Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Isaiah 49 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Listen to me, coastlands; pay attention, you peoples from afar. Our Father called me from the womb; from within my mother he named me. Mumpulirize mmwe ebizinga, mmwe muwulire kino amawanga agali ewala. Nnali sinazaalibwa Mukama n’ampita. Bwe nnali nkyali mu lubuto lwa mmange n’ayatula erinnya lyange.
2 He made my mouth like a sharp sword; in the shadow of his hand he hid me. He made me a polished arrow; in his quiver he concealed me. Yakola akamwa kange ng’ekitala eky’obwogi, nankweka mu kisiikirize ky’omukono gwe. Yanfuula akasaale akazigule era nankweka mu mufuko gwe.
3 And he said to me, "You are my servant, Israel, in whom I will display my splendor." Era n’aŋŋamba nti, “Ggwe muweereza wange, Isirayiri, mu ggwe mwe ndiweerwa ekitiibwa.”
4 But I said, "I have labored in vain; I have spent my strength for nothing and in futility. Yet surely my justice is with my Father, and my reward with my Father." Naye ne njogera nti, “Nteganidde bwereere, amaanyi gange ng’amalidde bwereere era gafudde busa. Kyokka ate Mukama yannamula, n’empeera yange eri ne Katonda wange!”
5 And now our Father says—he who formed me from the womb to be his servant, to bring Jacob back to him, that Israel might be gathered to him, for I am honored in his eyes, and my Father has become my strength, Era kaakano Mukama ayogera, oyo eyammumba mu lubuto okubeera omuweereza we, okukomyawo Yakobo gy’ali era n’okukuŋŋaanya Isirayiri gy’ali. Kubanga ndi wa kitiibwa mu maaso ga Mukama era Katonda wange afuuse amaanyi gange.
6 he says: "It is too small a thing for you to be my servant to raise up the tribes of Jacob and to bring back those preserved in Israel; I will also make you a light for the nations, that my salvation may reach to the ends of the earth." Mukama agamba nti, “Eky’okubeera omuweereza wange n’okuzza amawanga ga Yakobo era n’okukomyawo abantu ba Isirayiri kintu kitono nnyo. Nzija kukufuula ekitangaala eri abamawanga, olyoke oleete obulokozi bwange eri ensi yonna.”
7 This is what our Father says, the Redeemer of Israel, his Holy One, to the one deeply despised, abhorred by the nation, to the servant of rulers: Kings will see and rise; princes will bow down, because of your Father who is faithful, the Holy One of Israel, who has chosen you. Bw’ati bw’ayogera Mukama, Omununuzi era Omutukuvu wa Isirayiri, eri oyo eyanyoomebwa n’akyayibwa amawanga, eri omuweereza w’abafuzi nti, “Bakabaka baliyimirira ne bakuwa ekitiibwa, abalangira balikulaba ne bakuvuunamira. Kino kiribaawo ku lwa Mukama, omwesigwa Omutukuvu wa Isirayiri, oyo akulonze.”
8 This is what our Father says: In a time of favor I answered you, and in a day of salvation I helped you; I will keep you and give you as a covenant for the people, to restore the land, to apportion the desolate inheritances, Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Ndikwanukula mu biro mwe ndisiimira, ku lunaku olw’obulokozi ndikuyamba. Ndikukuuma ne nkufuula endagaano eri abantu, muliddayo ku ttaka lyammwe ne muddizibwa ebitundu byammwe ebyazika,
9 saying to the prisoners, 'Come out,' and to those in darkness, 'Show yourselves.' Along the roads they will feed, and on all the bare heights will be their pasture. nga mugamba abasibe nti, ‘Muveemu,’ n’abo abali mu kizikiza nti, ‘Mube n’eddembe!’ “Banaaliranga ku mabbali g’ekkubo, ne ku ntikko z’obusozi bwonna obwereere banasangangako omuddo.
10 They will not hunger or thirst, nor will scorching wind or sun strike them, for the one whose heart is moved with compassion for them will lead them, and by springs of water he will guide them. Tebaalumwenga njala newaakubadde ennyonta, ebbugumu ly’omu ddungu teriibakwatenga newaakubadde omusana okubookya. Oyo abakwatirwa ekisa alibakulembera, anaabatwalanga awali enzizi z’amazzi.
11 And I will turn all my mountains into a road, and my highways will be raised up. Era ndifuula ensozi zange zonna okuba amakubo era enguudo zange ennene zirigulumizibwa.
12 Look—these will come from far away; and look, these from the north and the west, and these from the land of Sinim. Laba, abantu bange balidda okuva ewala, abamu, baliva mu bukiikakkono n’abalala ebuvanjuba, n’abalala bave mu nsi ye Sinimu.”
13 Sing for joy, heavens, and rejoice, earth; break out in singing, mountains! For our Father has comforted his people, and his heart is moved with compassion for his afflicted ones. Yogerera waggulu n’essanyu, era jjaguza ggwe ensi. Muyimbe mmwe ensozi! Kubanga Mukama agumya abantu be era alisaasira abantu be ababonyaabonyezebwa.
14 But Zion said, "Our Father has forsaken me; the Sovereign Father has forgotten me." Naye Sayuuni n’ayogera nti, “Mukama andese, era Mukama wange anneerabidde.”
15 "Can a woman forget her nursing child, that her heart would not be moved with compassion for the son of her womb? Even these may forget, yet I will not forget you. “Nnyina w’omwana ayinza okwerabira omwana we gw’ayonsa, n’atasaasira mwana eyava mu lubuto lwe? Weewaawo, wadde ng’ayinza okumwerabira naye nze sirikwerabira.
16 Look—I have engraved you on the palms of my hands; your walls are ever before me. Laba, nkuwandiise mu bibatu by’engalo zange; ebisenge byo binaabeeranga mu maaso gange.
17 Your children hurry back; those who tore you down and laid you waste go away from you. Abaana bo banguwa okujja era abakuzimba balisukkuluma ku bakuzikiriza era abo abaakuzikirizanga balikuvaamu bagende.
18 Look all around you and see: they all gather and come to you. As surely as I live, declares our Father, you will wear them all like an ornament; you will bind them on like a bride. Yimusa amaaso go otunule enjuuyi zonna olabe. Abantu bo beekuŋŋaanya bajja gy’oli. Nga bwe ndi Katonda omulamu, balikwesiimisa, obambale ng’ebikomo n’emidaali ebyebbeeyi ng’omugole bw’ayambala malidaadi,” bw’ayogera Mukama.
19 Surely your ruins and your desolate places and your devastated land—surely now you will be too cramped for your inhabitants, and those who swallowed you up will be far away. “Wadde nga wazika n’olekebwa awo ensi yo n’ezikirizibwa, kaakano ojja kubeera mufunda nga toja mu bantu bo, era abo abakuteganya banaakubeeranga wala.
20 The children born in your bereavement will yet say in your hearing, "This place is too narrow for me; make room for me to live." Abantu bo abazaalibwa mu buwaŋŋanguse lumu balyogera ng’owulira nti, ‘Ekifo kino nga kifuuse kifunda bulala; tuwe ekifo aw’okubeera.’
21 Then you will say in your heart, "Who bore these for me? I was bereaved and barren, exiled and cast aside—who has raised these? I was left all alone; where did these come from?" N’olyoka oyogera mu mutima gwo nti, ‘Ani eyanzaalira abaana bano bonna? Nafiirwa abaana bange bonna ng’ate ndi mugumba. Nawaŋŋangusibwa ne nsigala nzekka. Bano baava ludda wa? Nasigala nzekka, naye ate bano, baava wa?’ ”
22 This is what the Sovereign Father says: Look—I will lift up my hand to the nations and raise my signal to the peoples; and they will bring your sons in their arms, and your daughters will be carried on their shoulders. Bw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Laba, ndikolera abamawanga obubonero era ndiyimusiza abantu ebbendera yange: era balireeta batabani bo nga babasitulidde mu bifuba ne bawala bo nga babasitulidde ku bibegabega byabwe.
23 Kings will be your foster fathers, and their queens your nursing mothers. With faces to the ground they will bow down to you and lick the dust of your feet. Then you will know that I am your Father; those who wait for me will not be ashamed." Era bakabaka be balibeera ba kitammwe babalabirire, ne bannabagereka babeere bamaama ababayonsa. Balivuunama mu maaso go nga batunudde wansi; balikomba enfuufu y’omu bigere byo. Olwo lw’olimanya nti nze Mukama, abo bonna abannindirira n’abansuubiriramu tebalikwatibwa nsonyi.”
24 Can the plunder be taken from the mighty, or the captives of a tyrant be rescued? Omunyago guyinza okuggyibwa ku mutabaazi, oba omuwambe omutuukirivu okuwona omutabaazi?
25 But this is what our Father says: Even the captives of the mighty will be taken, and the plunder of the tyrant rescued; for I myself will contend with those who contend with you, and I will save your children. Naye bw’ati bw’ayogera Mukama: “N’oyo eyawambibwa omutabaazi alisumululwa ateebwe, n’omunyago guggyibwe ku mulabe wo, kubanga ndiyomba n’oyo ayomba naawe, era ndirokola mponye abaana bo.
26 I will make your oppressors eat their own flesh, and they will be drunk on their own blood as with sweet wine. Then all flesh will know that I am your Savior—your Father—and your Redeemer, the Mighty One of Jacob. Ndiriisa abakujooga ennyama yaabwe bo. Era balittiŋŋana batamiire omusaayi gwabwe, nga wayini. Olwo abalina omubiri bonna bamanye nti nze Mukama Omulokozi wo, Omununuzi wo, ow’Amaanyi owa Yakobo.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]