Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Genesis 11 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Now the whole earth had one language and a common speech. Ensi yonna yalina olulimi lumu, nga bakozesa ebigambo bye bimu.
2 And as they migrated eastward, they found a plain in the land of Shinar and settled there. Abantu bwe baava oluuyi olw’ebuvanjuba ne batuuka mu lusenyi nsi ya Sinaali ne babeera omwo.
3 They said to each other, "Come, let's make bricks and fire them hard." They used brick for stone, tar for mortar. Ne bateesa nti, “Mujje tukole amatoffaali, tugookye bulungi.” Ne baba n’amatoffaali mu kifo ky’amayinja, ne kolaasi mu kifo ky’ettosi.
4 Then they said, "Come, let's build us a city and tower with its top in the sky, and make us a name, so we don't scatter over the face of the whole earth." Awo ne bagamba nti, “Mujje twezimbire ekibuga, tutuuse omunaala gwakyo ku ggulu; twekolere erinnya, tuleme okusaasaanyizibwa okubuna ensi yonna.”
5 But our Father came down to see the city and the tower that the people were building. Naye Mukama nakka okulaba ekibuga n’omunaala, abaana b’abantu kye baali bazimba.
6 And our Father said, "Look, they are one people with one language, and this is only the start of what they will do. Now nothing they plan to do will be impossible for them. Mukama n’ayogera nti, “Laba, bali omuntu omu, era boogera olulimi lumu! Era eno ntandikwa butandikwa ey’ebyo bye banaakola; era tewali kye banaateesa kukola ekinaabalemerera.
7 Come, let's go down there and scramble their language, so no one understands a neighbor's language." Mujje, tukke wansi tutabuletabule olulimi lwabwe, baleme kutegeeragana.”
8 So our Father scattered them from there across all the earth's face, and they stopped building the city. Bw’atyo Mukama n’abasaasaanya ne babuna ensi yonna, n’ekibuga kyabwe ne batakimaliriza.
9 So it was called Babel, for there our Father confused all the earth's language, and from there scattered them over all the earth's face. Ekibuga ekyo erinnya lyakyo kye lyava liyitibwa Babiri, kubanga eyo Mukama gye yatabuliratabulira olulimi lw’ensi yonna. Eyo Mukama gye yabasaasaanyiza okubuna ensi yonna.
10 This is Shem's account: at 100, he fathered Arpachshad, two years after the flood. Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Seemu: Seemu bwe yali ng’aweza emyaka kikumi, n’azaala Alupakusaadi nga wakayita emyaka ebiri okuva ku mataba.
11 Shem lived 500 years after he fathered Arpachshad, and had other sons and daughters. Seemu n’amala emyaka ebikumi bitaano nga Alupakusaadi amaze okusaalibwa. N’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.
12 When Arpachshad had lived thirty-five years, he fathered Shelah. Alupakusaadi bwe yaweza emyaka asatu mu etaano n’azaala Seera,
13 Arpachshad lived 403 years after he fathered Shelah, and had other sons and daughters. Alupakusaadi bwe yamala okuzaala Seera n’awangaala emyaka emirala ebikumi bina mu esatu, omwo n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.
14 When Shelah had lived thirty years, he fathered Eber. Seera bwe yaweza emyaka amakumi asatu n’azaala Eberi,
15 Shelah lived 403 years after he fathered Eber, and had other sons and daughters. ate Seera n’aweza emyaka emirala ebikumi bina mu asatu ng’amaze okuzaala Eberi, era omwo n’azaaliramu abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala.
16 When Eber had lived thirty-four years, he fathered Peleg. Eberi bwe yaweza emyaka amakumi asatu mu ena n’azaala Peregi.
17 Eber lived 430 years after he fathered Peleg, and had other sons and daughters. Eberi bwe yamala okuzaala Peregi n’awangaala emyaka ebikumi bina mu amakumi asatu, omwo n’azaaliramu abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala.
18 When Peleg had lived thirty years, he fathered Reu. Peregi bwe yaweza emyaka amakumi asatu n’azaala Leewo,
19 Peleg lived 209 years after he fathered Reu, and had other sons and daughters. bwe yamala okuzaala Leewo n’awangaala emyaka emirala ebikumi bibiri mu mwenda, n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.
20 When Reu had lived thirty-two years, he fathered Serug. Leewo bwe yaweza emyaka amakumi asatu mu ebiri n’azaala Serugi.
21 Reu lived 207 years after he fathered Serug, and had other sons and daughters. N’awangaala emyaka emirala ebikumi bibiri mu musanvu. Omwo n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.
22 When Serug had lived thirty years, he fathered Nahor. Serugi bwe yaweza emyaka amakumi asatu n’azaala Nakoli,
23 Serug lived 200 years after he fathered Nahor, and had other sons and daughters. bwe yamala okuzaala Nakoli n’awangaala emyaka emirala ebikumi bibiri. Omwo n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.
24 When Nahor had lived twenty-nine years, he fathered Terah. Nakoli bwe yaweza emyaka amakumi abiri mu mwenda n’azaala Teera.
25 Nahor lived 119 years after he fathered Terah, and had other sons and daughters. Bwe yamala okuzaala Teera n’awangaala emyaka emirala kikumi mu kkumi na mwenda, era omwo n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.
26 When Terah had lived seventy years, he fathered Abram, Nahor, and Haran. Teera bwe yaweza emyaka nsanvu, n’azaala Ibulaamu, ne Nakoli ne Kalani.
27 Now these are the generations of Terah. Terah fathered Abram, Nahor, and Haran; and Haran fathered Lot. Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Teera: Teera ye kitaawe wa Ibulaamu, ne Nakoli ne Kalani; Kalani ye yali kitaawe wa Lutti.
28 Haran died in his birthplace, Ur of the Chaldeans, before his father Terah. Kalani yafa nga kitaawe Teera tannafa. Yafiira mu Uli ey’Abakaludaaya mwe yazaalirwa.
29 Abram and Nahor married; Abram's wife was Sarai, and Nahor's wife was Milcah, daughter of Haran, who was also the father of Iscah. Ibulaamu ne Nakoli ne bawasa; erinnya lya mukazi wa Ibulaamu lyali Salaayi, ate mukazi wa Nakoli nga ye Mirika, muwala wa Kalani, kitaawe wa Mirika ne Isika.
30 Now Sarai was unable to conceive; she had no children. Salaayi yali mugumba, teyalina mwana.
31 Terah took his son Abram, his grandson Lot son of Haran, and his daughter-in-law Sarai, Abram's wife, and left Ur of the Chaldeans for Canaan; they reached Haran and settled there. Teera n’atwala Ibulaamu mutabani we Lutti muzzukulu we mutabani wa Kalani, ne Salaayi muka mutabani we Ibulaamu, ne bagenda bonna okuva mu Uli eky’Abakaludaaya okugenda mu nsi ya Kalani; bwe baatuuka mu Kalani, ne babeera omwo.
32 Terah lived 205 years, and died in Haran. Emyaka gya Teera gyali ebikumi bibiri mu etaano; Teera n’afiira mu Kalani.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]