Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Genesis 13 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Abram went up from Egypt to the Negev, he, his wife, all he had, and Lot with him. Bw’atyo Ibulaamu n’ayambuka okuva mu Misiri ye ne mukazi we, ne byonna bye yalina, ne Lutti ne bayingira mu Negevu.
2 Now Abram had become very rich in livestock, in silver, and in gold. Mu kiseera ekyo Ibulaamu yalina ente nnyingi, ne ffeeza ne zaabu nnyingi nnyo.
3 He went by stages from the Negev to Bethel, to the place between Bethel and Ai where his tent stood before, N’atambula okuva e Negevu n’atuuka e Beseri, mu kifo eweema ye we yali olubereberye, wakati wa Beseri ne Ayi,
4 and where he had first built an altar. There Abram called on the name of our Father. mu kifo we yasooka okuzimbira Mukama ekyoto, Ibulaamu n’akoowoolera eyo erinnya lya Mukama.
5 Now Lot, who was traveling with Abram, also had flocks and herds and tents. Ne Lutti eyagenda ne Ibulaamu naye yalina ebisibo by’endiga n’amagana g’ente n’ab’enju ye nga bangi,
6 The land could not support them living together; their possessions were too great to stay together. ekitundu mwe baali nga tekibamala bombi. Obugagga bwabwe bwali bungi nnyo,
7 A quarrel arose between Abram's herders and Lot's herders. The Canaanites and Perizzites were living in the land at that time. ate nga n’abasumba baabwe bayombagana. Mu kiseera ekyo Abakanani n’Abaperezi nabo baabanga mu nsi omwo.
8 Abram said to Lot, "Let's not quarrel—you and me, or your herders and mine—we're brothers. Awo Ibulaamu n’agamba Lutti nti, “Tewasaana kubaawo kuyombagana wakati wange naawe, wadde wakati w’abalunzi bo n’abange, kubanga tuli baaluganda.
9 Isn't the whole land before you? Please, separate from me: if left, I'll go right; if right, I'll go left." Ensi yonna teri mu maaso go? Leka twawukane. Bwonoolonda oluuyi olwa kkono, nze n’alaga ku luuyi olwa ddyo, bw’onoolaga ku luuyi olwa ddyo nze n’alaga ku luuyi olwa kkono.”
10 Lot looked up and saw that the whole Jordan plain toward Zoar was well watered everywhere—like our Father's garden, like Egypt's land. (This was before our Father destroyed Sodom and Gomorrah.). Lutti n’ayimusa amaaso ge, n’alaba ekiwonvu kya Yoludaani nga kirungi, nga kirimu amazzi buli wantu nga kifaanana ng’ennimiro ya Mukama; nga kiri ng’ensi ya Misiri ku luuyi olwa Zowaali. Kino kyaliwo nga Mukama tannazikkiriza Sodomu ne Ggomola.
11 Lot chose the whole Jordan plain for himself and traveled eastward; the two parted from each other. Bw’atyo Lutti ne yeeronderawo olusenyi lwa Yoludaani n’agenda ku luuyi olw’ebuvanjuba; bwe batyo ne baawukana.
12 Abram lived in the land of Canaan; Lot lived among the cities of the plain and pitched tents as far as Sodom. Ibulaamu n’abeera mu nsi ya Kanani, ye Lutti n’abeera mu bibuga eby’omu lusenyi n’atwala eweema ye n’agisimba okumpi ne Sodomu.
13 Now the people of Sodom were wicked, sinning greatly against our Father. Abasajja aba Sodomu baali babi era nga boonoonyi nnyo eri Mukama.
14 After Lot parted from him, our Father told Abram, "Look up from where you stand: north, south, east, and west. Mukama n’agamba Ibulaamu ng’amaze okwawukana ne Lutti nti, “Yimusa amaaso go ng’osinziira mu kifo mw’oli, otunule ku bukiikakkono, ne ku bukiikaddyo, n’ebuvanjuba n’ebugwanjuba;
15 For all the land that you see I will give to you and to your children forever. kubanga ensi gy’olaba ndigikuwa ggwe n’ezzadde lyo emirembe gyonna.
16 I will make your children like the dust of the earth—if the dust of the earth can be counted, so can your children. Ndyaza ezzadde lyo ng’enfuufu ey’oku nsi; omuntu bw’alisobola okubala enfuufu ey’oku nsi, n’ezzadde lyo aliribala.
17 Get up, walk the land's length and breadth, for I am giving it to you." Situka, tambula obuwanvu n’obukiika obw’ensi kubanga ngikuwadde.”
18 Abram pitched his tents, went and settled by the oaks of Mamre at Hebron, and built an altar there to our Father. Awo Ibulaamu n’asimbula eweema ye n’agenda n’abeera okumpi n’emivule gya Mamule, ekiri e Kebbulooni, n’azimbira eyo Mukama ekyoto.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]