Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

James 5 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Come now, you who are rich, weep and wail over the miseries that are coming upon you. Kale, mmwe abagagga, mukaabe era mwaziirane. Mugenda kujjirwa ennaku.
2 Your riches have rotted, and your clothes have become moth-eaten. Eby’obugagga byammwe bivunze, n’ebyambalo byammwe biriiriddwa ennyenje.
3 Your gold and silver have rusted; their rust will witness against you and burn your flesh like fire. You piled up riches in the last days. Ezaabu yammwe ne ffeeza bitalazze, era obutalagge bwabyo bwe buliba obujulirwa obulibalumiriza omusango, ne bumalawo omubiri gwammwe ng’omuliro. Mweterekera obugagga olw’ennaku ez’oluvannyuma.
4 Look: the wages you held back from the workers who mowed your fields cry out, and the harvesters' cries have reached the ears of the Father of heaven's armies. Laba abakozi abaakola mu nnimiro zammwe ne mulyazaamaanya empeera yaabwe, bakaaba, n’abaakungula bakungubaga, era amaloboozi g’okwaziirana kwabwe gatuuse mu matu ga Mukama ow’Eggye.
5 You lived on earth in luxury and indulgence. You fattened your hearts in a day of slaughter. Mwesanyusiza ku nsi ne mwejalabya mu bugagga bwammwe. Mwagezza emitima gyammwe nga muli ng’abeetegekera olunaku olw’okubaagirako ebyassava.
6 You have condemned and murdered the righteous one, who does not resist you. Atasobyanga mwamusalira omusango okumusinga ne mumutta, ng’ate ye talina bwe yeerwanirako.
7 So be patient, brothers and sisters, until the Lord's coming. Think of the farmer: he waits patiently for the land's precious fruit, until it gets the early and late rains. Noolwekyo abooluganda mugumiikirize, okutuusa amadda ga Mukama waffe, ng’omulimi bw’agumiikiriza ng’alindirira enkuba eya ddumbi n’eya ttoggo okukuza ebibala bye biryoke byengere.
8 You too must be patient. Strengthen your hearts, because the coming of the Lord is near. Mugumiikirize, era mugume omwoyo, kubanga amadda ga Mukama waffe gali kumpi.
9 Don't grumble against each other, brothers and sisters, or you'll be judged. Look—the Judge stands at the doors. Temwemulugunyizagananga mwekka na mwekka, muleme okusalirwa omusango, kubanga Omulamuzi ayimiridde ku luggi.
10 Brothers and sisters, take the prophets who spoke in the name of our Father as examples of suffering and patience. Ekyokulabirako eky’okugumiikiriza n’okubonaabona, be bannabbi abaayogeranga mu linnya lya Mukama.
11 See, we call those who endured blessed. You've heard of Job's endurance and seen what our Father brought about—our Father is rich in compassion and mercy. Laba tubayita ba mukisa abo abaagumiikiriza. Yobu yeesiga Mukama, era obulamu bwe butulaga ng’entegeka ya Mukama bwe yatuukirizibwa obulungi; kubanga Mukama wa kisa era ajjudde okusaasira.
12 Above all, my brothers and sisters, do not swear—neither by heaven, nor earth, nor any other oath. Let your yes be yes and your no, no, so you won't fall under judgment. Naye okusingira ddala byonna, abooluganda, temulayiranga ggulu, oba ensi, oba ekintu kyonna ekirala. Ensonga bw’ebeeranga weewaawo, gamba weewaawo. Bw’ebeeranga si weewaawo gamba si weewaawo, mulyoke mwewale okusalirwa omusango okubasinga.
13 Is anyone among you suffering? Let them pray. Is anyone cheerful? Let them sing praises. Waliwo mu mmwe ali mu buzibu? Kirungi asabenga olw’obuzibu obwo. N’abo abeetaaga okwebaza, kirungi bayimbirenga Mukama bulijjo ennyimba ez’okumutendereza.
14 Anyone sick among you? Have them call for the church elders, and have the elders pray over them, anointing them with oil in the name of the Lord. Waliwo omulwadde mu mmwe? Kirungi atumye abakulembeze b’Ekkanisa, bamusabire, era bamusiige amafuta, nga bwe basaba Mukama amuwonye.
15 The prayer of faith will save the sick person, and the Lord will raise him up. And if he has sinned, he will be forgiven. Era okusaba kwabwe nga kuweereddwayo n’okukkiriza, kugenda kumuwonya, kubanga Mukama awonya. Singa obulwadde bwe bwava ku kibi kye yakola, Mukama agenda kumusonyiwa.
16 So confess your sins to each other and pray for each other, that you may be healed. A righteous person's prayer is powerful and effective. Noolwekyo mwatulireganenga ebibi byammwe, era buli omu asabirenga munne, mulyoke muwonyezebwe. Okusaba n’omutima omumalirivu ogw’omuntu omutuukirivu, kubeera n’obuyinza bungi, era n’ebivaamu biba bya ttendo.
17 Elijah was a man like us, and he prayed hard that it not rain; it did not rain on the land for three years and six months. Eriya yali muntu ddala nga ffe, naye bwe yeewaayo n’asaba enkuba ereme okutonnya, enkuba teyatonnya okumalira ddala emyaka esatu n’ekitundu!
18 Then he prayed again, and the heavens gave rain, and the earth produced its fruit. Ate n’asaba enkuba n’etonnya, omuddo n’ebisimbe byonna ne biddamu okumera.
19 My brothers and sisters, if anyone among you wanders from the truth and someone turns them back, Abooluganda, singa omu ku mmwe akyama n’ava ku mazima, ne wabaawo amukomyawo,
20 know this: whoever turns a sinner from their wrong way saves that person's soul from death and covers a multitude of sins. omuntu oyo akomyawo munne eri Katonda, aba awonyezza omwoyo gwa munne okufa era ng’amuleetedde n’okusonyiyibwa ebibi byonna.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]