Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Ezra 1 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 In Cyrus king of Persia's first year, to fulfill our Father's word through Jeremiah, our Father stirred Cyrus king of Persia's spirit, so that he sent a proclamation throughout all his kingdom and put it in writing: Awo mu mwaka ogw’olubereberye ogw’obufuzi bwa Kuulo kabaka wa Buperusi, ekigambo Mukama kye yayogerera mu Yeremiya ne kituukirira, Mukama n’akoma ku mutima gwa Kuulo kabaka w’e Buperusi okulangirira mu bwakabaka bwe bwonna, n’okukiteeka mu buwandiike nti,
2 This is what Cyrus king of Persia says: "The LORD, God of heaven, has given me all the kingdoms of the earth, and has appointed me to build him a house at Jerusalem in Judah. “Bw’ati bw’ayogera Kuulo kabaka w’e Buperusi nti, “ ‘Obwakabaka bwonna obw’omu nsi Mukama Katonda w’eggulu abumpadde, era annonze okumuzimbira yeekaalu e Yerusaalemi mu Yuda.
3 Whoever among you of all his people—may his God be with him—let him go up to Jerusalem in Judah and rebuild the house of the LORD, the God of Israel; he is the God in Jerusalem. Omuntu yenna mu mmwe abantu be, Katonda we abeere naye, agende e Yerusaalemi mu Yuda addaabirize yeekaalu ya Mukama, Katonda wa Isirayiri, Katonda ali mu Yerusaalemi.
4 Let every survivor, wherever he lives, be helped by the people of his place with silver, gold, goods, and livestock, along with voluntary offerings for the house of God in Jerusalem." Na buli Muyisirayiri eyasigalawo gy’ali, abantu abo baabeeramu, banaamuwa ffeeza ne zaabu, n’ebintu n’ebisolo ebirundibwa, obutasaako ebiweebwayo bye bawaayo ku bwabwe ebya yeekaalu ya Katonda eri mu Yerusaalemi.’ ”
5 Then the family heads of Judah and Benjamin, the priests and Levites—everyone whose spirit our Father had stirred—set out to go up and rebuild the house of our Father in Jerusalem. Awo abakulu b’ennyumba za Yuda ne Benyamini, ne bakabona, n’Abaleevi, na buli muntu Katonda gwe yakubiriza, ne beeteekateeka okwambuka okugenda okuddaabiriza yeekaalu ya Mukama eri mu Yerusaalemi.
6 All their neighbors supported them with articles of silver and gold, goods, livestock, and valuable gifts, besides everything freely offered. Baliraanwa baabwe bonna ne babawa ebintu ebya ffeeza ne zaabu, n’ebintu ebirala n’ebisolo ebirundibwa, n’ebirabo eby’omuwendo omungi, okwo nga kwe kuli ebiweebwayo bye baawaayo nga beeyagalidde.
7 King Cyrus also brought out the articles of our Father's house that Nebuchadnezzar had taken from Jerusalem and put in his own gods' house. Ebintu ebyali mu yeekaalu ya Mukama, Nebukadduneeza bye yanyaga mu Yerusaalemi n’abiteeka mu ssabo lya bakatonda be, Kabaka Kuulo, n’abiggyayo.
8 Cyrus king of Persia had Mithredath the treasurer bring them out, counting them to Sheshbazzar the prince of Judah. Kuulo kabaka w’e Buperusi n’abikwasa Misuledasi omuwanika, eyabikwasa Sesubazzali omulangira wa Yuda.
9 This was their number: 30 gold basins, 1,000 silver basins, 29 incense burners, Guno gwe gwali omuwendo gwabyo: Esowaani eza zaabu amakumi asatu 30, Esowaani eza ffeeza lukumi 1,000, Ebiso ebya ffeeza amakumi abiri mu mwenda 29,
10 30 gold bowls, 410 silver bowls of another kind, and 1,000 other articles. Ebibya ebya zaabu amakumi asatu 30, n’ebibya ebya ffeeza ebigenderako ebikumi bina mu kumi 410, n’ebintu ebirala lukumi 1,000.
11 The gold and silver articles numbered 5,400. Sheshbazzar brought them all up when the exiles came up from Babylon to Jerusalem. Byonna awamu ebintu ebya zaabu ne ffeeza byali enkumi ttaano mu ebikumi bina (5,400). Sesubazzali n’agenda nabyo byonna e Yerusaalemi okuva e Babulooni mu buwaŋŋanguse.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]