Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Hosea 7 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Whenever I try to heal Israel, the sin of Ephraim is uncovered, and the evils of Samaria; for they practice falsehood—the thief breaks in, the raiders plunder outside. na buli lwe nawonyanga Isirayiri, ebibi bya Efulayimu ne birabika, n’ebikolwa eby’ekyejo ebya Samaliya nabyo ne birabika. Balimba, bamenya ne bayingira mu mayumba, era batemu abateega abantu mu makubo.
2 But they do not say in their hearts that I remember all their evil. Now their deeds surround them; they are before my face. Naye tebalowooza nga nzijukira ebikolwa byabwe byonna ebibi. Ebibi byabwe bibazingizza, era mbiraba.
3 By their evil they make the king glad, and the princes by their lies. “Kabaka asanyukira obutali butuukirivu bwabwe, n’abakungu basanyukira obulimba bwabwe.
4 They are all adulterers, like an oven heated by the baker, who stops stirring the fire from the kneading of the dough until it is leavened. Bonna benzi; bali ng’ekyoto ekyaka omuliro, omufumbi w’emigaati gw’ateetaaga kuseesaamu okutuusa obutta bw’agoye, lwabuusa ku kyoto ne buzimbulukuka.
5 On the day of our king the princes made themselves sick with the heat of wine; he joined hands with mockers. Ku lunaku kabaka lw’agabula embaga, abakungu ettamiiro lya wayini ne libalwaza, kabaka ne yeegatta n’abanyoomi.
6 For they draw near with hearts burning like an oven as they lie in wait; all night their anger smolders, and in the morning it blazes like a flaming fire. Emitima gyabwe gyokerera nga oveni mu busungu bwabwe; Obusungu bwabwe bubuguumirira ekiro kyonna; mu makya ne bwaka ng’omuliro.
7 They are all hot as an oven, and they devour their rulers. All their kings have fallen; none of them calls upon me. Bonna bookya nga oveni, era bazikiriza abakulembeze baabwe. Bakabaka baabwe bonna bagudde; tewali n’omu ku bo ankowoola.
8 Ephraim mixes himself among the peoples; Ephraim is a flat cake not turned over. “Efulayimu yeegattika ne bannaggwanga; Efulayimu mugaati oguyiddeko oluuyi olumu.
9 Strangers devour his strength, and he does not know it; gray hairs are sprinkled upon him, and he does not know it. Bannaggwanga banyuunyunta amaanyi ge naye takimanyi. Mu nviiri ze mulimu envi, naye takiraba.
10 The pride of Israel testifies to his face, yet they do not return to their Father, nor seek him, in all of this. Okwekulumbaza kwa Isirayiri kwe kubalumiriza, naye newaakubadde ng’ebyo byonna bimutuuseeko tadda eri Mukama Katonda we newaakubadde okumunoonya.
11 Ephraim has become like a dove, silly and without sense, calling to Egypt, going to Assyria. “Efulayimu ali ng’ejjiba, alimbibwalimbibwa mangu era talina magezi; bakaabira Misiri, era bagenda eri Obwasuli.
12 As they go, I will spread my net over them; I will bring them down like the birds of the sky. I will discipline them as their assembly was warned. Bwe baliba balaga eyo, ndibasuulako akatimba, era ndibassa wansi ng’ennyonyi ez’omu bbanga. Bwe ndiwulira nga bakuŋŋaana, ndibaziyiza.
13 Woe to them, for they have strayed from me! Destruction to them, for they have rebelled against me! I would redeem them, but they speak lies against me. Zibasanze, kubanga bawabye ne banvaako. Baakuzikirira kubanga banjemedde. Njagala nnyo okubanunula, naye banjogerako eby’obulimba.
14 They do not cry to me from their heart, but they wail upon their beds; for grain and new wine they gash themselves; they turn away from me. Tebankaabira n’emitima gyabwe, wabula ebiwoobe babikubira ku bitanda byabwe. Bakuŋŋaana awamu olw’emmere ey’empeke ne wayini, naye ne banjeemera.
15 Although I trained and strengthened their arms, yet they devise evil against me. Nabayigiriza ne mbawa n’amaanyi, naye bansalira enkwe.
16 They turn, but not upward; they have become like a slack bow. Their princes will fall by the sword for the insolence of their tongue; this will make them a laughingstock in the land of Egypt. Tebakyukira oyo Ali Waggulu Ennyo; bafuuse ng’omutego gw’akasaale ogwayonooneka; abakulembeze baabwe balifa kitala, olw’ebigambo byabwe ebya kalebule. Era kyebaliva babasekerera mu nsi y’e Misiri.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]