Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Leviticus 18 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Our Father spoke to Moses, saying: Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
2 "Speak to the children of Israel and say to them: I am your Father. “Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Nze Mukama Katonda wammwe.
3 You must not do as Egypt does, where you lived; you must not do as Canaan does, where I am bringing you; you must not follow their statutes. Temusaana kweyisanga mu bikolwa byammwe ng’ab’omu Misiri, gye mwabeeranga, bwe beeyisa, era temusaana kweyisanga ng’ab’omu Kanani, gye mbatwala, bwe beeyisa. Temutambuliranga mu mateeka gaabwe.
4 You must follow my judgments and keep my statutes, walking in them. I am your Father. Munaagonderanga ebiragiro byange, munaakwatanga amateeka gange, era mwe munaatambuliranga. Nze Mukama Katonda wammwe.
5 Keep my statutes and my judgments; whoever does them will live by them. I am your Father. Mugonderenga ebiragiro byange awamu n’amateeka gange, kubanga buli muntu anaabikwatanga mu byo mwanaatambulizanga obulamu bwe. Nze Mukama Katonda wammwe.
6 "None of you may approach any close relative to have sexual relations. I am your Father. “ ‘Tewabanga omuntu yenna mu mmwe ajja eri munne gw’alinako oluganda ne yeebaka naye. Nze Mukama.
7 "Do not have sex with your mother—that exposes your father's nakedness. She is your mother; do not have sex with her. “ ‘Toleeteranga kitaawo buswavu ng’okola ebyensonyi ne nnyoko. Oyo ye maama wo eyakuzaala, teweebakanga naye ne mukola ebyensonyi, n’omuleetako obuswavu.
8 "You must not have sexual relations with your father's wife; that would dishonor your father. “ ‘Teweebakanga na muka kitaawo ne mukola ebyensonyi, ekyo kireetera kitaawo obuswavu ne kimumalamu ekitiibwa.
9 "Don't have sexual relations with your sister, your father's or mother's daughter, born at home or elsewhere. “ ‘Teweebakanga na mwannyoko, azaalibwa kitaawo, oba azaalibwa nnyoko, ne bwe muba nga mwakulira mu maka gamu oba nga temwakulira wamu, tomukolangako bya nsonyi okumuleetera obuswavu.
10 "Do not have sex with your son's or daughter's daughter—that exposes your own nakedness. “ ‘Teweebakanga na muwala azaalibwa mutabani wo, oba muwala w’omwana wo omuwala, n’okola naye ebyensonyi; ekyo ne kikuleetako obuswavu.
11 "Your father's wife's daughter, born to your father, is your sister; do not have sex with her. “ ‘Teweebakanga na mwana wa muka kitaawo ow’obuwala eyazaalibwa kitaawo n’omukolako ebyensonyi; oyo mwannyoko. Tomuleeteranga bya buswavu.
12 "You must not have sexual relations with your father's sister; she is your father's close relative. “ ‘Teweebakanga na mwannyina wa kitaawo n’okola naye ebyensonyi; oyo ne kitaawo ba musaayi gwe gumu.
13 "You must not have sexual relations with your mother's sister, for she is your mother's close relative. “ ‘Teweebakanga na muwala bwe bazaalibwa ne nnyoko n’okola naye ebyensonyi; kubanga oyo ne nnyoko ba musaayi gwe gumu.
14 "Do not dishonor your father's brother by having sex with his wife; she is your aunt. “ ‘Toweebuulanga muganda wa kitaawo, ng’olaga eri mukazi we weebake naye mukole ebyensonyi; oyo maama wo omuto.
15 "Do not have sex with your daughter-in-law; she is your son's wife—do not have sex with her. “ ‘Teweebakanga na muka mutabani wo ne mukola ebyensonyi; kubanga oyo ye mukyala wa mutabani wo; tomuleeteranga bya buswavu.
16 "You must not have sexual relations with your brother's wife; that would dishonor your brother. “ ‘Teweebakanga na muka muganda wo ne mukola ebyensonyi, kubanga ekyo kinaaleeteranga muganda wo obuswavu.
17 "Do not have sex with a woman and her daughter, or take her son's or her daughter's daughter, to have sex with them; they are close relatives—that is depraved. “ ‘Teweebakanga na mukazi ate ne muwala we n’okola nabo ebyensonyi. Era teweebakanga na mwana muwala owa mutabani wa mukazi oyo oba na mwana muwala owa muwala we; kubanga abo ba musaayi gwe gumu n’ogw’omukazi oyo. Ekyo kibi kinene.
18 "Do not marry a woman as rival to her sister, sleeping with her while the sister is still living. “ ‘Toleetanga mukazi nga muganda wa mukyala wo ne badda mu kuvuganya, era ne weebaka naye ne mukola ebyensonyi nga mukyala wo akyali mulamu.
19 "Do not approach a woman for sex during her monthly impurity. “ ‘Tosembereranga mukazi ng’oyagala weebake naye omukoleko ebyensonyi ng’ali mu kiseera kye ekya buli mwezi eky’okuvaamu omusaayi mw’abeerera atali mulongoofu.
20 "Do not have sex with your neighbor's wife, making yourself unclean by her. “ ‘Teweebakanga na mukyala wa munnansi yammwe okumukolako ebyensonyi, n’akuleetera obutali bulongoofu.
21 "Do not give any of your children to be passed through the fire to Molech, desecrating your Father's name. I am your Father. “ ‘Mu baana bo towangayo n’omu ng’ekiweebwayo ekyokeddwa mu muliro eri Moleki, kubanga erinnya lya Katonda wo tosaanira kuliweebuulanga. Nze Mukama.
22 "You must not have sexual relations with a male as with a woman; it is detestable. “ ‘Teweebakanga na musajja nga bwe wandyebase n’omukazi, ekyo kibi ekikyayibwa ennyo.
23 "Do not have sex with any animal, making yourself unclean; a woman must not present herself to an animal to mate with it. That is a perversion. “ ‘Tokolanga bya nsonyi ku nsolo kubanga ekyo kinaakufuulanga atali mulongoofu. Omukazi teyeewangayo eri ensolo emukoleko ebyensonyi, okwo kwe kuwabira ddala.
24 "Do not make yourselves unclean by any of these, for by all of them the nations I'm driving out before you became unclean. “ ‘Temwereetangako obutali bulongoofu nga mugoberera amayisa ago amabi; kubanga n’amawanga ge ŋŋenda okugoba mu nsi mwe mujja okuyingira bwe geefuula bwe gatyo agatali malongoofu;
25 The land was made unclean, so I called it to account for its guilt, and it vomited out those living there. n’ensi n’efuuka etali nnongoofu, ne ngibonereza olw’ebyonoono byayo, n’abantu baamu abagibeeramu n’ebasesema.
26 Keep my rules and laws. None of you—native or foreigner among you—may do any of these detestable things. Naye mmwe mukuumenga ebiragiro byange n’amateeka gange. Abazaaliranwa ne bannamawanga abali mu mmwe tewabanga n’omu anaakolanga ku bintu ebyo n’akatono ebikyayibwa ennyo bwe bityo.
27 For the people of the land before you did all these detestable things, and it was made unclean. Kubanga ebintu ebyo byonna byakolebwanga abantu abaabasooka mmwe okubeera mu nsi omwo, ensi n’efuuka etali nnongoofu.
28 Let the land not vomit you out for making it unclean, as it vomited out the nation before you. Ensi eyo bwe muligifuula etali nnongoofu, egenda kubasesema nga bwe yasesema amawanga agaabasooka okugibeeramu.
29 "Anyone who does any of these detestable things will be cut off from among their people. “ ‘Abantu bonna abanaakolanga ebintu ebyo ebibi ebikyayibwa ennyo, abantu ng’abo banaagobwanga ne bagaanibwa okukolagana ne bannaabwe.
30 So keep my charge: do none of the detestable customs practiced before you, and do not make yourselves unclean by them. I am your Father." Mukwatenga amateeka gange, nga mwewalanga okukola ebyonoono ebyo ebikyayibwa eby’amayisa amabi, abo abaabasooka ge beeyisanga si kulwa nga gabafuula abatali balongoofu. Nze Mukama Katonda wammwe.’ ”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]