Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

2 Chronicles 33 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Manasseh was twelve years old when he became king, and he reigned fifty-five years in Jerusalem. Manase yalya obwakabaka nga wa myaka kkumi n’ebiri, n’afugira emyaka amakumi ataano mu etaano mu Yerusaalemi.
2 He did evil in our Father's sight, like the detestable things of the nations our Father drove out before the Israelites. N’akola ebitaali bya butuukirivu mu maaso ga Mukama, ng’agoberera ebikolwa eby’ekivve eby’amawanga Mukama ge yagoba mu maaso g’Abayisirayiri.
3 He rebuilt the high places his father Hezekiah had torn down, built altars to the Baals, made Asherah poles, and he bowed down to all the forces of heaven and worshiped them. N’addaabiriza ebifo ebigulumivu kitaawe Keezeekiya bye yali amenyeemenye, n’azimbira ne Baali ebyoto, n’akola ne Baasera, n’asinza era n’aweereza n’eggye lyonna ery’oku ggulu.
4 He built altars in our Father's house, where our Father said, "In Jerusalem my name remains forever." N’azimba ebyoto mu yeekaalu ya Mukama, Mukama gye yayogerako nti, “Mu Yerusaalemi erinnya lyange mwe linaabeeranga emirembe gyonna.”
5 He built altars to all heaven's forces in both courts of the house of our Father. N’azimba ebyoto eby’okusinzizangako eggye lyonna ery’oku ggulu, mu mpya zombi eza yeekaalu ya Mukama.
6 In the Valley of Ben-Hinnom he sacrificed his sons in the fire, practiced fortune-telling, omens, and witchcraft, and consulted mediums and spiritists. He did great evil before our Father, provoking his anger. N’awaayo abaana be ng’ekiweebwayo, n’abookera mu kiwonvu ekya mutabani wa Kinomu, n’akola eby’obufumu, n’alagulira mu bire, n’akola eby’obulogo, n’agendanga n’eri abaliko emizimu ne ddayimooni. N’akola ebitaali bya butuukirivu bingi mu maaso ga Mukama, n’asunguwaza nnyo Mukama.
7 He set the carved image he made in the house of our Father, of which our Father said to David and his son Solomon, "In this house and in Jerusalem, which I chose from all the tribes of Israel, I will put my name forever. N’addira ekifaananyi ekyole kye yakola, n’akiteeka mu yeekaalu ya Katonda, Katonda gye yayogerako eri Dawudi ne Sulemaani mutabani we nti, “Mu yeekaalu eno ne mu Yerusaalemi muno, bye nalonda mu bika byonna ebya Isirayiri, mwe munaabeeranga Erinnya lyange emirembe gyonna.
8 I will never again remove Israel from the land I gave your ancestors, if only they carefully keep all I commanded them—the whole law, decrees, and rules through Moses." Sijjululenga nate kigere kya Isirayiri okuva mu nsi gye nawa bajjajjammwe, bwe baneekuumanga okukola bye mbalagidde, nga bagoberera amateeka gonna, n’ebiragiro, n’obulombolombo bye nnawa Musa.”
9 But Manasseh led Judah and Jerusalem's people astray, doing more evil than the nations our Father destroyed before Israel. Naye Manase n’asendasenda Yuda n’abantu b’e Yerusaalemi okukola ebitaali bya butuukirivu okusinga amawanga Mukama ge yazikiririza mu maaso g’Abayisirayiri.
10 Our Father spoke to Manasseh and his people, but they would not listen. Mukama n’ayogera ne Manase n’abantu be, kyokka ne batassaayo mwoyo.
11 So our Father brought the army commanders of Assyria's king against them; they captured Manasseh with hooks, bound him in bronze shackles, and took him to Babylon. Mukama kyeyava abasindikira abaduumizi b’eggye lya kabaka w’e Bwasuli, ne basiba Manase mu njegere ne mu masamba, ne bateeka eddobo mu nnyindo ye, ne bamutwala e Babulooni nga musibe.
12 Distressed, he sought our Father's favor, humbling himself deeply before the God of his fathers. Ng’ali eyo mu nnaku ye, ne yeegayirira Mukama Katonda we, ne yeetoowaza nnyo mu maaso ga Katonda wa bajjajjaabe.
13 He prayed to him, and our Father, moved by his plea, heard his cry for mercy, brought him back to Jerusalem, to his kingdom. Then Manasseh knew that our Father is God. N’amusaba, Mukama n’awulira okwegayirira kwe, n’amukomyawo e Yerusaalemi n’eri obwakabaka bwe. Awo Manase n’ategeera nga Mukama ye Katonda.
14 Afterward he rebuilt the City of David's outer wall, west of Gihon in the valley to the Fish Gate entrance, around the Ophel, raising it very high. He posted army commanders in all Judah's fortified cities. Oluvannyuma lw’ebyo n’addaabiriza bbugwe ow’ebweru ow’ekibuga kya Dawudi, ku luuyi olw’ebugwanjuba olwa Gikoni, mu kiwonvu, okutuuka awayingirirwa mu Mulyango ogw’Ebyennyanja, n’okwetooloola olusozi lwa Oferi, n’okumuzimba n’amuzimba ng’asingako bbugwe eyaliwo obuwanvu. N’ateeka n’abaduumizi b’eggye mu bibuga byonna ebiriko bbugwe mu Yuda.
15 He removed the foreign gods and idol from our Father's house, with all the altars he'd built on the temple mount and in Jerusalem, and threw them out of the city. N’aggyamu bakatonda abamawanga n’ekifaananyi ekyole mu yeekaalu ya Mukama, n’ebyoto byonna bye yazimba ku kasozi ka yeekaalu ne mu Yerusaalemi, n’abisuula ebweru w’ekibuga.
16 He rebuilt our Father's altar, sacrificed peace and thank offerings on it, and commanded Judah to serve our Father, the God of Israel. N’addaabiriza ekyoto kya Mukama, n’aweerayo ssaddaaka ez’ebiweebwayo olw’emirembe n’ez’okwebaza, n’alagira Yuda okuweerezanga Mukama Katonda wa Isirayiri.
17 The people, however, still sacrificed at the high places, but only to our Father, their God. Wabula abantu bo, ne beeyongera okuweerangayo ssaddaaka ku bifo ebigulumivu, nga baziwaayo eri Mukama Katonda waabwe.
18 Manasseh's other acts, his prayer to our Father, and the seers' words to him in the name of our Father, the God of Israel, are in the records of Israel's kings. Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Manase, ng’omwo mwe muli okusaba kwe eri Mukama n’ebigambo abalabi bye baamutegeezanga mu linnya lya Mukama Katonda wa Isirayiri, byawandiikibwa mu bitabo eby’omu mirembe gya bassekabaka ba Isirayiri.
19 His prayer, how our Father was moved by him, all his sin and unfaithfulness, and the places where he built high places, set up Asherah poles, and carved images before he humbled himself—all recorded in the seers' records. Okusaba kwe, n’okusaasira kwa Katonda gy’ali, n’ebibi bye, n’obutali bwesigwa bwe, n’ebifo ebigulumivu bye yazimba, ne Baasera, n’ebifaananyi ebyole bye yassaawo nga taneetoowaza, byonna byawandiikibwa mu bitabo eby’omu mirembe gy’abalabi.
20 Manasseh died and was buried in his palace. And his son Amon became king in his place. Manase ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, n’aziikibwa mu lubiri lwe, Amoni mutabani we n’amusikira.
21 Amon was twenty-two years old when he became king, and he reigned two years in Jerusalem. Amoni yali wa myaka amakumi abiri mu ebiri we yaliira obwakabaka.
22 He did evil before our Father, as his father Manasseh had. Amon sacrificed to all the carved images Manasseh made and worshiped them. N’akola ebitaali bya butuukirivu mu maaso ga Mukama, nga Manase kitaawe bwe yakola.
23 Unlike his father Manasseh, he did not humble himself before our Father; instead Amon multiplied his guilt. Naye obutafaanana nga kitaawe Manase, Amoni n’ayongera ekibi ku kibi, n’ateetoowaza mu maaso ga Mukama.
24 Amon's servants conspired against him and killed him in his palace. Abakungu ba Amoni ne bamusalira olukwe ne bamuttira mu lubiri lwe.
25 The people of the land killed all who conspired against King Amon and made his son Josiah king in his place. Naye Abantu ab’omu nsi ne batta abo bonna abasala olukwe okutta kabaka Amoni; ne bafuula Yosiya mutabani we okuba kabaka mu kifo kye.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]