Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Isaiah 39 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 At that time Merodach-baladan son of Baladan, king of Babylon, sent letters and a gift to Hezekiah, having heard he had been sick and recovered. Awo mu nnaku ezo Merodakubaladani mutabani wa Baladani kabaka w’e Babulooni, n’aweereza Keezeekiya ebbaluwa n’ekirabo, kubanga yawulira nti yali alwadde naye ng’awonye.
2 Hezekiah gladly received them and showed them his treasure house—the silver, gold, spices, fine oil, his whole armory, all in his storehouses. Nothing in his house or kingdom did Hezekiah not show them. Keezeekiya n’abasanyukira, n’abalaga ennyumba ye ey’ebintu bye eby’omuwendo omungi, effeeza ne zaabu, n’ebyakaloosa, n’amafuta ag’omuwendo omungi, n’ennyumba yonna ey’ebyokulwanyisa. Byonna ebyali mu bugagga bwe, tewaali kintu mu nnyumba ye newaakubadde mu bwakabaka bwe bwonna Keezeekiya ky’ataabalaga.
3 Then Isaiah the prophet came to King Hezekiah and asked, "What did these men say, and where did they come from?" Hezekiah said, "From a distant land, from Babylon." Awo Isaaya nnabbi n’ajja eri kabaka Keezeekiya n’amubuuza nti, “Abasajja banno bagamba ki? Era bavudde wa okujja gy’oli?” Keezeekiya n’amuddamu nti, “Bazze wange, bava mu nsi ey’ewala e Babulooni.”
4 He asked, "What have they seen in your house?" Hezekiah answered, "They saw everything in my house. Nothing in my storehouses I didn't show them." N’amubuuza nti, “Balabye ki mu nnyumba yo?” Keezeekiya n’addamu nti, “Byonna ebiri mu nnyumba yange babirabye, tewali kintu mu byobugagga bwange kye sibalaze.”
5 Then Isaiah said to Hezekiah, "Hear the word of the Father of heaven's armies: Awo Isaaya n’agamba Keezeekiya nti, “Wuliriza Mukama Katonda ow’Eggye ky’agamba:
6 The days are coming when everything in your house, all your ancestors stored up to now, will be carried to Babylon. Nothing will be left, says our Father. Laba, ennaku zijja, byonna ebiri mu nnyumba yo n’ebyo bajjajjaabo bye baaterekanga ebikyaliwo n’okutuusa leero, lwe biritwalibwa e Babulooni, ne watasigala kintu na kimu, bw’ayogera Mukama.
7 Some of your own sons, your own offspring, will be taken to serve as officials in the palace of the king of Babylon." N’abamu ku batabani bo, ggwe kennyini b’ozaala balitwalibwa mu lubiri lwa kabaka w’e Babulooni ne balaayibwa.”
8 Then Hezekiah told Isaiah, "The word of our Father you have spoken is good." For he thought, "There will be peace and security in my lifetime." Awo Keezeekiya n’agamba Isaaya nti, “Ekigambo kya Mukama ky’oŋŋambye kirungi.” Kubanga yalowooza nti, “Kasita emirembe, n’obutebenkevu binaabangawo mu mulembe gwange.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]