Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Isaiah 48 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Listen to this, house of Jacob, you who are called by the name of Israel and who came from the line of Judah; you who swear by the name of our Father and call on our Father—but not in truth or in righteousness. “Muwulire kino, mmwe ennyumba ya Yakobo, abayitibwa erinnya lya Isirayiri, era abaava mu nda ya Yuda. Mmwe abalayirira mu linnya lya Mukama, era abaatula Katonda wa Isirayiri, naye si mu mazima wadde mu butuukirivu.
2 For they call themselves people of the holy city and lean on our Father—the Father of heaven's armies is his name. Kubanga beeyita ab’ekibuga ekitukuvu, abeesiga Katonda wa Isirayiri, Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.
3 "I declared the former things long ago; they went out from my mouth, and I made them known. Then suddenly I acted, and they came true. Okuva ku ntandikwa, nayasanguza ebyali bigenda okubaawo; byava mu kamwa kange ne mbyogera. Amangwago ne tubikola ne bituukirira.”
4 Because I knew how stubborn you are—your neck sinew stiff as iron, your forehead hard as bronze.' Kubanga namanya obukakanyavu bwammwe; ebinywa by’ensingo nga bikakanyavu ng’ekyuma; ekyenyi ng’ekikomo.
5 I told you these things long ago; before they happened I announced them to you, so you could never say, 'My idol did them; my carved image and my cast figure commanded them." Nabamanyisizaawo edda ebyali bigenda okujja nga tebinnabaawo, muleme kugamba nti, “Bakatonda bange be baabikola: Ekifaananyi kyange ekyole n’ekifaananyi ekisaanuuse bye byakikola.”
6 You have heard it; now look at all of it. Will you not admit it? From now on I will tell you new things, hidden things you never knew.' Mulabe ebintu bino nabibagamba dda, era temubikkirize? “Okuva leero nzija kubabuulira ku bintu ebiggya ebigenda okujja, eby’ekyama bye mutawulirangako.
7 They are created now, not long ago; before today you had never heard of them, so you cannot say, 'I already knew them.' Mbikola kaakano, so si ekiseera ekyayita: mwali temubiwulirangako mu biseera eby’emabega si kulwa nga mugamba nti, ‘Laba nnali mbimanyi.’
8 You have never heard, never known; long ago your ear was not opened. For I knew how treacherously you would act—you have been called a rebel from birth. Towulirangako wadde okutegeera. Okuva edda n’edda okutu kwo tekuggukanga. Kubanga namanya nti wali kyewaggula, okuva ku kuzaalibwa kwo wayitibwa mujeemu.
9 For my own name's sake I hold back my anger; for the sake of my praise I restrain it toward you, so that I do not cut you off. Olw’erinnya lyange ndwawo okusunguwala. Olw’ettendo lyange ndwawo okukusunguwalira nneme okukuzikiriza.
10 See, I have refined you, but not as silver; I have tested you in the furnace of affliction. Laba nkugezesezza naye si nga ffeeza. Nkugezesezza mu kirombe ky’okubonaabona.
11 For my own sake, for my own sake, I act—for why should my name be profaned? My glory I will not give to another. Ku lwange nze, ku lwange nze ndikikola. Erinnya lyange nga livumiddwa. Ekitiibwa kyange sirikiwa mulala.
12 "Listen to me, Jacob, and Israel, whom I called: I am he; I am the first, and I am the last. “Mpuliriza ggwe Yakobo. Isirayiri gwe nalonda. Nze Nzuuyo. Nze ow’olubereberye era nze ow’enkomerero.
13 My own hand laid the foundation of the earth, and my right hand spread out the heavens; when I call to them, they stand up together." Omukono gwange gwe gwateekawo omusingi gw’ensi, era omukono gwange ogwa ddyo ne gwanjuluza eggulu. Bwe mbiyita byombi bijja.
14 Gather together, all of you, and listen: who among them has declared these things? The one I love will carry out my purpose against Babylon, and his arm will be against the Babylonians. “Mwekuŋŋaanye mwenna mujje muwulire! Ani ku bo eyali alangiridde ebintu bino? Mukama amwagala; ajja kutuukiriza ekigendererwa kye e Babulooni, era omukono gwe gwolekere Abakaludaaya.
15 I, I myself, have spoken; yes, I have called him. I have brought him, and he will succeed in his way. Nze; Nze nzennyini nze njogedde. Nze namuyita. Ndimuleeta era alituukiriza omulimu gwe.
16 Come near to me, hear this: from the beginning I have not spoken in secret; from the time it came to be, I was there. And now the Sovereign Father has sent me—and his Spirit. “Munsemberere muwulirize bino. “Okuva ku lubereberye saayogera mu kyama. Nze mbaddewo okuviira ddala ku ntandikwa.” Era kaakano Mukama Ayinzabyonna n’Omwoyo we antumye.
17 This is what our Father says—your Redeemer, the Holy One of Israel: I am your Father, who teaches you for your good, who leads you in the way you should go. Bw’atyo bw’ayogera Mukama, Omununuzi wammwe, Omutukuvu wa Isirayiri nti, “Nze Mukama Katonda wo akuyigiriza okukulaakulana, akukulembera mu kkubo ly’oteekwa okutambuliramu.
18 "If only you had paid attention to my commands! Then your peace would have flowed like a river, and your righteousness like the waves of the sea. Singa kale wali owulirizza ebiragiro byange! Wandibadde n’emirembe egikulukuta ng’omugga! Era n’obutuukirivu bwo ng’amayengo g’ennyanja,
19 Your children would have been like the sand, and your own offspring like its grains; their name would never be cut off or destroyed from my presence." ezzadde lyo lyandibadde ng’omusenyu abaana bo ng’obuweke bwagwo. Erinnya lyabwe teryandivuddewo wadde okuzikirira nga wendi.”
20 Go out from Babylon! Flee from the Babylonians! With a shout of joy declare it, proclaim it; send it out to the end of the earth. Say, 'Our Father has redeemed his servant Jacob!' Muve mu Babulooni, mudduke Abakaludaaya. Mugende nga mutegeeza amawulire gano n’essanyu. Mugalangirire wonna wonna n’okutuusa ku nkomerero y’ensi. Mugambe nti, “Mukama anunudde omuddu we Yakobo!”
21 They did not thirst when he led them through the deserts; he made water flow for them from the rock. He split the rock, and the water gushed out. So tebaalumwa nnyonta bwe yabayisa mu malungu. Yabakulukusiza amazzi mu lwazi: yayasa olwazi amazzi ne gavaamu.
22 "There is no peace," says our Father, "for the wicked." “Tewali mirembe eri aboonoonyi,” bw’ayogera Mukama.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]