Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

2 Chronicles 36 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 The people of the land took Josiah's son Jehoahaz and made him king in Jerusalem in place of his father. Awo abantu b’ensi eyo ne balonda Yekoyakaazi mutabani wa Yosiya, n’asikira kitaawe mu Yerusaalemi.
2 Jehoahaz was twenty-three years old when he became king, and he reigned three months in Jerusalem. Yekoyakaazi yali wa myaka amakumi abiri mu esatu bwe yalya obwakabaka, n’afugira mu Yerusaalemi emyezi esatu.
3 Egypt's king deposed him at Jerusalem and fined the land about 7,500 pounds of silver and 75 pounds of gold. Kabaka w’e Misiri yamugoba ku ntebe ey’obwakabaka mu Yerusaalemi, n’asalira Yuda obusuulu obwa ttani ssatu n’obutundu buna obwa ffeeza ne kilo amakumi asatu mu nnya eza zaabu.
4 Egypt's king made his brother Eliakim king over Judah and Jerusalem, renaming him Jehoiakim; Neco took his brother Jehoahaz to Egypt. Kabaka w’e Misiri n’afuula Eriyakimu muganda wa Yekoyakaazi okuba kabaka wa Yuda ne Yerusaalemi, n’akyusa n’erinnya lye, n’amutuuma Yekoyakimu, naye n’atwala Yekoyakaazi muganda we nga musibe e Misiri.
5 Jehoiakim was twenty-five when he became king; he reigned eleven years in Jerusalem, doing evil in our Father's eyes. Yekoyakimu yali wa myaka amakumi abiri mu etaano bwe yalya obwakabaka, n’afugira emyaka kkumi na gumu mu Yerusaalemi. N’akola ebitali bya butuukirivu mu maaso ga Mukama Katonda we.
6 Nebuchadnezzar king of Babylon marched against him, bound him in bronze chains to take him to Babylon. Awo lumu Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’amulumba, n’amusiba mu masamba, n’amutwala e Babulooni.
7 Nebuchadnezzar also took some of our Father's house articles to Babylon, putting them in his temple in Babylon. Nebukadduneeza n’atwala n’ebintu ebyali mu yeekaalu ya Mukama e Babulooni, n’abiteeka mu ssabo lye.
8 The rest of Jehoiakim's acts, his detestable things, and the charges against him are written in the Book of Kings of Israel and Judah; his son Jehoiachin reigned in his place. Ebyafaayo ebirala ebyabaawo ku mulembe gwa Yekoyakimu, eby’ekivve bye yakola, ne byonna bye yavunaanibwa, byawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Isirayiri ne Yuda. Yekoyakini mutabani we n’amusikira.
9 Jehoiachin was eight when he became king; he reigned three months and ten days in Jerusalem, doing evil in our Father's eyes. Yekoyakini yali wa myaka munaana bwe yalya obwakabaka, n’afugira emyezi esatu n’ennaku kkumi mu Yerusaalemi. N’akola ebitali bya butuukirivu mu maaso ga Mukama.
10 In spring, King Nebuchadnezzar brought him to Babylon with the precious articles from our Father's house, making Zedekiah, Jehoiachin's relative, king over Judah and Jerusalem. Awo omwaka bwe gwali nga gunaatera okuggwaako, kabaka Nebukadduneeza n’amutumya, n’aleetebwa e Babulooni n’ebintu byonna eby’omuwendo okuva mu yeekaalu ya Mukama. Nebukadduneeza n’afuula Zeddekiya kitaawe omuto okuba kabaka wa Yuda ne Yerusaalemi.
11 Zedekiah was twenty-one years old when he became king, and he reigned eleven years in Jerusalem. Zeddekiya yali wa myaka amakumi abiri mu gumu bwe yalya obwakabaka, n’afugira emyaka kkumi na gumu mu Yerusaalemi.
12 He did evil in our Father's eyes, not humbling himself before Jeremiah the prophet, who spoke from our Father's mouth. N’akola ebitali bya butuukirivu mu maaso ga Mukama Katonda we, n’ateetoowaza mu maaso ga nnabbi Yeremiya, eyayogeranga ekigambo kya Mukama.
13 He also rebelled against King Nebuchadnezzar, who made him swear by our Father, stiffening his neck and hardening his heart, refusing to return to our Father, God of Israel. N’ajeemera ne kabaka Nebukadduneeza eyamulayiza mu maaso ga Katonda. N’akakanyaza ensingo ye n’omutima gwe, n’atakyuka kudda eri Mukama Katonda wa Isirayiri.
14 All the leading priests and the people grew more and more unfaithful, matching all the nations' detestable practices, and made unclean the house our Father had made holy in Jerusalem. Ate ne bakabona abakulu bonna n’abantu, ne bataba beesigwa ne bagoberera eby’obukaafiiri eby’amawanga amalala, ne bagwagwawaza yeekaalu ya Mukama, gye yali atukuzizza mu Yerusaalemi.
15 Our Father, the God of their fathers, sent word repeatedly through his messengers, pitying his people and his dwelling place. Awo Mukama Katonda wa bajjajjaabwe n’ayogera nabo ng’ayita mu babaka be, ng’asaasira abantu be n’ekifo mu abeera.
16 But they mocked our Father's messengers, despised his words, mocked his prophets, until our Father's anger rose against his people, past remedy. Naye ne baduuliranga ababaka ba Katonda, ne banyoomanga n’ebigambo bye, ne basekereranga bannabbi be, okutuusa obusungu bwa Katonda bwe bwabuubuukira ku bantu be awatali kubasaasira.
17 So he brought Chaldea's king against them, who killed their young men with the sword in their sanctuary, sparing no young man, virgin, elder, or aged. Our Father gave them all into his hand. Kyeyava aweereza kabaka w’Abakaludaaya okubalumba, n’atta n’ekitala abavubuka baabwe mu nnyumba awasinzizibwa, n’atalekaawo muvubuka n’omu newaakubadde abawala abato, newaakubadde abasajja abakulu wadde abakadde ennyo. Bonna Katonda yabawaayo mu mukono gwa Nebukadduneeza.
18 All the articles of our Father's house, great and small, the treasures of our Father's house and of the king and his officials—all he brought to Babylon. Ne yeetikka ebintu ebinene n’ebitono byonna okuva mu yeekaalu ya Katonda, n’eby’obugagga eby’omu yeekaalu ya Mukama, n’amawanika ga kabaka n’abakungu be.
19 They burned the house of our Father, tore down Jerusalem's wall, burned all its palaces, destroyed everything valuable in it. Ne bookya yeekaalu ya Katonda ne bamenyaamenya ne bbugwe wa Yerusaalemi, ne bookya n’embiri zonna, ne bazikiriza n’ebintu eby’omuwendo byonna.
20 He exiled the sword's survivors to Babylon; they served him and his sons until Persia's kingdom began to reign, N’abo abaawona ekitala, n’abatwala mu buwaŋŋanguse e Babulooni, ne babeera baddu be n’aba batabani be okutuusa ku kufuga kw’obwakabaka bw’Obuperusi.
21 to fulfill our Father's word through Jeremiah: until the land enjoyed its sabbaths, all its desolate days it rested, fulfilling seventy years. Ensi n’ekuuma ssabbiiti zaayo, ekiseera kyonna kye yamala mu kubonaabona kwayo okutuusa emyaka ensanvu bwe gyagwako, ng’ekyo kituukiriza ekigambo Mukama kye yayogera mu Yeremiya.
22 In Cyrus king of Persia's first year, to fulfill our Father's word through Jeremiah, our Father stirred Cyrus king of Persia's spirit to proclaim throughout all his kingdom, and to put it in writing: Mu mwaka ogw’olubereberye ogwa Kuulo kabaka wa Buperusi, Mukama n’akoma ku mutima gwa Kuulo kabaka wa Buperusi ng’ekigambo Mukama kye yayogerera mu Yeremiya bwe kyali, okulangirira mu bwakabaka bwe bwonna, n’okuwandiika nti,
23 Cyrus king of Persia says: "The LORD, God of heaven, gave me all earth's kingdoms and charged me to build him a house in Jerusalem, in Judah. Any of his people among you—may the LORD his God be with him—let him go up." “Bw’atyo bw’ayogera Kuulo kabaka wa Buperusi nti, “ ‘Mukama Katonda w’eggulu ampadde obwakabaka bwonna obw’omu nsi, era annonze okumuzimbira yeekaalu e Yerusaalemi mu Yuda. Bwe wabaawo omuntu yenna mu mmwe ow’oku bantu be, Mukama Katonda abeere naye, ayambuke.’ ”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]