Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

2 Chronicles 35 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Josiah kept Passover to our Father in Jerusalem; they slaughtered the Passover lamb on the fourteenth day of the first month. Awo Yosiya n’akwata Embaga ey’Okuyitako mu Yerusaalemi, era ne batta omwana gw’endiga, ogw’Embaga ey’Okuyitako ku lunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi ogw’olubereberye.
2 He assigned priests their duties and encouraged them in service of our Father's house. N’alonda bakabona mu bifo eby’obuvunaanyizibwa bwabwe, n’abakuutira mu kuweereza kwabwe mu yeekaalu ya Mukama.
3 He told the Levites who taught all Israel and were holy to our Father: "Put the holy ark in the house Solomon son of David, king of Israel, built. You need no longer carry it on your shoulders. Now serve your Father and his people Israel. N’agamba Abaleevi abaayigirizanga Isirayiri yenna, era abaali abawonge eri Mukama nti, “Muteeke essanduuko entukuvu mu yeekaalu ya Sulemaani mutabani wa Dawudi, kabaka wa Isirayiri, gye yazimba. Si yaakwetikkanga ku bibegabega byammwe. Kaakano muweereze Mukama Katonda wammwe n’abantu be Isirayiri,
4 Prepare yourselves by your fathers' houses, by your divisions, by David king of Israel's written instructions, and his son Solomon's instructions. mweteeketeeke ng’ennyumba za bajjajjammwe bwe ziri mu masiga gammwe, nga mugoberera ebiragiro Dawudi kabaka wa Isirayiri ne Sulemaani mutabani we bye yawandiika.
5 Stand in the holy place by family groups of your lay brothers, one Levite division per group. “Muyimirire awatukuvu mu bibinja eby’Abaleevi eby’ennyumba za bajjajjammwe eza baganda bammwe abantu abaabulijjo.
6 Slaughter the Passover lamb, dedicate yourselves, and prepare for your brothers, following the word of our Father through Moses." Mutte ennyana n’abaana b’endiga ab’Embaga ey’Okuyitako, mwetukuze, muteekereteekere baganda bammwe, nga mugoberera ebyo Mukama bye yalagira ng’ayita mu Musa.”
7 Josiah gave the lay people 30,000 lambs and young goats, 3,000 bulls, for Passover offerings—for everyone present, from his own possessions. Yosiya n’agabira abantu abaabulijjo bonna abaaliwo endiga n’embuzi emitwalo esatu okuba ebiweebwayo olw’Embaga ey’Okuyitako, n’ente enkumi ssatu okuva mu byobugagga bwe.
8 His officials also gave willingly to the people, priests, and Levites. Hilkiah, Zechariah, and Jehiel, chief officers of our Father's house, gave the priests 2,600 Passover offerings and 300 bulls. Abakungu be nabo, ku bwabwe ne bagabira abantu ne bakabona n’abaleevi ebintu. Kirukiya, ne Zekkaliya ne Yekyeri abaddukanyanga emirimu gya yeekaalu ya Mukama ne bawa bakabona abaana b’endiga n’ab’embuzi enkumi bbiri mu lukaaga, n’ente ebikumi bisatu.
9 Conaniah, with his brothers Shemaiah and Nethanel, and Hashabiah, Jeiel, and Jozabad, Levite leaders, gave the Levites 5,000 Passover offerings and 500 bulls. Konaniya, ne Semaaya ne Nesaneri, baganda be, ne Kasabiya ne Yeyeri ne Yozabadi, abakulu b’Abaleevi, nabo ne bawa Abaleevi abaana b’endiga n’ente enkumi ttaano nga by’ebiweebwayo eby’Embaga ey’Okuyitako.
10 The service was set; priests stood at their posts, Levites by their divisions, as the king commanded. Ne bateekateeka eby’okusinza, bakabona ne bayimirira mu bifo byabwe n’Abaleevi mu bibinja byabwe nga kabaka bwe yalagira.
11 They slaughtered the Passover lambs; priests sprinkled the blood passed to them, and Levites skinned them. Ne batta abaana b’endiga ab’Embaga ey’Okuyitako, bakabona ne bamansira omusaayi gwe baggyanga mu bisolo, Abaleevi bye baabaaganga.
12 They set aside the burnt offerings, distributing them by family division among the common people, to offer to our Father as written in the book of Moses; likewise with the bulls. Ne baawuula ebiweebwayo ebyokebwa balyoke babigabire abantu abaabulijjo mu bibinja byabwe mu nnyumba za bajjajjaabwe, babiweeyo eri Mukama, nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kya Musa. Bwe batyo bwe baakola n’ente.
13 They roasted the Passover lamb in fire as required, boiled the holy offerings in pots, kettles, and pans, and quickly brought them to all the common people. Ne bookya ensolo ez’Embaga ey’Okuyitako mu muliro nga bwe kyawandiikibwa, ne bafumba ebiweebwayo ebitukuvu mu ntamu, ne mu sefuliya ne mu nsaka, n’oluvannyuma ne babigabira mangu buli muntu owabulijjo.
14 Afterward they prepared for themselves and the priests, since the priests, Aaron's sons, were busy offering burnt offerings and fat portions until night; so the Levites prepared for themselves and the priests, Aaron's sons. Oluvannyuma lw’ebyo Abaleevi ne bakabona ne beeteekerateekera bo ne bakabona kubanga bakabona bazzukulu ba Alooni tebaalina bbanga olw’omulimu ogw’okuwaayo ebiweebwayo n’amasavu gwe baakola okuzibya obudde. Abaleevi kyebaava beeteekerateekera bo ne bakabona batabani ba Alooni.
15 The singers, Asaph's sons, stood at their posts as David, Asaph, Heman, and Jeduthun the king's seer had commanded. The gatekeepers stayed at each gate; they had no need to leave their duty, for their fellow Levites prepared for them. N’abayimbi bazzukulu ba Asafu baali mu bifo byabwe nga Dawudi, ne Asafu, ne Kemani ne Yedusuni, omulabi wa kabaka, bwe baalagira. N’abaggazi baali ku buli luggi, nga tebava ku kuweereza kwabwe, kubanga baganda baabwe Abaleevi baabateekerateekera.
16 So all the service of our Father was arranged that day: to keep Passover and offer burnt offerings on the altar of our Father, by King Josiah's command. Bwe kutyo okuweereza kwonna okw’Embaga ey’Okuyitako n’okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa ku kyoto kya Mukama bwe kwali, Kabaka Yosiya kwe yalagira.
17 The Israelites present kept Passover then, and the Feast of Unleavened Bread seven days. Abayisirayiri abaaliwo mu kiseera ekyo, ne bakwata Embaga ey’Okuyitako, ne bafumba n’embaga ey’Emigaati egitali mizimbulukuse, okumala ennaku musanvu.
18 No Passover like it had been kept in Israel since Samuel the prophet's days; none of Israel's kings kept a Passover like Josiah's, with the priests, Levites, all Judah and Israel present, and Jerusalem's residents. Waali tewabangawo Mbaga ya Kuyitako ng’eyo mu Isirayiri okuva mu nnaku za Samwiri nnabbi, nga eyaliwo mu kiseera kya Yosiya, ne bakabona n’Abaleevi, ne Yuda yonna ne Isirayiri abaaliwo, n’abatuuze ba Yerusaalemi.
19 This Passover was kept in the eighteenth year of Josiah's reign. Embaga ey’Okuyitako eyo yakwatibwa mu mwaka gwa kkumi na munaana ogw’okufuga kwa Yosiya.
20 After all this, once Josiah had prepared the temple, Egypt's king Neco marched up to fight at Carchemish on the Euphrates, and Josiah went out to meet him. Oluvannyuma lw’ebyo byonna, Yosiya ng’amaze okuteekateeka yeekaalu, Neeko kabaka w’e Misiri n’atabaala Kalukemisi ku mugga Fulaati, ne Yosiya n’agenda amutabaale.
21 But Neco sent messengers to him, saying, "What do we have to do with each other, king of Judah? I'm not coming against you today, but against the house I'm at war with. God told me to hurry—stop opposing God, who is with me, or he'll destroy you." Naye Neeko n’amutumira ababaka ng’amugamba nti, “Onvunaana ki gwe kabaka wa Yuda? Sitabaala gwe leero, wabula Kalukemisi ggwe nnwana naye, kubanga Katonda andagidde okwanguwa. Noolwekyo toziyiza Katonda, kubanga ali wamu nange. Bw’otoobeerwe anaakuzikiriza.”
22 Josiah did not turn away from him, but disguised himself to fight him. He ignored Neco's words from the mouth of our Father, and went to fight in the plain of Megiddo. Naye Yosiya n’atamuwuliriza, ne yeebulizabuliza mu ggye n’agenda okumutabaala. N’atawuliriza bigambo bya Neeko ebyava eri Katonda, naye n’agenda okumulwanyisa mu lusenyi lwa Megiddo.
23 Archers shot King Josiah; he told his servants, "Get me out—I'm badly wounded." Abalasi ne balasa kabaka Yosiya n’agamba abaserikale be nti, “Munziggyeewo kubanga nfumitiddwa nnyo.”
24 His servants moved him from the chariot to his second chariot and brought him to Jerusalem, where he died and was buried in his fathers' tombs. All Judah and Jerusalem mourned Josiah. Awo ne bamuggya mu ggaali lye ne bamuteeka mu ggaali eddala lye yalina, ne bamuleeta e Yerusaalemi, era eyo gye yafiira. N’aziikibwa mu masiro ga bajjajjaabe. Yuda yonna ne Yerusaalemi ne bamukungubagira.
25 Jeremiah composed laments for Josiah, and to this day all the singers, men and women, sing laments for Josiah. This became a custom in Israel, and it is written in the Laments. Yeremiya n’ayiiya ennyimba ez’okukungubagira Yosiya, era ne leero abayimbi bonna abasajja n’abakazi bayimba nga bamujjukira mu nnyimba ez’okukungubaga. Ennyimba ezo zaafuuka kijjukizo mu Isirayiri era zawandiikibwa mu kungubaga.
26 The rest of Josiah's acts, and his faithful deeds in keeping with what is written in our Father's law. Ebyafaayo ebirala ebyaliwo mu mirembe gya Yosiya, n’ebikolwa bye ebirungi, nga bwe byawandiikibwa mu tteeka lya Mukama,
27 His acts, first to last, are written in the Book of the Kings of Israel and Judah. ne byonna okuva ku ntandikwa ye okutuuka ku nkomerero ye, byawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Isirayiri ne Yuda.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]