Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Leviticus 19 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Our Father spoke to Moses, saying: Awo Mukama Katonda n’agamba Musa
2 "Speak to the whole community of Israel: You are to be holy, for I, your Father, am holy. ategeeze ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri abagambe nti, “Mubeerenga batukuvu, kubanga nze Mukama Katonda wammwe ndi mutukuvu.
3 "Each of you must respect your mother and father, and keep my Sabbaths. I am your Father. “Buli omu mu mmwe assengamu nnyina ne kitaawe ekitiibwa; era mukuumenga Ssabbiiti zange. Nze Mukama Katonda wammwe.
4 "Do not turn to idols or make for yourselves gods of cast metal. I am your Father. “Temulaganga mu bitali Katonda, era temwekoleranga bakatonda abaweese mu kyuma ekisaanuuse. Nze Mukama Katonda wammwe.
5 "When you sacrifice a peace offering to me, offer it so you will be accepted. “Bwe munaawangayo eri Mukama ekiweebwayo olw’emirembe, mukiwengayo mu butuufu kiryoke kikkirizibwe.
6 Eat it the day you offer it, or the next; anything left to the third day, burn in fire. Kinaalibwanga ku lunaku olwo lwe kinaaweebwangayo oba enkeera; ekinaabanga kisigaddewo okutuusa ku lunaku olwokusatu kinaazikiribwanga mu muliro.
7 If any is eaten on the third day, it is foul and will not be accepted. Singa kiriibwa ku lunaku olwokusatu tekiibenga kirongoofu, era tekikkirizibwenga,
8 Whoever eats it bears their guilt, for they desecrated what is holy to me; that person will be cut off from their people. ne buli anaakiryangako anaabanga azzizza omusango; kubanga anaabeeranga aweebudde ekintu kya Mukama ekitukuvu; omuntu oyo anaagobwanga n’agaanibwa okukolagananga ne banne.
9 "When you harvest your land, do not reap to the field's edges or gather the gleanings of your harvest. “Bw’okungulanga ekyengera eky’omu ttaka lyo, tokunguliranga ddala ebibala byonna eby’omu nnimiro yo okutuuka ku nkomerero zaayo, oba okukuŋŋaanya obubala obutonotono obunaabanga bugudde wansi ng’okungula.
10 Do not strip your vineyard bare or gather its fallen grapes. Leave them for the poor and the foreigner. I am your Father. Ennimiro yo ey’emizabbibu togimalirangamu ddala bibala byonna, n’ebyo ebibanga bigudde wansi tobikuŋŋaanyanga. Obirekeranga abaavu ne bannamawanga. Nze Mukama Katonda wammwe.
11 "Do not steal; do not deceive; do not lie to one another. “Tobbanga. “Tokumpanyanga. “Temulimbagananga.
12 "Don't swear falsely by my name, desecrating your Father's name. I am your Father. “Tokozesanga linnya lyange ng’olayira ebitaliimu nsa, n’ovumisa erinnya lya Katonda wo. Nze Mukama.
13 "You shall not oppress your neighbor or rob him. Do not hold a hired worker's wages overnight. “Muliraanwa wo tomujooganga so tomunyagangako bibye. “Tosulanga na mpeera ya mupakasi wo n’omala nayo ekiro kyonna okutuusa enkya nga tonnagimusasula.
14 "Do not curse the deaf or place a stumbling block before the blind, but fear your Father. I am your Father. “Omuggavu w’amatu tomukolimiranga, so n’omuzibe w’amaaso tomuteganga nkonge w’anaayita, naye otyanga Katonda wo. Nze Mukama.
15 "Do not pervert justice in your decisions. Do not favor the poor or defer to the great, but judge your neighbor fairly. “Tosalirizanga ng’olamula; tobanga na kyekubiira ku ludda lw’omwavu wadde okwekubiira ku ludda lw’ow’ekitiibwa, banno obasalirangawo mu bwenkanya.
16 "Don't spread slander among your people, and don't stand idle while your neighbor's life is in danger. I am your Father. “Togendanga ng’osaasaanya eŋŋambo mu banno. “Tokolanga kintu kyonna ku munno ekiyinza okumuleetera okufiirwa obulamu bwe. Nze Mukama.
17 "Do not hate your brother in your heart; correct your neighbor openly, so you don't bear sin because of him. “Muganda wo tomukyawanga mu mutima gwo. Naye munno ng’asobezza, omunenyanga, si kulwa nga naawe ogwa mu kibi nga ye.
18 Do not take revenge or hold a grudge against your own people, but love your neighbor as yourself. I am your Father. “Towalananga ggwanga oba okusiba ekiruyi ku mwoyo eri munno yenna ow’omu nsi yo, naye yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka. Nze Mukama.
19 "Keep my decrees. Don't breed your livestock with a different kind. Don't sow your field with two kinds of seed, or wear a garment of two kinds of material. “Okwatanga amateeka gange. “Tokkirizanga nsolo za ngeri ndala kuzaazisa mu nsolo zo. “Mu nnimiro yo tosimbangamu nsigo za ngeri bbiri. “Toyambalanga kyambalo eky’olugoye olw’ebiwero eby’engeri ebbiri.
20 "If a man sleeps with a slave woman assigned to another man, and she has not been bought back or set free, an inquiry is required. They are not to be put to death, since she was not free. “Omusajja bw’aneebakanga n’omuddu omukazi n’amusobyako, naye ng’omukazi oyo tannaweebwa ddembe lye, kyokka ng’aliko omusajja amwogereza, wanaabangawo okuwozesebwa n’ebibonerezo, naye tebattibwenga, kubanga omukazi anaabanga tannaweebwa ddembe lye.
21 He is to bring his guilt offering to me, at the entrance of the tent of meeting—a ram as the guilt offering. Naye omusajja anaaleetanga endiga ennume ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga ky’ekiweebwayo kye eri Mukama eky’omusango.
22 The priest will make atonement for him with the ram of the guilt offering before me, for the sin he committed; and he will be forgiven the sin he committed. Kabona anaakozesanga endiga ennume ey’ekiweebwayo olw’omusango okutangiririra omusajja oyo eri Mukama; era ekibi kye ky’anaabanga akoze kinaamusonyiyibwanga.
23 "When you enter the land and plant any food tree, treat its fruit as forbidden. For three years it is forbidden to you; do not eat it. “Bwe muyingiranga mu nsi ne musimba emiti egya buli ngeri egy’ebibala ebyokulya, mukitegeere nti ebibala byagyo biriba ng’ebiwereddwa. Biriwerebwa okumala emyaka esatu; tebijjanga kuliibwanga.
24 In the fourth year all its fruit is to be holy, an offering of praise to me. Mu mwaka ogwokuna ebibala byako byonna binaabanga bitukuvu, nga kye kiweebwayo eri Mukama eky’okumutendereza.
25 But the fifth year you may eat its fruit, so it yields more for you. I am your Father. Naye mu mwaka ogwokutaano munaayinzanga okulya ku bibala byako. Mu ngeri eno ebibala byako bigenda kweyongeranga nnyo. Nze Mukama Katonda wammwe.
26 "Do not eat anything with the blood in it. Do not practice fortune-telling or interpret omens. “Tolyanga nnyama yonna nga teweddeemu musaayi; “so tokolanga bya ddogo wadde eby’okulagula.
27 "Do not round off the hair at the sides of your head or damage the edges of your beard. “Enviiri ez’oku mabbali g’omutwe gwo tozisalangako; n’ekirevu kyo tokikomolanga.
28 "Don't cut your body for the dead or tattoo yourselves. I am your Father. “Toweesalanga misale ku mubiri gwo olw’okujjukira abaafa oba okwesalako enjola. Nze Mukama.
29 "Do not desecrate your daughter by making her a prostitute, or the land will turn to prostitution and fill with depravity. “Tofuulanga mwana wo omuwala ekivume ng’omufudde omwenzi, kubanga kirireetera abantu mu nsi yo okufuuka abenzi, n’ensi n’ejjula okwonoona.
30 "You are to keep my Sabbaths and revere my sanctuary. I am your Father. “Mukuumanga Ssabbiiti zange era mussangamu ekitiibwa ekifo kyange ekitukuvu. Nze Mukama.
31 "Do not turn to mediums or necromancers; do not seek to be made unclean by them. I am your Father. “Temwebuuzanga ku basamize oba okukyukiranga abalogo, kubanga bagenda kubaleetera okwonooneka. Nze Mukama Katonda wammwe.
32 "Stand up before the gray-haired and respect the old. Fear your Father. I am your Father. “Ositukiranga ow’envi, n’omukadde omussangamu ekitiibwa, era ne Katonda wo omutyanga. Nze Mukama.
33 "When a foreigner lives among you in your land, do not mistreat them. “Omugwira bw’abeeranga omutuuze mu nsi yammwe, temumuyisanga bubi.
34 The foreigner living among you must be to you as a native, and love them as yourself, for you were foreigners in Egypt. I am your Father. Omugwira atuula mu mmwe mumuyisenga ng’omuzaaliranwa ow’omu nsi yammwe. Mumwagalenga nga bwe mweyagala, kubanga nammwe mwali bagwira mu nsi y’e Misiri. Nze Mukama Katonda wammwe.
35 "You are to do no wrong in judgment, in measures of length, weight, or quantity. “Temubangamu kyekubiira nga mupima obuwanvu, oba obuzito, oba obungi bw’ebintu.
36 Have honest scales, honest weights, an honest grain measure, an honest liquid measure. I am your Father, who brought you out of the land of Egypt. Mubanga ne minzaani entuufu, n’amayinja agapima obuzito amatuufu, n’ekipima ebikalu (efa) ekituufu, n’ekipima ebiyiikayiika ng’amazzi (ini) ekituufu. Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y’e Misiri.
37 "Keep all my statutes and all my rules, and do them. I am your Father." “Munaakwatanga amateeka gange gonna, n’ebiragiro byange byonna, okubitambulirangako. Nze Mukama.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]