Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Leviticus 12 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Our Father spoke to Moses, saying: Mukama n’agamba Musa nti,
2 "Tell the Israelites: when a woman conceives and bears a son, she is unclean seven days—unclean as during her monthly period. “Abaana ba Isirayiri bagambe nti, ‘Omukazi bw’anaabanga olubuto, n’azaala omwana nga wabulenzi, omukazi oyo taabenga mulongoofu okumala ennaku musanvu, okufaanana nga bw’atabeera mulongoofu ng’ali mu kiseera ky’okulwala kw’abakazi okwa buli mwezi.
3 And on the eighth day the flesh of his foreskin will be circumcised. Ku lunaku olw’omunaana omwana oyo omulenzi anaakomolebwanga.
4 For thirty-three days she remains in the blood of her purification. She must not touch anything holy or enter the sanctuary until her days of purification are complete. Ate omukazi anaalindanga ne wayitawo ennaku amakumi asatu mu ssatu alyoke atukuzibwe olw’omusaayi ogwamuvaamu ng’azaala. Taakwatenga ku kintu ekitukuvu wadde okuyingiranga mu watukuvu okutuusa ng’ennaku z’okutukuzibwa kwe ziweddeko.
5 If she bears a daughter, she is unclean two weeks, as during her period, then continues sixty-six days in the blood of her purification. Naye bw’anaabanga azadde omwana wabuwala, omukazi taabenga mulongoofu okumala wiiki bbiri, nga bw’abeera ng’ali mu kiseera kye eky’okulwala kw’abakazi okwa buli mwezi. Ate anaalindanga ennaku nkaaga mu mukaaga alyoke alongoosebwe olw’omusaayi ogwamuvaamu ng’azaala.
6 "When her days of purification for a son or daughter are complete, she must bring the priest at the tent of meeting's entrance a year-old lamb as a burnt offering, and a young pigeon or turtledove as a sin offering. “ ‘Ennaku z’omukazi oyo ez’okutukuzibwa bwe zinaggwangako, bw’anaabanga azadde omwana mulenzi oba muwala, anaaleetanga eri kabona ku mulyango gw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, omwana gw’endiga oguwezezza omwaka gumu obukulu okuguwaayo ng’ekiweebwayo ekyokebwa, ng’enjiibwa ento oba ejjiba ng’ekiweebwayo olw’ekibi.
7 He will offer it before our Father and atone for her; she'll be clean from her blood flow. This is the law for the woman who gives birth, to a son or daughter. Kabona anaabiwangayo eri Mukama okutangirira omukazi oyo; bw’atyo anaabeeranga mulongoofu olw’omusaayi ogwamuvaamu ng’amaze okuzaala. “ ‘Ago ge mateeka agakwata ku mukazi anaazaalanga omwana owoobulenzi oba owoobuwala.
8 "If she can't afford a lamb, she may take two turtledoves or two young pigeons—one for a burnt offering, one for a sin offering. The priest will atone for her, and she will be clean." Bw’anaabanga tasobola kuwaayo mwana gwa ndiga, anaaleetanga bibiri bibiri ku bino: enjiibwa ento bbiri oba amayiba abiri, ekimu nga ky’ekiweebwayo ekyokebwa n’ekirala nga ky’ekiweebwayo olw’ekibi. Mu ngeri eno kabona anaamutangiririranga, bw’atyo n’afuuka mulongoofu.’ ”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]