Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

2 Chronicles 34 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Josiah was eight years old when he became king, and he reigned thirty-one years in Jerusalem. Yosiya yali wa myaka munaana bwe yalya obwakabaka, era n’afugira emyaka amakumi asatu mu gumu mu Yerusaalemi.
2 He did what was right in our Father's eyes and walked in the ways of David his father, not turning right or left. N’akola ebirungi mu maaso ga Mukama, n’atambulira mu makubo ga Dawudi jjajjaawe, n’akwata ekkubo lya Mukama eggolokofu.
3 In the eighth year of his reign, while still a boy, he began to seek our Father, the God of David his father. In the twelfth year he began to purge Judah and Jerusalem of the high places, Asherah poles, carved images, and cast metal images. Mu mwaka ogw’omunaana ogw’okufuga kwe, ng’akyali muto, n’atandika okunoonya Katonda wa Dawudi jjajjaawe, era mu mwaka ogw’ekkumi n’ebiri n’atandika okuggya ebifo ebigulumivu, ne Baasera, n’ebifaananyi ebyole, n’ebifaananyi ebisaanuuse mu Yuda ne mu Yerusaalemi.
4 In his presence they tore down the Baals' altars; he cut down the incense altars above them, shattered the Asherah poles, carved images, and cast images, ground them to dust, and scattered it over the graves of those who had sacrificed to them. N’alagira bamenyeemenye ebyoto bya Baali, n’atemaatema ebyoto kwe baayoterezanga obubaane ebyali waggulu waabyo, n’amenyaamenya ne Baasera, n’ebifaananyi ebyole, n’ebifaananyi ebisaanuuse; n’abisesebbula, enfuufu yaabyo n’agimansula ku malaalo g’abo abaaweerangayo ssaddaaka.
5 He burned the bones of the priests on their altars, and so he purged Judah and Jerusalem. N’ayokera amagumba ga bakabona abaakolanga eby’ebivve ebyo ku byoto ebyo, n’atukuza Yuda ne Yerusaalemi.
6 In the cities of Manasseh, Ephraim, and Simeon, as far as Naphtali, in their ruins all around. Ne mu bibuga bya Manase, ne Efulayimu, ne Simyoni, okutuukira ddala mu Nafutaali, ne mu matongo gaabyo okubyetooloola,
7 He tore down the altars, crushed the Asherah poles and carved images to powder, and cut down all the incense altars throughout Israel. Then he returned to Jerusalem. n’amenyaamenya ebyoto ne Baasera, n’asesebbula n’ebifaananyi ebyole, n’atemaatema ebyoto byonna kwe baayokeranga obubaane mu Isirayiri yonna, n’oluvannyuma n’addayo e Yerusaalemi.
8 In the eighteenth year of his reign, having cleansed the land and the house, he sent Shaphan son of Azaliah, Maaseiah the city governor, and Joah son of Joahaz the recorder to repair the house of our Father. Awo mu mwaka ogw’ekkumi n’omunaana ogw’okufuga kwe ng’amaze okulongoosa ensi ne yeekaalu, n’alonda Safani mutabani wa Azaliya, ne Maaseya omwami w’ekibuga, ne Yowa mutabani wa Yowakazi omujjukiza, okuddaabiriza yeekaalu ya Mukama Katonda we.
9 They came to Hilkiah the high priest and handed over the money brought into the house of our Father, which the Levites who guarded the gates had collected from Manasseh, Ephraim, and all the remnant of Israel, from all Judah and Benjamin, and the residents of Jerusalem. Ne bagenda eri Kirukiya kabona asinga obukulu ne bawaayo ensimbi ezaaleetebwa mu yeekaalu ya Katonda, Abaleevi abaggazi ze baali basoloozezza mu bantu b’e Manase, ne Efulayimu, n’ekitundu kyonna ekyasigalawo, ne Yuda yonna, ne Benyamini, n’okuva eri abantu b’e Yerusaalemi.
10 They gave it to the workers overseeing the house of our Father, and the workers in the house of our Father used it to repair and restore it. Ne bazikwasa abakozi abaalondebwa okulabirira omulimu gwa yeekaalu ya Mukama. Abo be basajja abaasasulanga abakozi abaddaabirizanga n’okulongoosa yeekaalu.
11 They paid the carpenters and builders to buy cut stone, and timber for the joists and beams of the buildings the kings of Judah had let fall to ruin. Ababazzi n’abazimbi nabo ne baweebwa ensimbi okugula amayinja amawoole, n’embaawo ez’ebizimbe bakabaka ba Yuda bye baalagajjalira okuddaabiriza.
12 The men worked faithfully. Over them, directing the work, were Jahath and Obadiah, Levites of Merari's sons, and Zechariah and Meshullam of the Kohathites; and the Levites, all skilled musicians, Abasajja ne bakola omulimu n’obwesigwa. Abaabalabiriranga baali: Yakasi ne Obadiya Abaleevi ab’omu kika kya Merali, ne Zekkaliya ne Mesullamu ab’omu kika ky’Abakokasi. Abaleevi bonna abaakubanga ebivuga
13 were over the laborers, directing all the workers task by task. Some Levites were scribes, officials, and gatekeepers. be baavunaanyizibwanga abapakasi, n’okulabirira abakozi bonna mu kuweereza okw’engeri zonna. Abamu ku Baleevi baali bawandiisi, n’abalala ng’abaami, n’abalala nga baggazi.
14 As they brought out the money brought into the house of our Father, Hilkiah the priest found the Book of the Law of our Father, given through Moses. Awo bwe baali bakuŋŋaanya ensimbi ze baggya mu yeekaalu ya Mukama, Kirukiya kabona, n’azuula ekitabo eky’amateeka ga Mukama agaaweebwa Musa.
15 Hilkiah told Shaphan the scribe, "I've found the Book of the Law in our Father's house," and gave it to Shaphan. Awo Kirukiya kabona n’agamba Safani omuwandiisi nti, “Nzudde ekitabo eky’amateeka mu yeekaalu ya Mukama.” N’akiwa Safani.
16 Shaphan brought the king the book and reported, "Your servants are doing everything put in their care. Safani n’akitwalira kabaka, n’amutegeeza ne ku by’omulimu ng’agamba nti, “Byonna abaddu bo bye baalagirwa babikola.
17 They emptied out the money found in the house of our Father and handed it to the overseers and workmen." Ensimbi ezaali mu yeekaalu ya Mukama ziweereddwa abalabirira n’abakozi.”
18 Shaphan the scribe told the king, "Hilkiah the priest gave me a book," and read it to the king. Safani omuwandiisi n’ategeeza kabaka nti, “Kirukiya kabona ampadde ekitabo.” Awo Safani n’akisomera kabaka.
19 When the king heard the words of the Law, he tore his clothes. Kabaka bwe yawulira ebigambo by’amateeka, n’ayuza ebyambalo bye.
20 The king commanded Hilkiah, Ahikam son of Shaphan, Abdon son of Micah, Shaphan the scribe, and Asaiah the king's servant: N’alagira Kirukiya ne Akikamu mutabani wa Safani, ne Abudoni mutabani wa Mikka, ne Safani omuwandiisi, ne Asaya omuddu wa kabaka, ng’ayogera nti,
21 "Go, ask our Father for me and those left in Israel and Judah about the words of the book that was found. Great is his anger poured out on us, because our ancestors did not keep our Father's word, doing all written in this book." “Mugende mumbulize ku Mukama, nze n’abasigadde mu Isirayiri ne mu Yuda, ku bikwata ku bigambo eby’omu kitabo ekizuuliddwa, kubanga obusungu bwa Mukama bungi nnyo nnyini era butubuubuukirako olwa bajjajjaffe abataagoberera kigambo kya Mukama okukikola nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kino.”
22 So Hilkiah and the king's men went to Huldah, the woman prophet, wife of Shallum son of Tokhath, son of Hasrah, keeper of the wardrobe. She lived in Jerusalem's Second Quarter. They spoke with her about this. Awo Kirukiya n’abo kabaka be yali atumye ne bagenda eri Kuluda nnabbi omukazi, muka Sallumu mutabani wa Tokasi muzzukulu wa Kasula omuwanika w’ebyambalo. Yabeeranga mu Yerusaalemi mu kitundu ekyokubiri.
23 She told them, "This is what our Father, the God of Israel, says: Tell the man who sent you to me: N’abagamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Mutegeeze omusajja abatumye nti,
24 This is what our Father says: I am about to bring disaster on this place and its residents—all the curses written in the book read to the king of Judah. bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Laba ndireeta ku kifo kino ne ku bantu baamu akabi, n’ebikolimo byonna ebyawandiikibwa mu kitabo, ekyasomeddwa mu maaso ga kabaka wa Yuda.
25 Because they abandoned me and made offerings to other gods, provoking me to anger with all they have made, my wrath will pour out on this place and not be put out. Kubanga banvuddeko ne bookera bakatonda abalala obubaane, era bansunguwazizza n’emirimu gyonna egy’emikono gyabwe. Kyennaava mbasunguwalira ne wataba n’omu akkakkanya busungu bwange.” ’
26 But tell the king of Judah, who sent you to inquire of me: This is what our Father, the God of Israel, says about the words you heard: Naye mugambe kabaka wa Yuda eyabatumye okujja okwebuuza ku Mukama nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri nti,
27 Because your heart was tender and you humbled yourself before our Father when you heard his words against this place and its residents, and humbled yourself before me, tore your clothes, and wept before me, I myself have heard you, declares our Father. “Kubanga omutima gwo gubadde mumenyefu ne weetoowaza mu maaso ga Katonda, bwe wawulidde ebigambo bye, ebikwata ku kifo kino n’abo abakibeeramu, ne weetoowaza mu maaso gange, n’oyuza ebyambalo byo, n’okaabira mu maaso gange, nkuwulidde.
28 I will gather you to your ancestors, laid in your grave in peace. Your eyes won't see any of the disaster I'm bringing on this place and its people." So they brought the king this reply. Laba, ndikukuŋŋaanyiza eri bajjajjaabo, n’ofa mirembe, era amaaso go tegalirega ku kabi ke ndireeta ku kifo kino ne ku bantu baamu.” ’ ” Ne bazaayo obubaka eri kabaka.
29 Then the king summoned all the elders of Judah and Jerusalem. Awo kabaka n’akuŋŋaanya abakadde bonna aba Yuda n’ab’omu Yerusaalemi.
30 The king went up to the house of our Father with all Judah's men, Jerusalem's residents, the priests, the Levites, and all the people, great and small. He read them all the words of the Book of the Covenant found in the house of our Father. N’ayambuka mu yeekaalu ya Mukama, n’abantu bonna aba Yuda, n’abantu b’e Yerusaalemi, ne bakabona, n’abaleevi, n’abantu bonna ab’ekitiibwa n’abatali ba kitiibwa. N’asoma ebigambo byonna eby’omu kitabo eky’endagaano, ekyazuulibwa mu yeekaalu ya Mukama.
31 The king stood in his place and made a covenant before our Father—to follow our Father, keep his commandments, testimonies, and statutes with all his heart and all his soul, and carry out the covenant's words written in this book. Kabaka n’ayimirira mu kifo kye, ne yeeyama mu maaso ga Mukama, okutambuliranga mu mpya za Mukama n’okukwatanga amateeka ge, n’ebyo bye yategeeza, n’ebiragiro bye, n’omutima gwe gwonna n’omwoyo gwe gwonna, okutuukirizanga ebigambo ebyawandiikibwa mu kitabo.
32 He made everyone present in Jerusalem and Benjamin pledge to it, and the people of Jerusalem acted by the covenant of our Father, the God of their fathers. Oluvannyuma n’alagira bonna abaali mu Yerusaalemi ne mu Benyamini okweyama. Abatuuze b’omu Yerusaalemi ne bakola ng’endagaano ya Katonda, Katonda wa bajjajjaabwe bw’egamba.
33 Josiah removed all detestable things from the territory of the people of Israel, and made everyone in Israel serve our Father, their God. As long as he lived, they did not turn from following our Father. Yosiya n’aggya eby’emizizo byonna ku butaka bwonna obw’Abayisirayiri, n’alagira bonna abaali mu Isirayiri okuweerezanga Mukama Katonda waabwe. Mu kufuga kwe kwonna, tebaava ku Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]