Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

James 3 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 My brothers and sisters, not many of you should become teachers, since we teachers face stricter judgment. Abooluganda, abayigiriza tebasaanye kubeera bangi mu mmwe, kubanga mukimanyi nga ffe tulisalirwa omusango munene okusinga abalala.
2 For we all stumble in many ways. Anyone who never stumbles in speech is a mature man, able to control his whole body too. Ffenna tusobya mu ngeri nnyingi. Omuntu yenna atasobya mu kwogera, aba muntu eyatuukirira, asobola okufuga omubiri gwe gwonna.
3 If we put bits in horses' mouths to make them obey us, we guide their whole bodies too. Tuyinza okufuga embalaasi ne tugikozesa kye twagala olw’ebyuma bye tuba tutadde mu kamwa kaayo.
4 Consider ships too: though large and driven by strong winds, a tiny rudder steers them wherever the pilot wants. Era n’enkasi entono esobola okukyusa ekyombo ekinene ennyo n’ekiraza omugoba waakyo gy’ayagala, newaakubadde ng’empewo ekisindika ebeera ya maanyi mangi.
5 So too the tongue is a small body part, yet boasts great things. See how small a fire sets ablaze a great forest! N’olulimi bwe lutyo, newaakubadde nga kantu katono, lwenyumiriza nnyo. Akaliro akatono kasobola okukoleeza ekibira ekinene ne kiggya.
6 The tongue is a fire, a world of wickedness placed among our body's parts. It stains the whole body, sets the whole course of life ablaze, and is itself set ablaze by hell. Olulimi nalwo muliro. Lujjudde obutali butuukirivu bungi okusinga ebitundu ebirala eby’omubiri gwaffe. Lwo omuliro luguggya mu ggeyeena, ne lulyoka lukoleeza omubiri gw’omuntu gwonna ne gwaka ng’oluyiira okumutuusa mu kuzikirira.
7 Every kind of beast, bird, reptile, and sea creature is tamed, and has been tamed, by humankind, Abantu, ebisolo ebya buli ngeri n’ennyonyi, n’ebyekulula, era n’eby’omu nnyanja basobola okubiyigiriza ne babifuga,
8 but no human being can tame the tongue. It is a restless evil, full of deadly poison. naye tewali muntu n’omu asobola kufuga lulimi. Terufugika era lubi nnyo, lujjudde obutwa obuttirawo.
9 With it we bless our Father; with it we curse people made in the likeness of our Father. Olulimi tulukozesa okutendereza Mukama era Kitaffe, ate era lwe tukolimiza abantu abaatondebwa mu kifaananyi kya Katonda.
10 From the same mouth come blessing and cursing. My brothers and sisters, this should not be. Mu kamwa ke kamu ne muvaamu okutendereza n’okukolima. Abooluganda, kino si bwe kyandibadde bwe kityo!
11 Does a spring pour out both fresh and bitter water from the same opening? Ensulo y’emu eyinza okuvaamu amazzi agawoomerera n’agakaawa?
12 Brothers and sisters, can a fig tree bear olives, or a vine figs? Neither can a salt spring yield fresh water. Abooluganda omutiini guyinza okubala ezeyituuni, oba omuzabbibu okubala ettiini? Bw’etyo n’ensulo y’emu teyinza kuvaamu mazzi ga munnyo na gawoomerera.
13 Who is wise and understanding among you? Let him show his deeds through good conduct, in wisdom's humility. Ani alina amagezi n’okutegeera mu mmwe? Kale abiragirenga mu mpisa ze ennungi ng’akola ebikolwa eby’obwetoowaze eby’amagezi.
14 But if bitter envy and selfish ambition fill your heart, don't boast or lie against the truth. Bwe muba n’omutima omukyayi ogujjudde n’obuggya, era nga mwefaako mwekka, temusaanidde kwewaana na kulimba nga mukontana n’amazima.
15 This is not the wisdom that comes down from above, but is earthly, unspiritual, demonic. Kubanga amagezi ng’ago tegava eri Katonda mu ggulu wabula ga ku nsi, era si ga mwoyo wazira ga Setaani.
16 For where there is jealousy and selfish ambition, there will be disorder and every vile practice. Kubanga buli awabeera obuggya n’okwefaako wekka, wabeerawo okutabukatabuka era n’ebikolwa ebirala ebibi byonna.
17 Wisdom from above: pure first, then peace-loving, gentle, reasonable, full of mercy and good fruit, unbiased, sincere. Naye amagezi agava mu ggulu okusooka byonna malongoofu, era ga mirembe, gafaayo ku bantu abalala, mawulize, gajjudde okusaasira n’ebibala ebirungi, tegasosola mu bantu, era si gannanfuusi.
18 And the harvest of righteousness is sown in peace by those who make peace. Era ekibala eky’obutuukirivu kiva mu abo abakolerera emirembe.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]