Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

James 4 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Where do wars and fights among you come from? Isn't it your cravings warring inside you? Kiki ekireeta entalo n’okulwanagana mu mmwe? Si lwa kubanga mu mitima gyammwe mujjudde ebintu bingi nnyo ebibi bye mwagala?
2 You want and don't have—you kill. You crave and can't get it—you quarrel and fight. You don't have because you don't ask. Mwagala ebintu ne mutabifuna ne muba n’obuggya, ne mulyoka muttiŋŋana so ne mutasobola kubifuna, nga mulwana era nga muyomba kubanga mulemeddwa okubisaba.
3 You ask and do not receive, because you ask wrongly, to spend it on your own pleasures. Era ne bwe mubisaba, temubifuna kubanga ekigendererwa kyammwe kikyamu; mugenderera kubikozesa ku masanyu gokka.
4 You adulterous people! Don't you know friendship with the world is hostility toward our Father? Whoever chooses to be its friend becomes an enemy of our Father. Mmwe abenzi temumanyi ng’okuba mikwano gy’ensi bulabe eri Katonda? Noolwekyo omuntu yenna bw’alondawo okuba mukwano gw’ensi afuuka mulabe wa Katonda.
5 Or does Scripture speak for nothing, saying the spirit he placed in us longs jealously? Oba mulowooza nti Ekyawandiikibwa tekiba na makulu bwe kigamba nti, “Omwoyo gwe yassa mu ffe, atulabirira n’okwagala okujjudde obuggya”?
6 But he gives more grace. That is why Scripture says, "Our Father opposes the proud but gives grace to the humble." Kyokka Omwoyo omukulu oyo era agaba ekisa kingi. Kyekiva kigamba nti, “Katonda alwana n’ab’amalala naye abawombeefu abawa ekisa.”
7 Submit yourselves, then, to our Father. Resist the devil, and he will flee from you. Kale, mugondere Katonda era mulwanyisenga Setaani, ajja kubaddukanga.
8 Come close to our Father, and he will come close to you. Cleanse your hands, sinners; purify your hearts, double-minded. Musemberere Katonda, ne Katonda anaabasembereranga. Mulongoose engalo zammwe, mmwe abakozi b’ebibi, mutukuze emitima gyammwe, mmwe abalina emyoyo egitaaganaaga.
9 Grieve, mourn, and weep. Turn your laughter to mourning and your joy to gloom. Mukungubage, mukube ebiwoobe era mukaabe. Okuseka kwammwe kufuuke okukungubaga, n’essanyu lifuuke okunakuwala.
10 Humble yourselves before our Father, and he will lift you up. Mwetoowazenga mu maaso ga Mukama waffe, naye alibagulumiza.
11 Don't speak against each other, brothers and sisters. Whoever speaks against a brother, or judges him, speaks against the law and judges it. But if you judge the law, you're not keeping it—you're judging it. Abooluganda, temugeyaŋŋananga, era buli omu aleme kwogera bubi ku munne newaakubadde okusalira munne omusango. Bwe mukikola muba mulwanyisa etteeka era musalira etteeka omusango. Bw’osalira etteeka omusango, oba totuukiriza tteeka wabula obeera musazi wa musango.
12 Only one gives the law and judges—able to save or destroy. Who are you to judge your neighbor? Oyo yekka eyateeka amateeka y’asala omusango. Era y’asalawo okulokola oba okuzikiriza. Kale, osinziira ku ki okusalira muliraanwa wo omusango?
13 Come now, you who say, "Today or tomorrow we will go to this or that city, spend a year, trade, and profit." Muwulire mmwe abagamba nti, “Leero oba enkya nzija kugenda egindi maleyo omwaka gumu, era ntandikeyo omulimu ogunanfunyisa ensimbi ennyingi.”
14 You don't know what tomorrow brings. What is your life? For you're a mist, visible briefly, then gone. Mumanyidde ku ki ebigenda okubaawo enkya oba obulamu bwammwe bwe bunaaba? Kubanga ebbanga lye mumala nga muli balamu liri ng’olufu olulabika ate mangwago ne lubula.
15 Instead you ought to say, "If our Father wills, we will live and do this or that." Kino kye musaanira okwogera nti, “Katonda bw’anaaba ng’asiimye tuliba balamu ne tukola kino oba kiri.”
16 As it is, you boast in your arrogance. All such boasting is evil. Bwe mutakola mutyo muba mwekuluntaza olw’entegeka zammwe, songa okwekuluntaza okw’engeri eyo tekusanyusa Katonda.
17 So whoever knows the good to do and fails to do it, sin is theirs. Okumanya ekituufu ekiteekwa okukolwa, naye ne mutakikola, kuba kwonoona.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]