is a most holy portion for him from my food offerings, their permanent share." Emigaati egyo ginaabanga gya Alooni ne batabani be, era banaagiriiranga mu kifo ekitukuvu, kubanga giva ku kiweebwayo ekitukuvu ennyo eri Mukama Katonda nga kyokeddwa mu muliro nga kye kiragiro eky’enkalakkalira.”
10 The son of an Israelite woman, whose father was Egyptian, went out among the Israelites; the Israelite woman's son fought with an Israelite man in the camp. Awo mutabani w’omukazi Omuyisirayiri naye nga kitaawe Mumisiri n’afuluma n’abeera mu baana ba Isirayiri, naye ne wasitukawo olutalo wakati w’omusajja oyo n’Omuyisirayiri, nga bali mu lusiisira.
11 The son of the Israelite woman blasphemed the Name with a curse, and they brought him to Moses. His mother was Shelomith, daughter of Dibri, of the tribe of Dan. Mutabani w’omukazi Omuyisirayiri n’avvoola Erinnya lya Mukama, era n’akolima. Ne bamuleeta eri Musa. Nnyina ye yali Seromisi, muwala wa Dibuli ow’omu kika kya Ddaani.
12 They put him in custody until our Father made his will clear to them. Ne bamuggalira mu kkomera okutuusa Mukama Katonda lw’anaabategeeza ekinaakolebwa.
13 Then our Father spoke to Moses: Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
14 "Bring the one who cursed outside the camp. Let all who heard lay their hands on his head, then let the whole congregation stone him. “Eyavvodde mumufulumye ebweru w’olusiisira. Abo bonna abaamuwulidde ng’avvoola bateeke emikono gyabwe ku mutwe gwe; oluvannyuma ekibiina kyonna kiryoke kimukube amayinja.
15 Tell the Israelites: Whoever curses our Father will bear their sin. Tegeeza abaana ba Isirayiri nti omuntu yenna anaakolimiranga Katonda we anaabanga n’obuvunaanyizibwa olw’ekibi ekyo.
16 Whoever blasphemes my name must die—the whole community must stone him. Foreigner and native-born alike: whoever blasphemes the Name must die. Oyo yenna anavvoolanga erinnya lya Mukama Katonda anattibwanga. Ekibiina kyonna kinaamukubanga amayinja. Ne bw’anaabanga omugwira oba Omuyisirayiri, bw’anavvoolanga Erinnya anattibwanga.
17 "Whoever kills any person must be put to death. “Anattanga omuntu naye anattibwanga.
18 Whoever kills an animal must make restitution for it, life for life. Omuntu yenna anattanga ensolo ya munne anaagimuliyiranga, ensolo ku nsolo.
19 If anyone injures their neighbor, the same must be done to them: Omuntu bw’anaaleetanga akamogo ku munne n’amulumya, ekyo ky’akoze ku munne naye kye kinaamukolwangako:
20 Fracture for fracture, eye for eye, tooth for tooth: as one injures another, so it is done to him. obuvune olw’obuvune, eriiso olw’eriiso, erinnyo olw’erinnyo; nga bw’anaabanga alumizza munne, naye bw’atyo bw’anaalumizibwanga.
21 Whoever kills an animal repays for it; whoever kills a person is put to death. Omuntu anattanga ensolo ya munne anaagimuliyiranga, n’oyo anattanga omuntu naye waakuttibwanga.
22 The same law applies to the foreigner and to the native-born alike, for I am your Father." Etteeka lye limu lye linaafuganga omugwira era n’Omuyisirayiri. Nze Mukama Katonda wammwe.”
23 Moses told the Israelites; they took the one who had cursed outside the camp and stoned him with stones. The Israelites did as our Father commanded Moses. Bw’atyo Musa n’ategeeza abaana ba Isirayiri, ne bafulumya eyavvoola ebweru w’olusiisira ne bamukuba amayinja n’afa. Abaana ba Isirayiri baakola nga Mukama bwe yalagira Musa.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]