Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Leviticus 9 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 On the eighth day Moses called Aaron and his sons and the elders of Israel. Ku lunaku olw’omunaana Musa n’ayita Alooni ne batabani be n’abakulembeze ba Isirayiri.
2 He told Aaron, "Take a bull calf for yourself as a sin offering, a ram as a burnt offering, both without defect, and offer them before our Father. N’agamba Alooni nti, “Ddira ennyana eya sseddume eweebwayo olw’ekibi, n’endiga ennume olw’ekiweebwayo ekyokebwa, nga zombi teziriiko kamogo, oziweeyo ng’ekiweebwayo eri Mukama Katonda.
3 Tell the Israelites: Take a male goat for a sin offering, and a yearling calf and lamb, without defect, for a burnt offering. Ogambe abaana ba Isirayiri nti, ‘Muddire embuzi ennume eweebwayo olw’ekibi, n’ennyana n’omwana gw’endiga, nga zino zombi zaakamala omwaka gumu obukulu era nga teziriiko kamogo, nga za kiweebwayo ekyokebwa;
4 An ox and a ram for a peace offering, to sacrifice before our Father, plus a grain offering mixed with oil—for today our Father will appear to you." era n’ente eya sseddume n’endiga ennume eby’ebiweebwayo olw’emirembe, n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke nga mulimu amafuta ag’omuzeeyituuni, byonna mubiweeyo nga kye kiweebwayo eri Mukama Katonda; kubanga ku lunaku lwa leero Mukama Katonda ajja kubalabikira.’ ”
5 They brought what Moses commanded to the tent of meeting's entrance; the whole assembly drew near and stood before our Father. Bwe batyo ne baleeta byonna Musa bye yabalagira okuleeta mu maaso ga Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Abantu bonna, kye kibiina ekinene, ne basembera ne bayimirira awali Mukama Katonda.
6 Moses said, "Do what our Father commanded, so the glory of our Father will appear to you." Musa n’alyoka abagamba nti, “Kino kye kyo Mukama Katonda kye yabagambye okukola, era ekitiibwa kya Mukama kijja kubalabikira.”
7 Moses told Aaron, "Come to the altar. Offer your sin offering and burnt offering, atone for yourself and the people. Offer the people's offering and atone for them, as our Father commanded." Awo Musa n’agamba Alooni nti, “Sembera ku kyoto oweeyo ekiweebwayo kyo olw’ebyonoono byo, n’ekiweebwayo kyo ekyokebwa, olyoke weetangiririre awamu n’abantu era oleete ekiweebwayo eky’abantu; obatangiririre; nga Mukama Katonda bwe yalagidde.”
8 So Aaron approached the altar and slaughtered the sin-offering calf, which was for himself. Awo Alooni n’asembera ku kyoto, n’atta ennyana ey’ekiweebwayo kye olw’ebyonoono bye.
9 Aaron's sons brought him the blood; he dipped his finger in it, put it on the altar's horns, and poured the rest at its base. Batabani ba Alooni ne bamuleetera omusaayi, n’annyika olunwe lwe mu musaayi n’agusiiga ku mayembe ag’oku kyoto, n’afuka omusaayi ku ntobo y’ekyoto.
10 But he burned the sin offering's fat, kidneys, and liver lobe on the altar, as our Father commanded Moses. N’addira amasavu n’ensigo n’ebibikka ku kibumba eby’omu kiweebwayo olw’ekibi, n’abyokera ku kyoto, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
11 He burned the flesh and the skin with fire outside the camp. Ennyama n’eddiba n’abyokera mu muliro ebweru w’olusiisira.
12 He killed the burnt offering. Aaron's sons handed him the blood, and he splashed it against the altar's sides. Alooni n’atta ekiweebwayo ekyokebwa; batabani be ne bamuleetera omusaayi, n’agumansira ku kyoto okukyebungulula.
13 They handed him the burnt offering in pieces, with the head, and he burned them on the altar. Ne bamuleetera ebifi eby’ekiweebwayo ekyokebwa nga n’omutwe kweguli; byonna n’abyokera ku kyoto.
14 He washed the intestines and legs, burning them on the altar with the burnt offering. N’ayoza ebyenda n’amagulu, n’abyokera wamu n’ekiweebwayo ekyokebwa ku kyoto.
15 Then he brought the people's offering: took their sin-offering goat, slaughtered it, and offered it for sin, like the first. Awo Alooni n’aleeta ekiweebwayo olw’abantu. Yaddira embuzi ey’ekiweebwayo olw’ebibi by’abantu n’agitta, n’agiwaayo ng’ekiweebwayo kye olw’ekibi, kye yasooka olw’ebibi bye.
16 He presented the burnt offering and offered it as prescribed. N’aleeta ekiweebwayo ekyokebwa n’akiwaayo ng’etteeka bwe liragira.
17 He brought the grain offering, took a handful, and burned it on the altar, besides the morning burnt offering. N’aleeta ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke, n’ayoolamu olubatu, n’akyokya ku kyoto okuliraana n’ekiweebwayo ekyokebwa eky’omu makya.
18 He slaughtered the ox and the ram, the people's peace offering sacrifice, and Aaron's sons brought him the blood, which he threw against the altar's sides. Ente ya sseddume n’endiga ennume nazo n’azitta, nga bye biweebwayo olw’emirembe eby’abantu; batabani ba Alooni ne bamuleetera omusaayi, n’agumansira ku kyoto okukyebungulula enjuuyi zonna.
19 But the fat of the ox and ram: the fat tail, fat covering, kidneys, and long liver lobe, Naye amasavu ag’ente eya sseddume n’ago ag’endiga ennume, n’amasavu ag’oku mukira, n’ago agabikka ku byenda, n’ensigo, n’agabikka ku kibumba,
20 they placed the fat portions on the breasts, and he burned the fat portions on the altar. ne bateeka amasavu gaabyo ku bifuba by’ensolo ezo, n’ayokya amasavu ago ku kyoto;
21 But Aaron waved the breasts and the right thigh as a wave offering before our Father, as Moses had commanded. naye ebifuba n’ekisambi ekya ddyo, Alooni n’abiwuubawuuba mu maaso ga Mukama Katonda nga kye kiweebwayo ekiwuubibwa, nga Musa bwe yalagira.
22 Aaron raised his hands toward the people and blessed them, then came down from making the sin, burnt, and peace offerings. Awo Alooni n’awanikira abantu emikono gye, n’abasabira omukisa. Bw’atyo Alooni ng’amaze okuwaayo ekiweebwayo olw’ekibi, n’ekiweebwayo ekyokebwa, n’ekiweebwayo olw’emirembe, n’avaayo ku kyoto.
23 Moses and Aaron entered the tent of meeting, came out, and blessed the people; the glory of our Father appeared to all the people. Musa ne Alooni ne bayingira mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Bwe baafuluma ne basabira abantu omukisa, era ekitiibwa kya Mukama Katonda ne kirabikira abantu bonna.
24 Fire came from our Father's presence and consumed the burnt offering and fat on the altar. All the people saw it, shouted for joy, and fell facedown. Omuliro ne gujja nga guva eri Mukama Katonda ne gumalirawo ddala ekiweebwayo ekyokebwa n’amasavu ebyali ku kyoto. Awo abantu bonna bwe baakiraba ne baleekaana ne bagalamira wansi ng’amaaso gaabwe gali ku ttaka.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]