Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Leviticus 25 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Our Father spoke to Moses on Mount Sinai, saying: Mukama Katonda yagamba Musa ku lusozi Sinaayi nti,
2 "Speak to the Israelites and say to them: When you enter the land I am giving you, the land is to keep a sabbath rest to me. “Tegeeza abaana ba Isirayiri nti bwe mutuukanga mu nsi gye mbawa, ensi yennyini eneekuumiranga Mukama Katonda ssabbiiti.
3 For six years sow your field, six years prune your vineyard and gather its fruit. Okumala emyaka mukaaga ennimiro zammwe munaazisigangamu emmere, era mu myaka egyo omukaaga munaasaliranga emizabbibu gyammwe n’ebibala ne mubikungula.
4 But the seventh year is a sabbath of full rest for the land, a sabbath to me—don't sow your field or prune your vineyard. Naye mu mwaka ogw’omusanvu ettaka ly’ensi eyo linaabanga ne ssabbiiti ey’okuwummula eri Mukama Katonda. Temusiganga mmere mu nnimiro zammwe wadde okusalira emizabbibu gyammwe.
5 Don't reap what grows on its own, or gather grapes from your unpruned vine; the land gets a year of complete rest. Ebimera ebyekuzizza byokka, ebimererezi, temubikungulanga wadde okunoga ebibala ku mizabbibu gyammwe egitaasalirwa. Omwaka ogwo ettaka ly’ensi linaaguwummulanga.
6 The land's sabbath will feed you—yourself, your male and female servants, hired hand, and the foreigner living with you, Ebyo byonna ebyokulya ebinaavanga mu ttaka mu mwaka ogwa ssabbiiti yaalyo binaabanga mmere yammwe, mmwe bennyini, n’eri abaddu bammwe abasajja, n’abakazi, era n’abaweereza bammwe ab’empeera, n’abagenyi abanaabanga basula mu maka gammwe;
7 and for your livestock and the wild animals in your land—all it yields is food. era n’ente zammwe n’ensolo ez’omu nsiko ezinaabanga ku ttaka lyammwe. Buli ekyokulya ekinaakuliranga ku ttaka eryo kinaabanga mmere.
8 "You are to count seven sabbaths of years, seven times seven years, making forty-nine years in all. “Munaabaliriranga essabbiiti musanvu ez’omu myaka, kwe kugamba nti musanvu emirundi emyaka musanvu. Bwe kityo ekiseera kyonna ekya ssabbiiti ezo ne kiba emyaka amakumi ana mu mwenda.
9 Blow the ram's horn in blasts on the tenth day of the seventh month; on the Day of Atonement, sound it throughout all your land. Ekkondeere ery’okujaguza munaalifuuyiranga wonna wonna ku lunaku olw’ekkumi mu mwezi ogw’omusanvu ku Lunaku olw’Okutangiririrwa, ekkondeere munaalifuuyiranga mu nsi yammwe yonna.
10 Make the fiftieth year holy: proclaim freedom in the land for all its residents. It is a jubilee for you—each returns to their property, each to their family. Munaatukuzanga omwaka ogw’amakumi ataano, era munaalangiriranga ebiseera eby’eddembe eri abatuuze bonna mu ggwanga lyammwe. Omwaka ogwo gunaabanga gwa kujaguza gwa Jjubiri gye muli; buli omu anaddangayo mu kifo kye eky’obwannannyini, era buli omu anaddangayo mu kika kye.
11 The fiftieth year is your jubilee: sow nothing, reap no self-grown grain, gather no untended vines. Omwaka ogw’amakumi ataano gunaabanga gwa kujaguza gwa Jjubiri gye muli; mu mwaka ogwo temuusigenga era temuukungulenga bikuze ku bimererezi newaakubadde okukuŋŋaanya ebibala eby’oku mizabbibu egitali misalire.
12 For it is a jubilee; it is to be holy to you. Eat only what the field produces. Kubanga ekiseera ekyo kya kujaguza kya Jjubiri era kinaabanga kitukuvu gye muli; mulyenga ebyo byokka bye munaggyanga mu nnimiro.
13 "In this Year of Jubilee each of you are to return to your own property. “Mu mwaka ogwo ogw’okujaguza ogwa Jjubiri buli omu anaddangayo mu kifo kye eky’obwannannyini.
14 "If you sell or buy from your neighbor, do not cheat one another. Era bwe munaatunzanga bannammwe ekintu kyonna oba bwe munaagulanga ku bannammwe ekintu kyonna, temuseeragananga.
15 Buy from your neighbor by the years since the jubilee; he sells to you by the years of harvests. Munnansi munno onoomugulangako ng’osinziira ku myaka egyakayitawo okuva ku kujaguza ku Jjubiri. Era naye anaakutunzanga ng’asinziira ku myaka egibulayo okutuuka ku makungula g’ebibala.
16 Raise the price for more years, lower it for fewer, since he's selling you a number of harvests. Emyaka bwe ginaabanga emingi, omuwendo ogulamulwa munaagwongezanga, naye emyaka bwe ginaabanga emitono munaagukendeezanga, kubanga obungi bw’ebikungulwa, bw’ogula ku mutunzi.
17 You shall not wrong one another, but you are to fear your Father, for I am your Father. Temuseeragananga; mutyanga Katonda wammwe, kubanga Nze Mukama Katonda wammwe.
18 "Follow my statutes, keep my rules, and obey them, and you will live securely in the land. “Mugonderenga ebiragiro byange, era mukwatenga amateeka gange, bwe mutyo munaatuulanga n’emirembe mu nsi yammwe.
19 The land will yield its fruit, and you will eat your fill and dwell in it securely. Ensi eneebaleeteranga ebibala byayo, ne mulya ne mukkuta ne mutuulamu n’emirembe.
20 If you ask, 'What will we eat in the seventh year, since we won't sow or gather our produce?' Muyinza okubuuza nti, ‘Bwe tutaasigenga era ne tutakungulanga, kale mu mwaka ogw’omusanvu tunaalyanga ki?’
21 I will command my blessing on you in the sixth year, yielding crop for three years. Mu mwaka ogw’omukaaga ndibayiwako omukisa gwange ogulireetera ensi yammwe ebibala ebirimala emyaka esatu.
22 You will plant in the eighth year but still eat old crop; until the ninth year's harvest comes in, you will eat the old. Bwe munaabanga musiga mu mwaka ogw’omunaana, munaabanga mulya ku bibala ebikadde bye mwatereka, okutuusa nga mukungudde ebibala eby’omwaka ogw’omwenda.
23 "The land must not be sold permanently, for it is mine; for you are only foreigners and temporary residents with me. Ettaka teriitundibwenga kagenderere, kubanga ensi yange; mwe muli bayise era abasuze obusuze.
24 Throughout the land you possess, you are to grant a right of redemption for the land. Buli kitundu kya nsi kye munaalyanga, bwe mutundanga ettaka mwerekerangawo omwagaanya ogw’okulinunulayo gye mulitunze.
25 "If your brother becomes poor and sells part of his land, his nearest redeemer must come redeem what his brother sold. “Munnansi munnammwe bw’anaayavuwalanga, n’atunda ebimu ku bintu bye, muganda we ow’okumpi mu luganda anajjanga n’anunula ebyo munnansi munne by’atunze.
26 If a man has no redeemer but prospers and finds enough to redeem it, Omuntu bw’anaabanga talina anaabimununulira, naye ye ku bubwe ng’agaggawadde, era ng’afunye obusobozi obw’okubinunula,
27 he calculates the years since the sale, returns the balance to the buyer, and returns to his property. anaabaliriranga omuwendo gw’ensimbi oguli mu myaka kasookedde abitunda, n’abala n’omuwendo ogugya mu myaka egisigaddeyo okutuuka ku Jjubiri, n’agusasula omuntu gwe yaguza ebintu ebyo, olwo eyatunda aneddirangayo mu bintu bye.
28 But if he lacks means to repay him, what he sold stays with the buyer until Jubilee; it releases then, and he returns to his property. Naye singa alemwa okufuna obusobozi okumusasula, kale ebyo bye yatunda binaasigalanga mu mukono gw’eyabigula nga ye nannyini byo okutuusa mu Mwaka gwa Jjubiri. Binamuddizibwanga mu Jjubiri, era anaayinzanga okweddirayo mu bintu bye.
29 "If someone sells a house in a walled city, redemption rights last a full year from the sale. For that whole year the seller keeps this right. “Omuntu bw’anaatundanga ennyumba esulwamu eri mu kibuga ekyetooloddwa bbugwe, anaayinzanga okuginunula mu mwaka nga tegunaggwaako. Mu bbanga eryo ery’omwaka omulamba mw’anaabeereranga n’obuyinza obw’okuginunula.
30 If not redeemed within a full year, the house in the walled city belongs to its buyer permanently, generation after generation; it isn't released at the jubilee. Ennyumba eyo eri mu kibuga ekyetooloddwa bbugwe bw’eteenunulibwenga mu bbanga ery’omwaka ogumu, kale eneebeereranga ddala y’oyo eyagigula n’ezzadde lye. Eyagitunda teemuddizibwenga mu Jjubiri.
31 Houses in villages without walls count as open fields; they may be redeemed and go free at Jubilee. Naye amayumba ag’omu bubuga obutono obw’omu byalo obuteetooloddwako bisenge, ganaabalirwanga mu ttuluba lye limu n’ery’ennimiro eziri mu byalo. Ganaanunulibwanga era ne gaddira bannyinigo mu Jjubiri.
32 "The Levites may always redeem the houses in the Levite cities they possess. “Bulijjo Abaleevi banaabanga ba ddembe okununula amayumba gaabwe agali mu bibuga byabwe eby’Abaleevi bye balinako obwannannyini.
33 If a Levite doesn't redeem it, the house sold in his city is released at jubilee, for houses in Levite cities are their property among Israel. Era Omuleevi bw’anaabanga takozesezza ddembe lye ery’okununula, kale ennyumba eyatundirwa mu kibuga Abaleevi kye balinako obwannannyini, eneemuddiranga mu Jjubiri; kubanga mu bantu ba Isirayiri ennyumba eziri mu bibuga by’Abaleevi za Baleevi.
34 But the pasture fields around their cities cannot be sold; they are their permanent possession. Naye ennimiro eziri ku ttaka lya wamu ery’ebibuga byabwe teziitundibwenga; kubanga ezo zaabwe za bwannannyini obw’olubeerera.
35 "If your brother becomes poor and cannot support himself among you, help him like a foreigner or resident, so he may live among you. “Munnansi munnammwe bw’anaayavuwalanga ng’ali wamu nammwe, nga takyasobola kwefunira buyambi, mubeerenga naye nga mumulabirira nga bwe mwandirabiridde omunnaggwanga oba omusuze obusuze ali mu mmwe.
36 Charge him no interest or profit, but fear your Father, so your brother may live alongside you. Mutyenga Katonda wammwe. Munnammwe temumuggyangako magoba ku kintu kyonna kye munaabanga mumuwoze, bw’atyo munnammwe oyo alyoke abeerenga mu mmwe.
37 You shall not lend him your money at interest or give him your food for profit. Bw’omuwolanga ensimbi azzengawo omuwendo gwennyini gw’omuwoze so tasukkirizangamu. Era bw’omuguzanga emmere tossangamu magoba.
38 I am your Father, who brought you out of Egypt to give you Canaan and be your Father. Nze Mukama Katonda wammwe eyabaggya mu nsi ey’e Misiri okubawa ensi ya Kanani n’okubeera Katonda wammwe.
39 "If your brother beside you becomes poor and sells himself to you, don't make him work as a slave. “Era munnansi munnammwe bw’anaayavuwalanga ng’ali nammwe, ne yeetunda gye muli, temumukozesanga nga muddu.
40 He will be with you as a hired worker, as a resident, serving with you until Jubilee Year. Munaamukozesanga ng’omupakasi ow’empeera oba ng’omusuze obusuze, ng’ali nammwe. Anaabaweerezanga okutuusa mu Mwaka gwa Jjubiri.
41 Then he and his children go free from you, returning to his clan and ancestral property. Kale nno, olwo anaalekebwanga n’addayo ewaabwe, ye n’abaana be, mu kika kye ku butaka bwa bakadde be.
42 For they are my servants, whom I brought from Egypt; they must not be sold as slaves are sold. Kubanga baweereza bange be naggya mu nsi y’e Misiri; tebaatundibwenga ng’abaddu.
43 You shall not rule over him harshly, but you are to fear your Father. Temubafugisanga bukambwe, naye mutyenga Katonda wammwe.
44 "As for your male and female slaves: you may buy them from the nations around you. Abaddu bammwe abasajja n’abaddu bammwe abakazi munaabaggyanga mu mawanga agabeetoolodde, mu mawanga ago mwe muneeguliranga abaddu abasajja n’abaddu abakazi.
45 Also buy from the foreign residents among you, and from their families with you, born in your land; they become your property. Era munaayinzanga okwegulira ku bannamawanga abali nammwe abasuze obusuze, ne ku baana baabwe abanaazaalirwanga mu nsi yammwe; abo banaabanga nvuma zammwe.
46 You may leave them to your children as inherited property, holding them for life. But over your fellow Israelites you must not rule harshly, one over another. Munaayinzanga okulaamira batabani bammwe abalibagoberera envuma ezo ng’obusika bwabwe obw’emirembe gyonna. Naye Bayisirayiri bannammwe temubafugisanga bukambwe.
47 "If a foreigner or resident among you prospers and your brother becomes poor beside him, selling himself to the foreigner or to a branch of the foreigner's family, “Omunnaggwanga oba omusuze obusuze ali nammwe bw’anaagaggawalanga, naye munnansi munnammwe bwe babeera n’ayavuwala, ne yeetunda eri munnaggwanga oba eri omusuze obusuze ali nammwe, oba eri omu ku b’omu luggya lwa munnaggwanga,
48 he may be redeemed after he has sold himself. One of his brothers may redeem him. anaayinzanga okununulibwa, ng’amaze okwetunda. Omu ku baganda be anayinzanga okumununula:
49 His uncle or cousin may redeem him, or a close relative from his clan may redeem him; or if he affords it, he redeems himself. Taata we oba mutabani wa taata we, oba owooluganda omulala ow’okumpi mu buzaale ow’omu kika kye anaayinzanga okumununula. Oba ye bw’anaagaggawalanga anaayinzanga okwenunula.
50 He and his buyer is to reckon from the year he sold himself to the Jubilee; the price follows the years, like a hired worker's wage. Ye n’oli eyamugula bajjanga kubalirira ebbanga okuva mu mwaka gwe yeetundiramu okutuuka ku Mwaka gwa Jjubiri. Omuwendo ogw’okununulibwa guneesigamizibwanga ku muwendo gw’emyaka egibaliriddwa; ebbanga lye yamala n’eyamugula linaageraageranyizibwanga n’ebbanga ery’omupakasi asasulwa empeera.
51 If many years remain, he refunds a proportionate amount of his purchase price as his redemption payment. Mu kubalirira kwabwe bwe kinaazuukanga ng’ekyasigaddeyo emyaka mingi okutuuka ku Jjubiri, ku muwendo gwe yeetunda anaasasulangako omuwendo munene olw’okwenunula.
52 If few years remain until Jubilee, he must calculate and refund his redemption price accordingly. Naye bw’eneebanga esigaddeyo emyaka mitono, egyo gy’anaabalirirangamu ensimbi zaamu n’asasula ezo nga bwe kyetaagisa olw’okwenunula.
53 He is to be with him as one hired year by year, not ruled over harshly in your sight. Oyo eyagula munne anaamuyisanga ng’omupakasi amukolera mu kupatana okwa buli mwaka. Temulekanga oyo eyagula munne okumutuntuzanga nga nammwe mulaba.
54 If he isn't redeemed this way, he and his children go free together in the Jubilee Year. “Bw’anaabanga tanunulibbwa mu zimu ku ngeri ezo, ye n’abaana be banaanunulibwanga mu Mwaka gwa Jjubiri.
55 Israel's people are my servants, whom I brought out of Egypt. I am your Father." Kubanga abaana ba Isirayiri bantu bange, abaweereza bange be naggya mu nsi ey’e Misiri. Nze Mukama Katonda wammwe.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]