Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Lamentations 1 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 How lonely sits the city that once was full of people! She has become like a widow, she who was great among the nations. She who was a princess among the provinces has become a forced laborer. Ekibuga ekyajjulanga abantu nga kyabuliddwa! Ekyabanga eky’amaanyi mu mawanga, nga kifuuse nga nnamwandu! Eyali kabaka omukazi ng’alina amasaza, afuuse omuddu omukazi.
2 Bitterly she weeps in the night, tears on her cheeks. Among all her lovers she has no one to comfort her; all her friends have betrayed her, they have become her enemies. Ekiro akaaba nnyo nnyini, n’amaziga ne gakulukuta ku matama ge. Mu baganzi be bonna, talina n’omu amubeesabeesa. Mikwano gye bonna bamuliddemu olukwe, bafuuse balabe be.
3 Judah has gone into exile under affliction and harsh servitude; she lives among the nations but finds no resting place. All her pursuers have overtaken her in the midst of her distress. Yuda agenze mu buwaŋŋanguse oluvannyuma lw’okubonaabona n’okukozesebwa n’obukambwe ng’omuddu. Kati abeera mu bannamawanga, talaba kifo kya kuwummuliramu. Bonna abamunoonya bamusanga mu nnaku ye.
4 The roads to Zion mourn, for no one comes to the appointed feasts. All her gates are desolate, her priests groan, her young women grieve, and she herself is in bitter anguish. Enguudo za Sayuuni zikungubaga, kubanga tewali n’omu ajja ku mbaga zaakyo ezaalagibwa. Emiryango gye gyonna girekeddwa awo, bakabona be, basinda; bawala be abaweereza bali mu buyinike, naye yennyini ali mu nnaku.
5 Her foes have become her masters, her enemies are at ease, for our Father has afflicted her because of her many rebellions. Her children have gone away, led captive before the enemy. Abamuyigganya bafuuse bakama be; abalabe be beeyagala, kubanga Mukama amuleeseeko ennaku, olw’ebibi bye ebingi. Abaana be batwalibbwa mu buwaŋŋanguse, bawambiddwa omulabe.
6 All her majesty has departed from the daughter of Zion. Her princes have become like deer that find no pasture; they flee without strength before their pursuers. Ekitiibwa kyonna ekyali ku muwala wa Sayuuni kimuweddeko, abalangira be bafuuse ng’ennangaazi ezibuliddwa omuddo; mu bunafu, badduse ababagoba.
7 In the days of her affliction and wandering, Jerusalem remembers all the precious things that were hers from days of old. When her people fell into the hands of the enemy, with no one to help her, the enemies looked on and mocked her downfall. Mu nnaku ez’okubonaabona kwe ng’asagaasagana, Yerusaalemi ajjukira ebintu eby’omuwendo byonna bye yalinanga mu nnaku ez’edda. Abantu be bwe baagwa mu mikono gy’omulabe, tewaali n’omu amubeera; abalabe be ne bamutunuulira ne bamusekerera olw’okugwa kwe.
8 Jerusalem has sinned grievously; therefore she has become an object of scorn. All who honored her despise her, for they have seen her nakedness; she herself groans and turns away. Yerusaalemi yayonoona nnyo nnyini, bw’atyo n’afuuka atali mulongoofu. Bonna abaamussangamu ekitiibwa bamunyooma, kubanga balabye bw’asigalidde awo; ye yennyini asinda, era akwatibwa ensonyi.
9 Her uncleanness clung to her skirts; she gave no thought to her future. Her fall is astounding, with no one to comfort her. "Look, my Father, on my affliction, for the enemy has triumphed!" Obutali bulongoofu bwe bwali mu birenge bye; teyassaayo mwoyo ku bulamu bwe obw’ebiseera ebijja. Okugwa kwe kwali kwa kyewuunyo; tewaali n’omu amubeesabeesa. “Ayi Mukama, tunuulira okubonaabona kwange, kubanga omulabe awangudde.”
10 The enemy has stretched out his hand over all her precious things; she has watched the nations enter her sanctuary—those you had forbidden to enter your assembly. Omulabe yagololera omukono ku bintu bya Yerusaalemi byonna eby’omuwendo; yalaba amawanga amakaafiiri nga gayingira awatukuvu we, beebo be wali ogaanye okuyingira mu kuŋŋaaniro lyo.
11 All her people groan as they search for bread; they trade their treasures for food just to stay alive. "Look, my Father, and see, for I have become despised. Abantu be bonna basinda nga bwe banoonya ekyokulya; eby’obugagga byabwe babiwanyisaamu emmere, okusobola okuba abalamu. “Laba, Ayi Mukama Katonda, onziseeko omwoyo kubanga nnyoomebwa.”
12 Is it nothing to you, all you who pass by? Look and see if there is any sorrow like my sorrow, which was brought upon me, which our Father inflicted on the day of his fierce anger. “Mmwe tekibakwatako, mmwe mwenna abayitawo? mwetegereze mulabe obanga waliwo obuyinike obwenkana, obwantukako, Mukama bwe yanteekako ku lunaku olw’obusungu bwe obungi.
13 From on high he sent fire into my bones, and it overcame them. He spread a net for my feet and turned me back; he has left me desolate, faint all the day long. “Yaweereza omuliro okuva waggulu, ne gukka mu magumba gange. Yatega ebigere byange akatimba, n’anzizaayo emabega. Yandeka mpuubadde, nga nzirise olunaku lwonna.
14 My rebellions were bound into a yoke; knit together by his hand, they were laid upon my neck, and he sapped my strength. The Sovereign Father handed me over to those I cannot withstand. “Ebibi byange binfuukidde ekikoligo; bisibiddwa ne binywezebwa omukono gwe. Binzitoowerera mu bulago, era bimmazeemu amaanyi. Mukama ampaddeyo mu mikono gy’abo be siyinza kugumiikiriza.
15 The Sovereign Father has rejected all the mighty men in my midst; he summoned an assembly against me to crush my young men. The Sovereign Father has trampled the virgin daughter of Judah as in a winepress. “Mukama anyoomye abalwanyi abazira bonna abaali nange; akuŋŋaanyizza eggye okunwanyisa, okuzikiriza abavubuka bange. Mukama alinnyiridde Omuwala Embeerera owa Yuda, ng’omuntu bw’asambirira ezabbibu mu lyato ng’asogola.
16 For these things I weep; my eyes, my eyes flow with tears, for a comforter who could revive my spirit is far from me. My children are desolate, for the enemy has prevailed." “Kyenva nkaaba, amaaso gange ne gajjula amaziga, kubanga tewali n’omu andi kumpi okumbeesabeesa, ayinza okunzizaamu amaanyi. Abaana bange banakuwavu kubanga omulabe awangudde.”
17 Zion stretches out her hands, but there is no one to comfort her. Our Father has decreed that Jacob's neighbors would become his enemies; Jerusalem has become a filthy thing among them. Sayuuni agolola emikono gye, naye tewali n’omu amudduukirira. Mukama awadde ekiragiro ku Yakobo baliraanwa be babeere balabe be; Yerusaalemi afuuse ekintu ekitali kirongoofu wakati mu bo.
18 Our Father is righteous, for I have rebelled against his word. Hear, all you peoples, and look on my suffering; my young women and my young men have gone into captivity. “Mukama mutuukirivu, newaakubadde nga najeemera ekiragiro kye. Muwulirize mmwe amawanga gonna, mutunuulire okubonaabona kwange; Abavubuka bange ne bawala bange batwalibbwa mu busibe.
19 I called to my lovers, but they deceived me. My priests and my elders perished in the city while they searched for food just to stay alive. “Nakoowoola bannange bannyambe, naye tebanfaako; bakabona bange n’abakadde b’ekibuga kyange bazikiririra mu kibuga nga banoonya ekyokulya baddemu amaanyi.
20 Look, my Father, for I am in distress; my stomach churns, my heart is overturned within me, for I have been very rebellious. In the street the sword cuts people down; in the house it is like death. “Laba, Ayi Mukama Katonda bwe ndi omunakuwavu! Ndi mu kubonaabona, n’omutima gwange teguteredde kubanga njeemye nnyo ekiyitiridde. Ebweru ekitala kirindiridde okunsanyaawo, ne mu nnyumba mulimu kufa kwereere.
21 They have heard how I groan, with no one to comfort me. All my enemies have heard of my trouble; they are glad that you have done it. Bring on the day you have declared, that they may become like me. “Abantu bawulidde okusinda kwange, naye tewali n’omu ananyamba. Abalabe bange bonna bawulidde okusinda kwange; basanyukidde ekyo ky’okoze. Olunaku lwe walangirira, lubatuukeko, babeere nga nze.
22 Let all their evil come before you, and deal with them as you have dealt with me for all my rebellions; for my groans are many, and my heart is faint. “Obabonereze olw’obutali butuukirivu bwabwe bwonna, nga nze bwe wambonereza. Okusinda kwange kungi n’omutima gwange guzirika.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]