Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Leviticus 8 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Our Father spoke to Moses: Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
2 "Take Aaron and his sons with him, the garments, the anointing oil, the bull of the sin offering, the two rams, and the basket of yeast-free bread, “Leeta Alooni ne batabani be, n’ebyambalo, n’amafuta ag’omuzeeyituuni ag’okwawula, ne seddume y’ente ey’ekiweebwayo olw’ekibi, n’endiga ennume bbiri, n’ekibbo ky’emigaati egitali mizimbulukuse;
3 and assemble the whole congregation at the entrance of the tent of meeting." okuŋŋaanyize abantu bonna ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu.”
4 Moses did as our Father commanded him; the assembly gathered at the entrance of the tent of meeting. Musa n’akola nga Mukama Katonda bwe yamulagira; abantu ne bakuŋŋaanira mu kibiina kinene ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu.
5 And Moses said to the congregation, "This is what our Father has commanded to be done." Awo Musa n’agamba ekibiina nti, “Kino Mukama Katonda ky’atulagidde okukola.”
6 Then Moses brought Aaron and his sons forward and washed them with water. Bw’atyo Musa n’aleeta Alooni ne batabani be n’abanaaza n’amazzi.
7 He put the tunic on Aaron, tied the sash around him, dressed him in the robe, put the ephod on him, tied the ephod's skillfully woven band around him, and fastened it to him. N’ayambaza Alooni ekkooti, n’amusiba olwesibyo, n’amwambaza omunagiro, n’amwambaza n’ekyambalo ekya efodi, n’amusibya olwesibyo lwa efodi olwalukibwa n’amagezi amangi, n’amunyweza.
8 He placed the breastpiece on him, and in the breastpiece he put the Urim and the Thummim. N’amuteekako ekyomukifuba, era mu kyomukifuba n’ateekamu Ulimu ne Sumimu.
9 He set the turban on Aaron's head, and on its front he set the gold plate, the holy crown, as our Father commanded Moses. N’amusiba ekitambaala ku mutwe, ne mu maaso ku kitambaala n’assaako ekipande ekya zaabu, nga ye ngule entukuvu, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
10 Then Moses took the anointing oil and anointed the tabernacle and everything in it, and consecrated them. Awo Musa n’addira amafuta ag’omuzeeyituuni ag’okwawula, n’agakozesa okwawula Weema ya Mukama, ne byonna ebibeeramu nabyo n’abyawula.
11 He sprinkled some of it on the altar seven times, anointing the altar, all its utensils, and the basin with its stand, to dedicate them. N’amansira agamu ku mafuta ku kyoto emirundi musanvu, n’ayawula ekyoto ne byonna ebikozesebwako, n’ebbensani ne mw’etuula, okubitukuza.
12 He poured some anointing oil on Aaron's head and anointed him to dedicate him. N’afuka agamu ku mafuta ag’okwawula ku mutwe gwa Alooni, n’amwawula, okumutukuza.
13 Then Moses brought Aaron's sons forward, dressed them in tunics, tied on sashes, and put caps on their heads, as our Father had commanded Moses. Awo Musa n’aleeta batabani ba Alooni n’abambaza amakooti, n’abasiba eneesibyo, n’abambaza enkuufiira, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
14 He brought the bull of the sin offering, and Aaron and his sons laid their hands on its head. Awo n’aleeta seddume ey’ekiweebwayo olw’ekibi; Alooni ne batabani be ne bakwata ku mutwe gwayo.
15 Moses slaughtered it, took the blood, and with his finger applied it to the altar's horns all around, purifying the altar. He poured the rest of the blood at the altar's base and dedicated the altar, making atonement for it. Musa n’agitta, n’addira omusaayi gwayo n’agusiiga n’olugalo lwe ku mayembe ag’oku kyoto okukyebungulula, n’atukuza ekyoto. Omusaayi ogwasigalawo n’aguyiwa wansi w’ekyoto, n’akitukuza, okukitangiririra.
16 He took all the fat on the inner organs, the liver's lobe, and the two kidneys with their fat, and burned it on the altar. Musa n’addira amasavu gonna agaali ku byenda, n’agaali gabisse ku kibumba, n’ensigo zombi n’amasavu gaazo, byonna n’abyokera ku kyoto.
17 But the bull—hide, flesh, and waste—he burned outside the camp, as our Father commanded Moses. Naye seddume, n’eddiba lyayo, n’ennyama yaayo, n’obusa bwayo, n’abyokera mu muliro ebweru w’olusiisira, nga Mukama bwe yalagira Musa.
18 He brought the ram for the burnt offering; Aaron and his sons laid their hands on its head. Awo n’aleeta endiga ennume ey’ekiweebwayo ekyokebwa; Alooni ne batabani be ne bakwata ku mutwe gwayo.
19 Moses slaughtered it and threw the blood against the sides of the altar. Musa n’agitta, n’amansira omusaayi gwayo buli wantu ku kyoto.
20 He cut the ram into pieces and burned the head, the pieces, and the fat. Awo endiga ng’ewedde okusalwasalwa mu bifi, Musa n’ayokya ebifi ebyo n’omutwe gwayo n’amasavu.
21 He washed the inner organs and legs in water, then burned the whole ram on the altar—a burnt offering, a pleasing aroma, a food offering to our Father, as our Father commanded Moses. Ebyenda n’amagulu nga biwedde okunaazibwa n’amazzi, Musa n’alyoka ayokya endiga yonna ku kyoto. Ekyo nga kye kiweebwayo ekyokye eky’akawoowo akasanyusa, nga kiweerwayo ku muliro eri Mukama, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
22 He brought the second ram, the ram of ordination, and Aaron and his sons laid their hands on its head. Awo Musa n’aleeta endiga ennume eyookubiri, nga y’endiga ey’ekiweebwayo olw’okwawulibwa; Alooni ne batabani be ne bagikwata ku mutwe gwayo.
23 Moses slaughtered it, took some of its blood, and put it on Aaron's right earlobe, right thumb, and right big toe. Musa n’alyoka agitta, n’addira ku musaayi gwayo n’agusiiga ku kasongezo k’okutu kwa Alooni okwa ddyo, ne ku kinkumu eky’engalo ye ey’omukono ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja eky’okugulu okwa ddyo.
24 Moses brought Aaron's sons near and put blood on their right earlobes, thumbs, and big toes, then splashed the rest against the altar's sides. Batabani ba Alooni nabo ne baleetebwa, Musa n’asiiga omusaayi ku busongezo bw’amatu gaabwe aga ddyo, ne ku binkumu eby’engalo zaabwe ez’emikono gyabwe egya ddyo, ne ku bigere ebisajja eby’amagulu gaabwe aga ddyo. Musa n’addira omusaayi n’agumansira buli wantu ku kyoto okukyebungulula.
25 He took the fat, the fat tail, all the fat on the intestines, the liver's long lobe, the two kidneys with their fat, and the right thigh. N’addira amasavu n’omukira ogwo omusava, n’amasavu gonna agaali ku byenda, n’agaali gabisse ku kibumba, n’ensigo zombi n’amasavu gaazo, n’ekisambi ekya ddyo;
26 From the basket of unleavened bread before our Father, he took one cake, one oiled cake, and one wafer, and put them on the fat and the right thigh. n’alaba mu kibbo omubeera emigaati egitali mizimbulukuse egibeera mu maaso ga Mukama Katonda, n’aggyamu akagaati kamu akatali kazimbulukuse, n’akagaati akaakolebwa n’amafuta ag’omuzeeyituuni, n’akasukuuti ak’oluwewere kamu, n’abiteeka ku masavu ne ku kisambi ekya ddyo;
27 He put all these in Aaron's and his sons' hands, and waved them as a wave offering before our Father. ebyo byonna n’abikwasa Alooni ne batabani be mu ngalo zaabwe, ne babiwuubawuuba mu maaso ga Mukama Katonda, nga kye kiweebwayo ekiwuubibwa.
28 Moses took them from their hands and burned them on the altar with the burnt offering—an ordination offering, a pleasing aroma, a food offering to our Father. Awo Musa ebyo byonna n’abibaggyako, n’abyokera ku kyoto awamu n’ekiweebwayo ekyokebwa, nga kye kiweebwayo eri Mukama Katonda eky’okwawulibwa, ekyokebwa mu muliro ne muvaamu akawoowo akalungi akasanyusa.
29 Moses took the breast and waved it as a wave offering before our Father—Moses's portion from the ram of ordination, as our Father commanded him. Era Musa n’addira ekifuba n’akiwuubawuuba, nga kye kiweebwayo eri Mukama ekiwuubibwa. Guno nga gwe mugabo gwa Musa ku ndiga ennume ey’okwawulibwa, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
30 Moses took some anointing oil and some blood from the altar and sprinkled it on Aaron and his garments, on his sons and their garments. So he consecrated Aaron and his garments, and his sons and their garments with him. Awo Musa n’addira ku mafuta ag’okwawula ne ku musaayi ogwali ku kyoto, n’amansira ku Alooni ne ku byambalo bye, ne ku batabani be awamu ne ku byambalo byabwe. Bw’atyo n’atukuza Alooni n’ebyambalo bye awamu ne batabani be n’ebyambalo byabwe.
31 Moses told Aaron and his sons, "Boil the meat at the tent of meeting's entrance, eat it there with the bread from the ordination-offering basket, as I commanded: Aaron and his sons will eat it. Musa n’agamba Alooni ne batabani be nti, “Ennyama mugifumbire awo ku mulyango gw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, era awo we muba mugiriira awamu n’emigaati egiri mu kibbo omuli ebiweebwayo olw’okwawulibwa, nga bwe nabalagira nga ŋŋamba nti, ‘Alooni ne batabani be baligirya.’
32 Whatever is left of the meat and the bread, burn it with fire. Ebifisseewo ku nnyama ne ku migaati mujja kubyokya mu muliro.
33 Do not leave the Tent of Meeting's entrance for seven days, until your ordination days end, for it takes seven days to ordain you. Era temufulumanga okuva ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu okumala ennaku musanvu, okutuusa ng’ennaku zammwe ez’okwawulibwa zituukiridde, kubanga okubaawula kugenda kumala ennaku musanvu.
34 What has been done today, our Father has commanded to be done to make atonement for you. Mukama alagidde nti nga bwe kikoleddwa leero bwe kinaakolebwanga bwe kityo okubatangiririra.
35 Stay at the tent of meeting's entrance day and night, seven days, doing what our Father requires, so you do not die—this is what I was commanded." Mujja kubeera ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu emisana n’ekiro okumala ennaku musanvu, nga mukola ebyo Mukama by’abalagidde, si kulwa nga mufa; bwe ntyo bwe ndagiddwa.”
36 So Aaron and his sons did everything our Father had commanded through Moses. Bwe batyo Alooni ne batabani be ne bakola ebyo byonna Mukama Katonda bye yalagira ng’abiyisa mu Musa.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]