Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Jeremiah 15 OLCB

Side by side with the Father's Heart Bible™

Yuda Wakuzikirira

1Awo Mukama n’alyoka aŋŋamba nti, “Musa ne Samwiri ne bwe bandiyimiridde okunneegayirira, sandisonyiye bantu bano. Bagobe okuva mu maaso gange, banviire. 2Era bwe bakubuuza nti, ‘Tunaagenda wa?’“Bagambe nti, ‘Kino Mukama kyagamba nti,Ab’okuttibwa bagenda kuttibwa,n’ab’ekitala bafe ekitala, n’ab’enjala bafe enjala,n’ab’okuwambibwa bawambibwe.’

3“Ndiweereza engeri nnya ez’okubazikiriza,” bw’ayogera Mukama. “Ekitala kya kufumita, embwa zikulule, ebinyonyi eby’omu bbanga n’ensolo ez’omu nsiko zirye n’okuzikiriza. 4Era ndibawaayo babeetamwe eruuyi n’eruuyi mu bwakabaka bwonna obw’omu nsi olw’ekyo Manase mutabani wa Keezeekiya kabaka wa Yuda kye yakola mu Yerusaalemi.

5“Ani alikukwatirwa ekisa ggwe Yerusaalemi?Oba ani alikukungubagira?Oba ani alikyama okubuuza ebikufaako?

6Mwanneegaana,” bw’ayogera Mukama.“Temutya kudda nnyuma.Noolwekyo mbagololeddeko omukono gwangene mbazikiriza.Sikyasobolakukukwatirwa kisa.

7Era ndibakuŋŋunta n’ekitiiyo eky’amannyomu miryango gy’ebibuga eby’omu nsi.Ndizikiriza abantu bange ne mbamalawokubanga tebaaleka makubo gaabwe.

8Bannamwandu beeyongedde obungiokusinga n’omusenyu gw’ennyanja.Mu ttuntu mbaleetedde omuzikirizaamalewo ababazaalira abalenzi abato.Mbakubiddewoobubalagaze n’entiisa.

9Eyazaala omusanvu ayongobedde,awejjawejja.Enjuba ye egudde nga bukyali misana,amaanyi gamuwedde, ensonyi zimukutte, awuunze, awuubadde.N’abo abawonyeewo ndi wa kubasogga ekitala,mu maaso ga balabe baabwe,”bwayogera Mukama.

10Zinsanze, mmange lwaki wanzaalaomuntu eggwanga lyonna gwe lirwanyisa ne likuluusanya?Siwolanga wadde okweyazika,kyokka buli muntu ankolimira.

11Mukama agamba nti,“Ddala ndikununula olw’ekigendererwa ekirungi,ddala ndireetera abalabe bo okukwegayirira,mu biseera eby’okuluma obujiji, mu biseera eby’akabi.

12“Omusajja ayinza okumenya ekikomooba ekyuma eky’omu bukiikakkono?

13“Ndiwaayo eby’obugagga byo n’ebintu byo eby’omuwendo ennyobinyagibwe awatali kusasulwa,olw’ebibi byo byonnaebikoleddwa mu ggwanga lyonna.

14Ndibafuula abasibe b’abalabe bammwemu ggwanga lye mutamanyi,kubanga obusungu bwange bwakukoleeza omuliroogunaabookya gubamalewo.”

Yeremiya Yeekaabirako

15Ayi Mukama ggwe omanyi byonna.Nzijukira ondabirire.Ompalanire eggwanga ku abo abanjigganya.Mu kugumiikiriza kwo okunene tontwala.Lowooza ku ngeri gye mbonyeebonye ku lulwo.

16Ebigambo byo bwe byanzijira, ne mbirya,byali ssanyu era okujaguza kw’omutima gwange.Kubanga mpitibwa linnya lyo,Ayi Mukama Katonda ow’Eggye.

17Situulangako mu kuŋŋaaniro ly’abo ab’ebinyumuera sibeerangako mu biduula nabo.Natuulanga nzekka kubanga naliko omukono gwo,era wandeetera okwekyawa.

18Lwaki okulumwa kwange tekukomaera n’ekiwundu kyange ne kitawona?Onomberera ng’akagga akalimbalimbang’ensulo ekalira?

19Noolwekyo kino Mukama ky’agamba nti,“Bwe muneenenya,ndibakomyawo musobole okumpeereza;bwe mulyogera ebigambo ebisaana so si ebitasaanidde,mulibeera boogezi bange.Leka abantu bano be baba bajja gy’oli,so si ggwe okugenda gye bali.

20Ndikufuula ekisenge eri abantu bano,ekisenge ekinywezebbwa eky’ekikomo.Balikulwanyisanaye tebalikuwangula,kubanga ndi naawe,okukununula, n’okukulokola,”bw’ayogera Mukama.

21“Ndikununula okuva mu mukono gw’abakozi b’ebibiera n’enkuggya mu mukono gw’abasajja abakambwe,” bw’ayogera Mukama.

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]