Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Isaiah 40 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Comfort, comfort my people, says your Father. Mugumye, mugumye abantu bange, bw’ayogera Katonda wammwe.
2 Speak tenderly to Jerusalem, and proclaim to her that her hard service is completed, that her guilt is forgiven, that she has received from our Father's hand double for all her sins. Muzzeemu Yerusaalemi amaanyi mumubuulire nti, entalo ze ziweddewo, n’obutali butuukirivu bwe busasuliddwa. Era Mukama amusasudde emirundi ebiri olw’ebibi bye byonna.
3 A voice is calling out: In the wilderness, prepare the way of our Father; make a straight highway through the desert for our Father. Eddoboozi ly’oyo ayogera liwulikika ng’agamba nti, “Muteeketeeke ekkubo lya Mukama mu ddungu, mutereeze oluguudo lwe mu ddungu.
4 Every valley will be lifted up, and every mountain and hill made low; the uneven ground will become level, and the rough places will become a plain. Buli kiwonvu kirigulumizibwa, na buli lusozi n’akasozi ne bikkakkanyizibwa. N’obukyamu buligololwa, ebifo ebitali bisende ne bitereezebwa.
5 And the glory of our Father will be revealed, and all people will see it together, for the mouth of our Father has spoken. Ekitiibwa kya Mukama kiribikkulwa, ne bonna abalina omubiri balikirabira wamu, kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde.”
6 A voice says, "Call out!" And I said, "What should I call out?" All people are like grass, and all their faithfulness is like the flower of the field. Ne mpulira eddoboozi nga ligamba nti, “Yogera mu ddoboozi ery’omwanguka.” Ne ŋŋamba nti, “Nnaayogera ki?” Ne linziramu nti, gamba nti, “Abantu bonna bali nga muddo, n’obulungi bwabwe bumala ennaku ntono ng’ebimuli eby’omu nnimiro.
7 The grass withers, the flower fades when the breath of our Father blows on it; surely the people are grass. Omuddo guwotoka, ekimuli kiyongobera, omukka gwa Mukama bwe gugufuuwako. Mazima abantu muddo.
8 The grass withers, the flower fades, but the word of our Father stands forever. Omuddo guwotoka, ekimuli kiyongobera, naye ekigambo kya Katonda waffe kibeerera emirembe gyonna.”
9 Go up on a high mountain, Zion, messenger of good news; lift up your voice with strength, Jerusalem, messenger of good news. Lift it up, do not be afraid; say to the cities of Judah, "Here is your Father!" Ggwe abuulira Sayuuni ebigambo ebirungi, werinnyire ku lusozi oluwanvu; ggwe abuulira Yerusaalemi ebigambo ebirungi, yimusa eddoboozi lyo n’amaanyi, liyimuse oyogere, totya. Gamba ebibuga bya Yuda nti, “Laba Katonda wammwe ajja!”
10 See, the Sovereign Father comes with strength, and his arm rules for him; see, his reward is with him, and his payment goes before him. Laba, Mukama Katonda ajja n’amaanyi mangi era afuga n’omukono gwe ogw’amaanyi ag’ekitalo. Laba empeera ye eri mu mukono gwe, buli muntu afune nga bw’akoze.
11 He will tend his flock like a shepherd; he will gather the lambs in his arms and carry them close to his heart; he will gently lead those that have young. Aliisa ekisibo kye ng’omusumba, akuŋŋaanya abaana b’endiga mu mukono gwe n’abasitula mu kifuba kye, n’akulembera mpola mpola ezibayonsa.
12 Who has measured the waters in the hollow of his hand, and marked off the heavens with the breadth of his hand, enclosed the dust of the earth in a measure, and weighed the mountains in scales and the hills in a balance? Ani eyali ageze amazzi g’ennyanja mu kibatu kye, n’apima eggulu n’oluta, n’apima enfuufu y’oku nsi mu kibbo, oba n’apima ensozi ku minzaani, n’obusozi ku kipima?
13 Who has directed the Spirit of our Father, or as his counselor has instructed him? Ani eyali aluŋŋamizza Omwoyo wa Mukama? Ani ayinza okumuyigiriza n’amuwa amagezi?
14 Whom did he consult, and who made him understand? Who taught him the path of justice, and taught him knowledge, and showed him the way of understanding? Ani gwe yali yeebuuzizzako amuwe ku magezi, era ani eyali amuyigirizza ekkubo ettuufu? Ani eyali amusomesezza eby’amagezi n’amulaga okuyiga, n’okumanya n’okutegeera?
15 The nations are like a drop from a bucket, and are counted as the dust on the scales; he takes up the islands like fine dust. Laba amawanga gali ng’ettondo eriri mu nsuwa, era ng’enfuufu ekutte ku minzaani, apima ebizinga ng’apima olufuufu ku minzaani.
16 Lebanon is not enough to burn, nor its animals enough for a burnt offering. N’ensolo zonna ez’omu kibira kya Lebanooni tezimala kubeera kiweebwayo eri Katonda waffe, n’emiti gyamu gyonna mitono nnyo tegisobola kuvaamu nku zimala.
17 All the nations are as nothing before him; they are regarded by him as less than nothing and emptiness. Amawanga gonna ag’omu nsi gabalibwa mu maaso ge, gy’ali gabalibwa nga si kintu n’akamu.
18 To whom then will you liken our Father? Or what likeness will you compare to him? Kale ani gwe mulifaananya Katonda? Oba kifaananyi ki kye mulimugeraageranyizaako?
19 An idol! A craftsman casts it, and a goldsmith overlays it with gold and casts silver chains for it. Ekifaananyi ekyole omukozi akifumba, n’omuweesi wa zaabu n’akibikkako zaabu, n’akibikkako n’emikuufu egya ffeeza.
20 Anyone too poor for such an offering chooses wood that will not rot; he seeks out a skillful craftsman to set up an idol that will not topple. Oyo omwavu atasobola kufuna ffeeza oba zaabu afuna omuti omugumu ogutavunda ne yenoonyeza omukozi omugezigezi okusimba n’okunyweza ekifaananyi ekyole.
21 Do you not know? Do you not hear? Has it not been told you from the beginning? Have you not understood from the foundations of the earth? Temunnamanya, temunnawulira, temubuulirwanga okuva ku kutondebwa kw’ensi?
22 He sits enthroned above the vault of the earth, its people below like grasshoppers; he spreads the skies like a thin veil, pitching them as a tent to live in. Katonda atuula ku nsi enneekulungirivu, era gy’ali abantu bali ng’amayanzi. Atimba eggulu ng’olutimbe era alibamba ng’eweema ey’okubeeramu.
23 He brings princes to nothing, and makes the rulers of the earth as emptiness. Afuula abafuzi obutaba kintu, afuula n’abalamuzi mu nsi okuba ekitaliimu.
24 They are barely planted, barely sown, their stem has barely taken root in the ground, when he blows on them and they wither, and the storm sweeps them away like chaff. Bali ng’ebisimbe ebyakamera biba bya kasimbibwa, biba byakasigibwa, biba byakaleeta emirandira, nga abifuuwa nga biwotoka, ng’embuyaga ebitwalira ddala ng’ebisasiro.
25 "To whom then will you compare me, that I should be like him?" says the Holy One. “Kale mulinfaananya ani, ani gwe mulinnenkanya?” bw’ayogera Omutukuvu.
26 Look up into the heavens and see: who created these? He who brings out their host by number, calling them all by name; because he is great in strength and mighty in power, not one is missing. Muyimuse amaaso gammwe mulabe ebiri ku ggulu. Ani eyatonda ebyo byonna? Oyo afulumya ebyaka eby’omu bbanga afulumya kina kimu, byonna nga bwe biri, n’abiyita amannya gaabyo. Olw’obukulu bw’obuyinza bwe era kubanga wa maanyi ga nsusso, tewali na kimu kibulako.
27 Why do you say, Jacob, and complain, Israel, "My way is hidden from our Father, and my Father disregards my right"? Lwaki ogamba ggwe Yakobo era ne wemulugunya ggwe Isirayiri nti, “Mukama tamanyi mitawaana gye mpitamu, era tafaayo nga tuggyibwako eddembe lyaffe ery’obwebange”?
28 Have you not known? Have you not heard? Our Father is the everlasting Father, the Creator of the ends of the earth. He does not faint or grow weary; no one can fathom his understanding. Tonnamanya? Tonnawulira? Mukama, ye Katonda ataliggwaawo. Omutonzi w’enkomerero y’ensi. Tazirika so takoowa era n’amagezi ge tewali n’omu ayinza kugapima.
29 He gives power to the weary, and increases strength for the powerless. Awa amaanyi abazirika, n’oyo atalina buyinza amwongerako amaanyi.
30 Even youths will grow faint and weary, and young men will fall exhausted; Abavubuka bazirika, bakoowa, n’abalenzi bagwira ddala.
31 but those who wait for our Father will renew their strength; they will soar on wings like eagles; they will run and not be weary; they will walk and not faint. Naye abo abalindirira Mukama baliddamu buggya amaanyi gaabwe, balitumbiira n’ebiwaawaatiro ng’empungu; balidduka mbiro ne batakoowa, balitambula naye ne batazirika.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]