1Our Father spoke to Moses and Aaron, saying:OLCBAwo Mukama n’agamba Musa ne Alooni nti,
2"When someone has a swelling, rash, or bright spot on their skin that turns into a skin disease, he must be brought to Aaron the priest or one of his priest sons.OLCB“Omuntu yenna bw’anaabanga n’akazimbye ku lususu lw’omubiri gwe, oba awabutuse, oba awali akatulututtu, ne wafaanana ng’awali endwadde ey’ebigenge, aleetebwenga eri Alooni kabona, oba eri omu ku batabani be bakabona.
3The priest examines the mark on the skin. If the hair in it has turned white and it looks deeper than the skin, it is a contaminating skin disease; the priest examines him and declares him unclean.OLCBKabona anaakeberanga ekifo ekyo awazimbye ku lususu, bw’anaasanganga ng’obwoya obuli awo awazimbye bufuuse bweru, ate nga awalwadde wennyise okusinga olususu lw’omubiri gw’omuntu oyo, ng’olwo ebyo bigenge. Kabona bw’anaamalanga okumukebera anaalangiriranga nti omuntu oyo si mulongoofu.
4But if the bright spot on his skin is white, not deeper than the skin, and its hair hasn't turned white, the priest must isolate the person seven days.OLCBNaye awazimbye bwe wanaabanga walungudde, naye nga tewennyise okusinga olususu lw’omubiri gwe, ate nga n’obwoya mu wazimbye awo tebufuuse bweru, kabona anaasibiranga omuntu oyo omulwadde mu kalantiini okumala ennaku musanvu.
5On the seventh day the priest examines him; if the mark hasn't changed or spread on the skin, he isolates him seven more days.OLCBKu lunaku olw’omusanvu kabona anaakeberanga omuntu oyo; bw’anaasanganga ng’awazimbye teweeyongedde, era nga n’obulwadde obwo tebusaasaanye ku lususu, anaayongeranga okumusibira mu kalantiini ennaku endala musanvu.
6On the seventh day the priest examines him again. If the sore faded and didn't spread on the skin, he declares him clean—just a rash. He washes his clothes and is clean.OLCBKu lunaku olw’omusanvu kabona anaddangamu okumukebera, kale bw’anaasanganga ng’obuzimbu tebukyalabika nnyo, era obulwadde obwo nga tebusaasaanye ku lususu, anaamulangiriranga nti mulongoofu; kubanga kubadde kubutuka bubutusi. Omuntu oyo anaayozanga engoye ze, era anaabanga mulongoofu.
7But if the rash spreads on his skin after showing himself to the priest for cleansing, he must show himself to the priest again.OLCBNaye okubutuka okwo bwe kunaasaasaananga ku lususu oluvannyuma lw’okweyanjula eri kabona amulangirire nti mulongoofu, anaateekwanga okuddayo eri kabona yeeyanjule buto.
8The priest examines him: if the rash has spread on the skin, he declares him unclean—it is a skin disease.OLCBKabona anaamukeberanga, bw’anaasanganga ng’okubutuka kusaasaanye ku lususu ku mubiri, kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu; ng’ebyo bigenge.
9"When a defiling skin disease appears on someone, he is to be brought to the priest.OLCB“Omuntu yenna bw’anaakwatibwanga ebigenge, anaaleetebwanga eri kabona.
10The priest examines him: if a white swelling on the skin has turned the hair white, with raw flesh in it.OLCBKabona anaamukeberanga, bw’anaasangangawo obuzimbu obweru ku lususu nga bwerusizza n’obwoya, era awazimbye nga waliwo n’ennyama y’omubiri erungudde,
11It is a chronic skin disease; the priest will pronounce him unclean. He must not isolate him, since he is unclean.OLCBebyo binaabanga bigenge eby’olutentezi ku lususu lw’omubiri gw’omuntu oyo, era kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu. Taasibibwenga mu kalantiini, kubanga amaze okutegeererwawo nga bw’atali mulongoofu.
12"But if the disease breaks out and covers all his skin, head to foot, wherever the priest looks,OLCB“Naye singa ebigenge bisaasaana ku lususu ne bituuka wonna wonna okuva ku mutwe gw’omuntu oyo okutuuka ku bigere nga kabona bw’asobola okulaba,
13the priest examines him; if the disease covers his whole body, he pronounces him clean—since it's all turned white, he is clean.OLCBkale kabona anaakeberanga omuntu oyo; bwe kinaazuulibwanga ng’ebigenge bibunye omubiri gw’omuntu oyo gwonna, anaamulangiriranga nga bw’ali omulongoofu; kubanga omubiri gwe gwonna gufuuse mweru, oyo mulongoofu.
14But on the day raw flesh appears on him, he is to be unclean.OLCBNaye ku lususu lw’omuntu oyo bwe kunaalabikangako ennyama erungudde taabenga mulongoofu.
15The priest sees the raw flesh and pronounces him unclean; the raw flesh is unclean—a skin disease.OLCBKabona anaakeberanga ennyama eyo erungudde, n’amulangirira nga bw’atali mulongoofu. Ennyama erungudde si nnongoofu, kubanga bigenge.
16But if the raw flesh changes and turns white, he is to come to the priest.OLCBNaye singa ennyama erungudde ekyuka n’efuuka enjeru, omuntu oyo anajjanga eri Kabona.
17The priest examines him; if the mark has turned white, he declares him clean—he is clean.OLCBKabona anaamukeberanga, bw’anaazuulanga ng’olususu olulwadde lufuuse lweru, anaalangiriranga omulwadde oyo okuba omulongoofu; bw’atyo anaabanga mulongoofu.
18"When someone has a boil on their skin and it heals,OLCB“Omuntu bw’anaabanga alwadde ejjute ku lususu lwe, naye ne liwona,
19if a white swelling or reddish-white bright spot forms on the boil, show it to the priest.OLCBkyokka mu kifo awaali ejjute ne wajjawo obuzimbu obweru oba akatulututtu akatwakaavu, wasaana walagibwe kabona.
20The priest examines it; if it looks lower than the skin and the hair has turned white, he pronounces him unclean—a skin disease has broken out in the boil.OLCBKabona anaakeberangawo, bw’anaasanganga nga wennyise okusinga olususu, nga n’obwoya bwawo bufuuse bweru; kale kabona analangiriranga omuntu oyo nga bw’atali mulongoofu. Obwo bulwadde bwa bigenge ebifulumidde awo awaali ejjute.
21But if the priest sees no white hair in it, it is not below the skin, and has faded, he is to isolate him seven days.OLCBNaye kabona bw’anaakeberangawo, n’asanga ng’obwoya obuliwo si bweru, ate nga tewennyise okusinga olususu era nga tewakyalabika nnyo, kale kabona anaasibanga omuntu oyo mu kalantiini okumala ennaku musanvu.
22If it spreads further on the skin, the priest declares him unclean; it is diseased.OLCBNaye obulwadde obwo bwe bunaasaasaananga ku lususu, kale kabona analangiriranga omuntu oyo nti si mulongoofu, ebyo nga bigenge.
23But if the bright spot stays put, hasn't spread, it's the scar of the boil, and the priest must pronounce him clean.OLCBNaye obuzimbu bwe bunaasigalanga mu kifo kimu ne butasaasaana, eyo eneebanga nkovu ya jjute, era kabona anaalangiriranga omuntu oyo nti mulongoofu.
24"Or when skin has a fire burn, and the burn's raw flesh becomes a reddish-white or white bright spot,OLCB“Singa wabaawo ku lususu lw’omuntu awayidde omuliro, awo awali ennyama eyidde ne wazimba, ne wafuuka watwakaavu oba weeru,
25the priest examines it: if hair in the bright spot turned white and it looks deeper than the skin, it is a skin disease broken out in the burn—he declares him unclean; it is a skin disease.OLCBkabona anaakeberangawo, obwoya bwawo bwe bunaabanga bufuuse bweru, ate nga walabika ng’awennyise okusinga olususu, ebyo nga bigenge bye bifulumye ku lususu oluyidde. Kabona anaalangiriranga omuntu oyo nti si mulongoofu; ebyo binaabanga bigenge.
26If the priest examines it and finds no white hair in the bright spot, and it's no deeper than the skin but faded, he is to isolate him seven days.OLCBNaye kabona bw’anaakeberanga awo awayidde, n’asanga ng’obwoya obuliwo si bweru, era nga tewennyise kusinga lususu, naye nga tewakyalabika nnyo, kabona anaasibiranga omuntu oyo mu kalantiini okumala ennaku musanvu.
27On day seven the priest examines him. If it spread on the skin, the priest pronounces him unclean—a defiling skin disease.OLCBKu lunaku olw’omusanvu kabona anaamukeberanga, kale bw’anaasanganga ng’obulwadde busaasaana ku lususu, kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu; ebyo nga bigenge.
28But if the bright spot stays in place, hasn't spread on the skin, and has faded, it's the burn's swelling; the priest is to declare him clean—it is only the burn's scar.OLCBNaye obulwadde bwe bunaasigalanga mu kifo ekimu ne butasaasaana ku lususu, era ng’awazimbu tewakyalabika nnyo, buno bunaabanga buzimbu obuleeteddwa omuliro ogwayokyawo; kale kabona anaamulangiriranga nti mulongoofu; kubanga eyo y’enkovu ku lususu awaayokebwa omuliro.
29"When a man or a woman has a mark on the head or in the beard,OLCB“Omusajja oba omukazi bw’anaalwalanga ebbwa ku mutwe oba ku kalevu,
30the priest examines the mark; if deeper than the skin, with thin yellow hair, he pronounces them unclean—an itch, a skin disease of the head or beard.OLCBkabona anaakeberanga ebbwa eryo, bwe linaabanga lyennyise okusinga olususu, nga n’obwoya obulirimu bwa kyenvu ate nga bwa matalaga; kale kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu; eryo nga lye bbwa erisiiwa, nga bye bigenge eby’oku mutwe oba eby’oku kalevu.
31But if the priest examines the itch mark and it looks no deeper than the skin and has no black hair in it, the priest is to isolate the person for seven days.OLCBKabona bw’anaakeberanga ebbwa erisiiwa, n’asanga nga teryennyise kuyisa lususu, ate nga mu lyo nga temuliimu bwoya buddugavu, kale kabona anaasibiranga omuntu oyo alina ebbwa erisiiwa mu kalantiini amalemu ennaku musanvu.
32On the seventh day the priest examines the mark: if the itch hasn't spread, has no yellow hair, and looks no deeper than the skin.OLCBKu lunaku olw’omusanvu kabona anaakeberanga ebbwa eryo, bw’anaasanganga ng’okusiiwa tekusaasaanye, ate nga mu bbwa temuliimu bwoya bwa kyenvu, era ng’awasiiwa tewennyise kusinga lususu,
33The man is to shave, but not the sore area; the priest isolates him another seven days.OLCBomuntu oyo asaananga amwebwe okuggyako awo awalwadde wokka; ate kabona anaamusibiranga mu kalantiini ennaku endala musanvu.
34On the seventh day the priest examines the itch. If it hasn't spread on the skin and looks no deeper than the skin, the priest declares him clean. He washes his clothes and is clean.OLCBKu lunaku olw’omusanvu kabona anaakeberanga awo awasiiwa, okusiiwa bwe kunaabanga tekusaasaanye ku lususu, ate nga tewennyise kusinga lususu, kale, kabona anaalangiriranga omuntu oyo nga bw’ali omulongoofu; era omuntu oyo anaayozanga engoye ze n’abeera mulongoofu.
35But if the itch spreads further on the skin after his cleansing,OLCBNaye okusiiwa bwe kunaasaasaananga ku lususu ng’amaze okulongooka,
36the priest examines him; if the itch spread on the skin, the priest need not look for yellow hair—the man is unclean.OLCBkabona anaayongeranga okumukebera, bw’anaasanganga ng’okusiiwa kusaasaanye ku lususu, kabona taanoonyenga bwoya bwa kyenvu mu bbwa eryo; omuntu oyo si mulongoofu.
37But if the priest sees it unchanged, with black hair grown in it, it's healed; he's clean—the priest pronounces him clean.OLCBNaye mu kulaba kwa kabona, okusiiwa bwe kunaabanga tekweyongedde, nga n’obwoya obwa kyenvu bukuze mu bbwa, olwo ng’okusiiwa kuwonye, era omuntu oyo nga mulongoofu era kabona naye anaamulangiriranga nti mulongoofu.
38"When a man or a woman has white bright spots on their skin,OLCB“Omusajja oba omukazi bw’anaabanga n’obutulututtu obweru ku mubiri gwe,
39the priest examines them; if the bright spots on their skin are dull white, it is a harmless rash that has broken out on the skin; he is clean.OLCBkabona anaamukeberanga, bw’anaasanganga ng’obutulututtu bweruyeru, okwo kuba kubutukabutuka okuyiise ku lususu lw’omuntu oyo, ye aba mulongoofu.
40"When a man loses the hair on his head, he is bald, but he is clean.OLCB“Omusajja bw’anaakuunyuukangako enviiri ze ku mutwe gwe zonna, anaabeeranga kyemwa, naye nga mulongoofu.
41If hair falls from the front of his head, his forehead is bald, but he is clean.OLCBEra omusajja bw’anaakuunyuukangako enviiri ze ez’omu maaso nga ku kyenyi, oyo anaabanga wa kiwalaata eky’omu bwenyi, kyokka nga mulongoofu.
42But if a reddish-white sore is on his bald head or forehead, it is a skin disease breaking out on his bald head or forehead.OLCBNaye mu mutwe omutali nviiri oba mu kiwalaata eky’omu bwenyi bwe munaabangamu akafo akalwadde ebbwa nga kalungudde keeruyeru nga kalimu obumyufumyufu, ebyo nga bigenge bye bifulumye mu mutwe ogutaliimu nviiri oba mu kiwalaata eky’omu bwenyi.
43The priest examines him; if a reddish-white swelling is on his bald head or forehead, like skin disease on the body's skin.OLCBKale kabona anaakeberanga omuntu oyo, bw’anaasanganga ng’akafo ako awalwadde ebbwa era awazimbye mu mutwe oguweddemu enviiri oba mu kiwalaata ekiri mu bwenyi, nga kalungudde era nga weeruyeru nga kalimu obumyufumyufu, nga walabika ng’ebigenge bwe biba nga biri ku lususu olw’omubiri,
44A man with a skin disease is unclean; the priest must declare him unclean, his mark on his head.OLCBomuntu oyo anaabanga mugenge, nga si mulongoofu. Kabona anaamulangiriranga nga bw’atali mulongoofu, olw’obulwadde obwo mu mutwe gwe.
45"Anyone with the skin disease must wear torn clothes, let their hair hang loose, cover their upper lip, and cry, 'Unclean, unclean!'OLCB“Omuntu anaalwalanga ebigenge anaayambalanga engoye njulifu, n’enviiri z’oku mutwe gwe anaazirekanga ne zikula ne ziduumuuka, anaabikkanga ku mumwa gwe ogw’engulu n’atambula nga bw’aleekaana nti, ‘Siri mulongoofu! Siri mulongoofu!’
46While the mark remains, they are unclean—unclean; they must live alone, outside the camp.OLCBEbbanga lyonna omuntu ly’anaamalanga ng’alina obulwadde obwo anaabeeranga si mulongoofu. Anaasulanga yekka mu nnyumba ye ebweru w’olusiisira.
47"When a garment has a mark of mildew in it, whether a wool or a linen garment,OLCB“Obulwadde bw’ebigenge bwe bunaalabikanga mu byambalo by’omusajja oba eby’omukazi, ebyambalo ebyo nga bikoleddwa mu byoya by’endiga oba mu bafuta oba maliba,
48in fabric of linen or wool, woven or knitted, or in leather or anything of leather,OLCBoba mu nfunyiro ne mu ntabiro z’ebyambalo by’ebyoya by’endiga, oba mu bafuta oba mu maliba, oba mu kyambalo ekya buli ngeri yonna ekitungiddwa mu maliba;
49if a mark on garment, leather, warp, or weft, or any leather article, is greenish or reddish, it is mildew and must be shown to the priest.OLCBera obulwadde obwo bwe bunaalabikanga nga bwa langi ya kiragalalagala oba myufumyufu, nga buli mu kyambalo oba mu nfunyiro oba mu ntabiro zaakyo, oba mu kyambalo kyonna ekitungiddwa mu maliba; obwo nga bulwadde bwa bigenge, era bunaalagibwanga kabona.
50The priest is to examine the mark and isolate the affected article for seven days.OLCBKabona anaakeberanga obulwadde obwo, anaasibiranga ekintu ekyo omuli obulwadde mu kalantiini okumala ennaku musanvu.
51On the seventh day he examines the mark. If it has spread in the garment, warp or weft, or in leather or anything made of leather, it is destructive mildew—unclean.OLCBKu lunaku olw’omusanvu kabona anaakeberanga obulwadde obwo. Bw’anaasanganga ng’obulwadde obwo bauaasanye mu kyambalo, mu nfunyiro oba mu butungiro oba mu maliba, oba mu kyonna ekitungiddwa mu maliba, ng’amanya ng’obulwadde obwo bwa bigenge ebitta n’omuntu; ekyo ekyambalo nga si kirongoofu.
52Burn the garment—warp or weft, wool or linen—or any leather article with the mark, for it is a destructive mildew; burn it in the fire.OLCBKabona anaayokyanga ebyambalo ebyo, obanga obulwadde buli mu nfunyiro oba mu ntabiro ez’ebyambalo ebya bafuta oba eby’ebyoya by’endiga, oba ebirala byonna ebitungiddwa mu maliba, kubanga obwo bwe bulwadde bw’ebigenge ebittira ddala. Ebyambalo ebyo binaayokebwanga mu muliro.
53"But if the priest examines it and the sore hasn't spread in the garment, or warp, or weft, or any leather article,OLCB“Kabona bw’anaabanga akebedde ekyambalo ekirimu obulwadde, n’asanga nga tebusaasaanye mu kyambalo, ne mu nfunyiro zaakyo, oba ne mu ntabiro, oba ne mu kyonna ekitungiddwa mu maliba,
54the priest will order the marked article washed, and isolate it another seven days.OLCBkale kabona anaalagiranga ne bayoza ekyambalo ekyo omuli obulwadde, n’ayongera okukisibira mu kalantiini ennaku endala musanvu.
55After the affected fabric is washed, the priest examines it. If the mark's look hasn't changed, though it hasn't spread, it is unclean. Burn it in the fire—it is a corroding spot, inside or outside.OLCBAwo kabona anaakeberanga ekyambalo ekyo ekyoze, bw’anaasanganga ng’erangi y’akafo awali obulwadde tekyuse, newaakubadde ng’obulwadde tebusaasaanye, ekyambalo ekyo nga si kirongoofu. Mukyokyanga mu muliro, awali ebigenge ne bwe wanaabanga mu kyambalo mu maaso oba mu mabega gaakyo.
56If the priest sees the mark has faded after washing, he must tear it from the garment, leather, or woven or knitted material.OLCBNaye kabona bw’anaakeberanga n’asanga nga bwe bamaze okwoza ekyambalo, akafo ako awali obulwadde tekakyalabika nnyo, akafo ako anaakayuzangamu mu kyambalo ekyo, oba mu ddiba oba mu kiruke kyonna ekyambalwa.
57If it reappears in the garment, woven or knitted, or any leather, it's spreading; burn what has the mark in fire.OLCBNaye obulwadde obwo bwe bunaalabikanga nate mu kyambalo, oba mu kyambalo eky’eddiba oba ekiruke, nga busaasaanye, kale munaayokyanga mu muliro ekyambalo ekyo omuli obulwadde.
58But if the mark leaves the garment, warp, weft, or leather item you washed, wash it again—it is clean.OLCBNaye mu kyambalo kyonna, oba ekyambalo eky’eddiba oba ekiruke, obulwadde bwe buggwangamu nga kimaze okwozebwa, kale kinaayozebwanga omulundi ogwokubiri, ne kiba kirongoofu.”
59"This is the law for a mildew mark on a wool or linen garment, warp or weft, or any leather item—to pronounce it clean or unclean."OLCBEryo lye tteeka ery’obulwadde bw’ebigenge mu byambalo by’ebyoya by’endiga, oba linena, oba ebiruke obulusi, oba ebitunge mu maliba mu ngeri ezitali zimu, erinaasinziirwangako okulangirira obanga ekyambalo kirongoofu oba si kirongoofu.