Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Genesis 12 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Now our Father said to Abram, "Go from your land, your relatives, and your father's house, to the land that I will show you. Awo Mukama n’agamba Ibulaamu nti, “Vva mu nsi yannyo ne mu bantu bo ne mu nnyumba ya kitaawo ogende mu nsi gye ndikulaga.
2 I will make you into a great nation, and I will bless you; I will make your name great, so that you will be a blessing. “Nange ndikufuula eggwanga eddene, era ndikuwa omukisa, n’erinnya lyo ne ndifuula kkulu, olyoke obeere mukisa.
3 I will bless those who bless you, and whoever curses you I will curse; and through you all the families of the earth will be blessed." Ndiwa omukisa abo abakusabira omukisa, era buli alikukolimira nange namukolimiranga; era mu ggwe amawanga gonna ag’omu nsi mwe galiweerwa omukisa.”
4 Abram went as our Father told him, and Lot went with him. Abram was seventy-five when he left Haran. Bw’atyo Ibulaamu n’agenda nga Mukama bwe yamugamba, ne Lutti n’agenda wamu naye. Ibulaamu we yaviira mu Kalani yali aweza emyaka nsanvu mu etaano.
5 Abram took his wife Sarai, his nephew Lot, all the possessions they had gathered, and the people they had acquired in Haran, and set out for the land of Canaan, and came to the land of Canaan. Ibulaamu n’atwala Salaayi mukazi we, ne Lutti mutabani wa muganda we ne byonna bye baalina bye baali bafunye, n’abantu baabwe be baafunira mu Kalani, ne basitula okugenda mu Kanani. Ne batuuka mu nsi ya Kanani.
6 Abram passed through the land to the site of Shechem, to the oak of Moreh. The Canaanites were then in the land. Ibulaamu n’ayita mu nsi n’atuuka mu kifo ekiyitibwa Sekemu awali emivule gya Mole. Mu biro ebyo Abakanani be baali mu nsi omwo.
7 Then our Father appeared to Abram and said, "To your offspring I will give this land." So Abram built an altar there to our Father, who appeared to him. Awo Mukama n’alabikira Ibulaamu n’agamba nti, “Ensi eno ndigiwa abo abaliva mu ggwe.” Awo Ibulaamu n’azimbira eyo Mukama ekyoto eyamulabikira.
8 From there he moved to the hill country east of Bethel and pitched his tent, Bethel to the west, Ai to the east. He built an altar there to our Father and called on our Father's name. Bw’atyo n’alaga ku lusozi ku luuyi olw’ebuvanjuba obwa Beseri, n’asimba eweema ye nga Beseri ali ku luuyi olw’ebugwanjuba, ne Ayi ngali ku luuyi olw’ebuvanjuba, n’azimbira eyo Mukama ekyoto, n’akoowoola erinnya lya Mukama.
9 Then Abram continued on his way, journeying toward the Negev. Ibulaamu ne yeeyongera okutambula ng’ayolekera Negevu.
10 Since famine struck the land, Abram went down to Egypt to stay there, for the famine was severe in the land. Ne wagwa enjala mu nsi. Bw’atyo Ibulaamu n’aserengeta e Misiri asengukireko eyo, kubanga enjala nnyingi eyali mu nsi.
11 Nearing Egypt, he said to his wife Sarai, "I know you are a beautiful woman. Bwe yali anaatera okuyingira mu Misiri, n’agamba Salaayi mukazi we nti, “Mmanyi ng’oli mukazi mulungi era mubalagavu,
12 When the Egyptians see you, they'll say, 'This is his wife,' and kill me but keep you alive. era Abamisiri bwe balikulabako baligamba nti, ‘Ono ye mukazi we,’ kale balinzita, naye ggwe ne bakuleka.
13 Please say you're my sister, so it goes well for me because of you, and I stay alive for your sake." Ogambanga nti, Oli mwannyinaze ndyoke mbeere bulungi ku lulwo, n’obulamu bwange buleme kubaako kabi, buwone ku lulwo.”
14 When Abram entered Egypt, the Egyptians saw that the woman was very beautiful. Ibulaamu bwe yayingira mu Misiri, Abamisiri ne balaba Salaayi nga mukazi mulungi nnyo.
15 Pharaoh's officials saw her, praised her to Pharaoh, and the woman was taken into Pharaoh's palace. N’abakungu ba Falaawo bwe baamulaba ne bamutendera Falaawo ne bamutwala mu lubiri lwa Falaawo.
16 He treated Abram well for her sake, and Abram acquired sheep, cattle, male and female donkeys, male and female servants, and camels. Ku lwa Salaayi, Falaawo n’ayisa bulungi Ibulaamu. Ibulaamu n’aweebwa endiga, n’ente, n’endogoyi, n’abaweereza abasajja, n’abaweereza abakazi, n’endogoyi enkazi, n’eŋŋamira.
17 But our Father struck Pharaoh and his household with severe plagues because of Sarai, Abram's wife. Naye Mukama n’aleetera Falaawo n’ennyumba ye endwadde enkambwe olwa Salaayi mukazi wa Ibulaamu.
18 Pharaoh summoned Abram: "What is this you've done to me? Why didn't you tell me she was your wife? Awo Falaawo n’ayita Ibulaamu n’amugamba nti, “Kiki kino ky’onkoze? Lwaki tewantegeeza nti mukazi wo?
19 Why did you say, 'She's my sister,' so I took her as my wife? Here's your wife now—take her and go." Lwaki wagamba nti mwannyoko, ne mmutwala okuba mukazi wange? Kale kaakano mukazi wo wuuno mmutwale mugende.”
20 Pharaoh ordered his men about Abram, and they sent him off with his wife and all he owned. Falaawo n’alagira basajja be ebikwata ku Ibulaamu, ne bamusindiikiriza n’ava mu nsi ne mukazi we ne byonna bye yalina.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]