Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Leviticus 10 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Nadab and Abihu, Aaron's sons, each took his censer, put fire in it, added incense, and offered unauthorized fire before our Father, which he had not commanded them. Awo olwatuuka, batabani ba Alooni, Nadabu ne Abiku ne beetwalira buli omu ekyoterezo kye, ne bateekamu omuliro, ne bassaako obubaane, ne bawaayo eri Mukama Katonda omuliro ogutali mutukuvu, ne basobya ekiragiro kye.
2 Fire came out from our Father's presence and consumed them, and they died before our Father. Omuliro ne guva eri Mukama ne gubookya, ne bafiira awo mu maaso ga Mukama Katonda.
3 Moses said to Aaron, "This is what our Father spoke: 'Among those near me I will show myself holy, and before all the people I will be honored.'" Aaron was silent. Awo Musa n’agamba Alooni nti, Kino Mukama Katonda kye yayogerako bwe yagamba nti, “ ‘Nzija kweyolekanga nga bwe ndi omutukuvu eri abo abansemberera, era nassibwangamu ekitiibwa abantu bonna.’ ” Alooni n’asirika busirisi.
4 Moses called Mishael and Elzaphan, sons of Uzziel, Aaron's uncle, and said to them, "Come near, carry your brothers from in front of the sanctuary, outside the camp." Awo Musa n’ayita Misayeri ne Erizafani, abaana ba Wuziyeeri kitaawe omuto owa Alooni, n’abagamba nti, “Mujje wano musitule emirambo gya baganda bammwe mugiggye wano awatukuvu mugitwale ebweru w’olusiisira.”
5 They came near and carried them still in their tunics out of the camp, as Moses had said. Bwe batyo ne bajja ne basitula baganda baabwe abo nga bwe baali bayambadde ne babatwala ebweru w’olusiisira nga Musa bwe yabagamba.
6 Moses said to Aaron and his sons Eleazar and Ithamar, "Don't let your hair hang loose or tear your clothes, or you will die and wrath will come on the whole community. But your relatives, the whole house of Israel, may weep for the burning our Father kindled. Awo Musa n’agamba Alooni, ne Eriyazaali ne Isamaali, batabani ba Alooni, nti, “Mmwe temusumulula nviiri zammwe okuzita ne zireebeeta era temuyuza byambalo byammwe nga mukungubaga, kubanga muyinza okufa, n’obusungu bwa Mukama Katonda buyinza okubuubuukira abantu bonna. Naye baganda bammwe, ye nnyumba yonna eya Isirayiri, babakaabire abo Mukama Katonda b’azikirizza n’omuliro.
7 Don't leave the Tent of Meeting entrance, or you'll die—our Father's anointing oil is on you." They did as Moses said. Era temuva ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, temulwa kufa; kubanga muliko amafuta ag’omuzeeyituuni ga Mukama Katonda ag’okwawula.” Ne bakola nga Musa bwe yabalagira.
8 Our Father spoke to Aaron, saying, Awo Mukama Katonda n’agamba Alooni nti,
9 "You and your sons must not drink wine or strong drink when you enter the tent of meeting, or you will die. This is a lasting statute for your generations, “Ggwe ne batabani bo bwe muyingiranga mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu temunywanga envinnyo oba ekyokunywa ekirala kyonna ekitamiiza; bwe mulikikola temulirema kufa. Eryo linaabanga tteeka ery’enkalakkalira ne mu mirembe gyonna egigenda okujja.
10 to distinguish holy from common, and unclean from clean, Mwawulengamu ebitukuvu n’ebyabulijjo, ebirongoofu n’ebitali birongoofu;
11 and so you can teach the people of Israel all the statutes I told them through Moses." era kibasaanidde okuyigirizanga abaana ba Isirayiri amateeka gonna Mukama Katonda g’abawadde ng’agayisa mu Musa.”
12 Moses told Aaron and his surviving sons, Eleazar and Ithamar: "Take the grain offering left from the fire offerings to our Father, and eat it without yeast beside the altar—it is most holy. Awo Musa n’agamba Alooni ne Eriyazaali ne Isamaali, batabani ba Alooni abaali basigaddewo, nti, “Mutwale ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ekyasigaddewo ku biweebwayo ebyokebwa eri Mukama Katonda nga si kizimbulukuse, mukiriire okumpi n’ekyoto kubanga kitukuvu nnyo.
13 Eat it in a holy place—it is your portion and your sons' portion from the fire offerings to our Father, for that is what I was commanded. Mukiriire mu kifo ekitukuvu, kubanga gwe mugabo gwo, era gwe mugabo gw’abatabani bo, nga guva ku kiweebwayo eri Mukama Katonda ekyokebwa; bwe ntyo bwe ndagiddwa.
14 But you, your sons, and your daughters may eat the waved breast and the raised thigh in a clean place; they are given as your portion and your sons' portion from Israel's peace offerings. Naye ekifuba ekiwuubibwa n’ekisambi ekiweebwayo munaabiriira mu kifo kyonna kye munaalaba ekirongoofu; mubirye, ggwe ne batabani bo ne bawala bo b’oli nabo; kubanga bibaweereddwa ng’omugabo gwammwe, ggwe n’abaana bo, nga biva ku biweebwayo olw’emirembe ebiweereddwayo abaana ba Isirayiri.
15 They must bring the raised thigh and the waved breast, with the fat offerings burned by fire, waving them as a wave offering before our Father; they are yours and your sons' as a lasting portion, as our Father commanded." Ekisambi ekiweereddwayo n’ekifuba ekiwuubibwa, binaaleetebwa awamu n’amasavu ag’oku biweebwayo ebyokebwa, ne biwuubibwawuubibwa nga kye kiweebwayo ekiwuubibwa awali Mukama, era kinaabeeranga mugabo gwo awamu ne batabani bo emirembe gyonna; nga Mukama Katonda bw’alagidde.”
16 Moses carefully inquired about the sin offering's goat and found it burned up. He was angry with Eleazar and Ithamar, Aaron's remaining sons, and said, Awo Musa n’abuuliriza ebyali bifudde ku mbuzi ey’ekiweebwayo olw’ekibi, n’avumbula nga baagyokezza dda, n’anyiigira batabani ba Alooni abaali basigaddewo, Eriyazaali ne Isamaali, n’ababuuza nti,
17 "Why didn't you eat the sin offering in the place of the sanctuary? Since it is most holy, our Father gave it to you to remove the congregation's guilt and make atonement for them before our Father. “Lwaki ekiweebwayo ekyo olw’ekibi temwakiriiridde, wali awatukuvu? Kitukuvu nnyo. Kyabaweereddwa kiryoke kiggyiseeko abantu bonna ebibi byabwe, nga mmwe mubatangiririra awali Mukama Katonda.
18 Since its blood wasn't brought into the sanctuary, you should have eaten it in the sanctuary, as I commanded." Ng’omusaayi gwayo bwe gutaatwaliddwa munda mu Kifo Ekitukuvu, embuzi eyo ddala mwandigiriiridde awo awatukuvu nga bwe nabalagira.”
19 Aaron said to Moses, "Look, today my sons offered their sin offering and their burnt offering before our Father, and yet all this happened to me. Had I eaten the sin offering today, would it have pleased our Father?" Awo Alooni n’addamu Musa nti, “Laba, olwa leero bawaddeyo eri Mukama Katonda ekiweebwayo olw’ebibi byabwe n’ekiweebwayo kyabwe ekyokebwa; naye era ebintu nga bino ne bingwako. Mukama Katonda yandisanyuse singa leero ndidde ekiweebwayo olw’ekibi?”
20 When Moses heard that, he was satisfied. Awo Musa bwe yawulira ebigambo ebyo n’amatira.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]