Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Leviticus 11 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Our Father spoke to Moses and Aaron, saying to them, Awo Mukama Katonda n’agamba Musa ne Alooni nti,
2 "Speak to the Israelites: These are the living creatures you may eat among all the animals on the earth. “Mutegeeze abaana ba Isirayiri nti bino bye biramu bye munaayinzanga okulya mu bisolo byonna eby’oku nsi.
3 Among the animals, you may eat any that has a divided hoof, fully split, and chews the cud. Munaayinzanga okulya ensolo yonna erina ekigere ekyaseemu nga kyeyawulidde ddala, era ng’ezza obwenkulumu.
4 "But these you must not eat among those that chew the cud or have a divided hoof: the camel—it chews the cud but has no divided hoof; it is unclean for you. Kyokka ezo ezizza obwenkulumu bwokka, oba ezirina ebigere ebyaseemu byokka, temuziryanga. Ggamba eŋŋamira, newaakubadde ng’ezza obwenkulumu naye ebigere byayo si byaseemu; noolwekyo si nnongoofu.
5 The rock badger chews the cud but has no divided hoof; it is unclean for you. N’omusu nagwo guzza obwenkulumu, naye ebigere byagwo si byaseemu; noolwekyo si mulongoofu.
6 The hare, because it chews the cud but has no divided hoof—it is unclean for you. Ate n’akamyu ak’omu nsiko, newaakubadde nako kazza obwenkulumu naye ebigere byako si byaseemu, noolwekyo si kalongoofu, era temukalyanga.
7 And the pig, though it has a divided, fully split hoof, does not chew the cud—unclean for you. Ate mulabe embizzi, newaakubadde ng’ekigere kyayo kyaseemu, ate nga kyeyawulidde ddala, naye tezza bwenkulumu; noolwekyo si nnongoofu gye muli.
8 Do not eat their flesh, and do not touch their carcasses—they are unclean for you. Ebisolo ng’ebyo temulyanga nnyama yaabyo, wadde okukwatako ku mirambo gyabyo; kubanga si birongoofu gye muli.
9 "You may eat these of all in the waters: whatever has fins and scales in the waters, seas, and rivers—those you may eat. “Ku biramu ebiri mu mazzi ag’omu nnyanja n’ag’omu migga mulyangako ebyo ebirina amatu awamu n’amagagamba ku mubiri gwabyo.
10 But any without fins and scales in the seas and rivers, among all that swarm in the waters and all the living creatures in the waters—they are detestable to you. Ebiramu byonna ebyekuluumulira mu nnyanja ne mu migga naye nga tebiriiko matu oba magagamba binaabanga bya muzizo gye muli.
11 They remain detestable to you; do not eat their flesh, and treat their carcasses as detestable. Nga bwe binaabanga eby’omuzizo gye muli, temuulyenga ku nnyama yaabyo, era n’emirambo gyabyo ginaabanga gya muzizo.
12 Whatever has no fins or scales in the waters—that is detestable to you. Buli kiramu kyonna ekibeera mu mazzi naye nga tekiriiko matu wadde amagagamba kinaabanga kya muzizo gye muli.
13 "Detest these birds; do not eat them—they are detestable: the eagle, the vulture, the black vulture, “Mu nnyonyi, zino ze z’omuzizo era temuuziryenga: empungu, ensega, makwanzi,
14 the kite, and the falcon according to its kind, kamunye, eddiirawamu erya buli ngeri,
15 every raven according to its kind, ne namuŋŋoona owa buli ngeri;
16 the ostrich, the nighthawk, the seagull, and the hawk according to its kind, maaya, olubugabuga, olusobe, enkambo eza buli ngeri,
17 the little owl, the cormorant, the great owl, ekiwuugulu, enkobyokkobyo, ekkufufu,
18 the white owl, the desert owl, the carrion vulture, ekiwuugulu eky’amatu, ne kimbala, ensega,
19 the stork, the heron according to its kind, the hoopoe, and the bat. kasida, mpabaana owa buli ngeri, ekkookootezi, n’ekinyira.
20 "Every winged swarming creature that walks on four legs is detestable to you. “Ebiwuka byonna ebirina ebiwaawaatiro nga bitambuza amagulu ana binaabanga bya muzizo gye muli.
21 Yet these you may eat among all winged swarming creatures that walk on four legs: those with jointed legs above their feet for leaping on the ground. Naye mu biwuka ebyo ebirina ebiwaawaatiro era nga bitambuza amagulu ana munaalyangamu ebyo ebirina ennyingo ku magulu gaabyo ebigenda nga bibuuka amacco ku ttaka.
22 You may eat these: the locust, the bald locust, the cricket, and the grasshopper, each according to its kind. Mu ebyo bino bye munaalyanga: enzige eza buli ngeri, n’enseenene eza buli ngeri, n’obunyeenyenkule obwa buli ngeri, n’amayanzi aga buli ngeri.
23 But every other winged swarming creature that has four feet is detestable to you. Naye ebiwuka ebirala byonna eby’ebiwaawaatiro nga birina amagulu ana binaabanga bya muzizo gye muli.
24 "These things will make you unclean; whoever touches their carcasses will be unclean until the evening, “Bino nabyo binaabafuulanga abatali balongoofu; buli anaakwatanga ku mulambo gw’ensolo nga zino anaafuukanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
25 whoever carries any of their carcasses must wash his clothes and be unclean until evening. Era buli anaasitulanga ekitundu kyonna eky’omulambo gwazo anaateekwanga okwoza engoye ze, kyokka era anaabanga afuuse atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
26 "Every animal with a divided hoof not fully split, or that does not chew the cud, is unclean for you; whoever touches them is unclean. “Buli nsolo yonna erina ekigere ekyaseemu naye nga tekyeyawulidde ddala, oba nga tezza bwenkulumu, eneebanga ya muzizo gye muli. Buli anaakwatanga ku mulambo gwazo anaabanga afuuse atali mulongoofu.
27 Whatever walks on its paws, among all four-legged animals, is unclean for you; whoever touches their carcasses is unclean until evening, Mu nsolo zonna ezitambulira ku magulu ana, ezo ezitambulira ku bibatu byazo teziibenga nnongoofu gye muli, buli muntu anaakwatanga ku mulambo gwazo anaabanga afuuse atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
28 whoever carries their carcasses must wash his clothes and be unclean until evening; they are unclean to you. Era n’oyo anaasitulanga omulambo gwazo anaayozanga engoye ze; naye era anaabanga afuuse atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. Teziibenga nnongoofu gye muli.
29 "These are unclean for you among the swarming things that swarm on the earth: the mole rat, the mouse, the great lizard by its kind, “Mu nsolo ezigenda zisoobera ku ttaka; zino teziibenga nnongoofu gye muli: eggunju, emmese, amakonkome amanene aga buli ngeri;
30 the gecko, the monitor lizard, the wall lizard, the skink, and the chameleon. anaka, enswaswa, omunya, ekkonkome, ne nnawolovu.
31 These are unclean for you among all that swarm; whoever touches them dead is unclean until evening. Mu ezo zonna ezisoobera ku ttaka ezo teziibenga nnongoofu gye muli. Era buli anaazikwatangako nga zimaze okufa anaabanga afuuse atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
32 Anything one of their dead bodies falls on becomes unclean—any wooden vessel, cloth, leather, or sackcloth, any working tool. It must be put in water and stays unclean until evening; then it is clean. Era emu ku zo bw’eneefanga n’egwa ku kintu eky’engeri yonna ekikozesebwa, ekintu ekyo kinaafuukanga ekitali kirongoofu, obanga ekintu ekyo kyakolebwa mu muti, oba mu lugoye, oba mu ddiba oba mu kkutiya. Kiteekebwenga mu mazzi. Tekiibenga kirongoofu okutuusa akawungeezi; kyokka oluvannyuma kinaalongookanga.
33 Any clay pot one of them falls into—whatever is in it is unclean; break it. Era emu ku zo bw’eneegwanga mu nsaka ey’ebbumba, byonna ebiri mu nsaka omwo binaafuukanga ebitali birongoofu, era ensaka eyo muteekwa buteekwa okugyasanga.
34 Any food touched by such water becomes unclean; any drink in such a vessel becomes unclean. Emmere eneebanga egenda okuliibwa naye n’ebaako amazzi agavudde mu nsaka omwo, teebenga nnongoofu, n’amazzi agandinywereddwa okuva mu nsaka omwo tegaabenga malongoofu.
35 Anything one of their carcasses falls on becomes unclean; an oven or stove must be smashed. They are unclean, and unclean to you. Era buli kintu kyonna omulambo gw’ensolo zino kwe gunaabanga gugudde ku masiga okufumbirwa oba mu ntamu, binaayasibwayasibwanga, kubanga si birongoofu; era tebiibenga birongoofu gye muli.
36 Yet a spring or cistern holding water stays clean, but whoever touches their carcasses is unclean. Naye bwe gunaagwanga mu luzzi oba mu ppipa y’amazzi, ebyo byo binaasigalanga birongoofu; naye oyo yenna anaakwatanga ku mulambo ogwo taabenga mulongoofu.
37 If any of their carcasses falls on seed to be planted, it stays clean. Singa omulambo gugwa ku nsigo ez’engeri yonna ezigenda okusimbibwa, zinaasigalanga nnongoofu.
38 But if water has been put on the seed and part of their carcass falls on it, it is unclean for you. Naye singa ensigo ziyiyibbwako amazzi, omulambo ne guzigwako, teziibenga nnongoofu gye muli.
39 "If any animal you may eat dies, whoever touches its carcass is unclean until evening. “Singa ensolo yonna ku ezo ze mukkirizibwa okulya efa, oyo yenna anaakwatanga ku mulambo gwayo anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
40 Whoever eats its carcass must wash their clothes and be unclean until evening; whoever carries its carcass must wash their clothes and be unclean until evening. Oyo anaalyanga ku nnyama y’omulambo kinaamusaaniranga okwoza engoye ze, era taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi. Oyo yenna anaasitulanga omulambo, kinaamusaaniranga okwoza engoye ze, naye taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.
41 "Every swarming creature that swarms on the earth is detestable; do not eat it. “Buli kitonde kyonna ekitambulira ku ttaka kinaabanga kya muzizo, temuukiryenga.
42 Whatever moves on its belly, walks on four legs, or has many feet—among all the swarming things that swarm on the earth—do not eat them; they are detestable. Temuulyenga kitonde kyonna ekyekululira ku ttaka, obanga kyewalulira ku lubuto lwakyo, oba nga kitambuza amagulu, oba nga kikozesa ebigere bingi; kinaabanga kya muzizo.
43 Do not make yourselves detestable with any swarming creature that swarms, and do not make yourselves unclean by them, becoming unclean through them. Temuganyanga kwonoonebwa bitonde ebyo n’ekimu. Temubikozesanga temulwa kweyonoona, era temubikkirizanga kubafuula abatali balongoofu.
44 For I am your Father: dedicate yourselves, be holy, since I am holy. Do not make yourselves unclean with any swarming creature crawling on the ground. Kubanga Nze Mukama Katonda wammwe, kale mwetukuzanga ne mubeera batukuvu, kubanga Nze ndi mutukuvu. Temwesemberezanga ebitonde ebyo ebitambulira ku ttaka ne bibafuula abatali balongoofu.
45 I am your Father who brought you out of Egypt to be your God; be holy, for I am holy." Kubanga Nze Mukama eyabaggya mu nsi ey’e Misiri, okubeera Katonda wammwe; noolwekyo kibasaanira okubeeranga abatukuvu, kubanga Nze ndi mutukuvu.
46 This is the law of the animals, the birds, every living creature moving in the waters, and every creature swarming on the earth, “Ago ge mateeka agakwata ku nsolo, ne ku nnyonyi, ne ku buli kiramu kyonna eky’omu mazzi, ne ku buli kitonde kyonna ekyewalulira ku ttaka.
47 to distinguish between the unclean and the clean, between animals that may be eaten and those that may not. Kibasaaniranga mwawulemu, mu bitonde ebiramu ebirongoofu ebisaana okuliibwanga, ne mu bitonde ebiramu ebitali birongoofu ebitasaana kuliibwanga.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]