Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

2 Chronicles 32 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 After these things and these acts of faithfulness, Sennacherib, Assyria's king, invaded Judah, besieged its fortified cities, meaning to break into them for himself. Oluvannyuma lw’ebyo byonna Keezeekiya bye yakola n’obwesigwa, Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli n’alumba Yuda, n’asiisira ebweru w’ebibuga ebiriko bbugwe, n’alowooza mu mutima gwe okubyetwalira.
2 When Hezekiah saw that Sennacherib had come, intent on making war against Jerusalem, Awo Keezeekiya bwe yalaba nga Sennakeribu azze, era ng’amaliridde okulwana ne Yerusaalemi,
3 he consulted his officials and warriors about blocking the springs outside the city, and they helped him. n’ateesa n’abakungu be n’abasajja be abalwanyi abazira, ku ky’okuziba enzizi ezaali ebweru w’ekibuga, era ne bakikola.
4 Many people gathered and blocked all the springs and the stream flowing through the land, asking, "Why should Assyria's kings come and find abundant water?" Ekibiina kinene eky’abantu ne kikuŋŋaana, ne baziba enzizi zonna n’akagga akayita mu nsi, nga bagamba nti, “Lwaki bakabaka b’e Bwasuli bajja ne basanga amazzi amangi bwe gatyo?”
5 He worked hard to rebuild all the broken sections of the wall, raised towers on it, built another wall outside, strengthened the Millo of the city of David, and made abundant weapons and shields. N’afuba nnyo n’addaabiriza ebitundu byonna ebya bbugwe ebyali bimenyese, n’azimba n’eminaala ku bbugwe, n’anyweza n’ebigulumu ebyanywezanga ekibuga kya Dawudi. N’akozesa n’ebyokulwanyisa bingi n’engabo nnyingi.
6 He set war commanders over the people, gathered them at the city gate square, and encouraged them: N’alonda abaduumizi b’eggye okukulembera abantu, ne babakuŋŋaanyiza gy’ali mu kifo ekigazi awali wankaaki w’ekibuga; n’abagumya ng’agamba nti,
7 "Be strong and brave. Don't fear or dread Assyria's king and all his horde, for more are with us than with him. “Mube n’amaanyi, mugume omwoyo. Temutya so temwelariikirira olwa kabaka w’e Bwasuli n’eggye lye eddene, kubanga waliwo eggye eririsinga eriri awamu naffe.
8 With him is only an arm of flesh; with us is our Father, to help us and fight our battles." The people relied on Hezekiah king of Judah's words. Sennakeribu akozesa omukono ogw’omubiri, naye ffe tulina Mukama Katonda waffe atulwanirira mu ntalo zaffe.” Abantu ne baguma omwoyo olw’ebigambo Keezeekiya kabaka wa Yuda bye yayogera.
9 After this, while besieging Lachish with all his forces, Sennacherib king of Assyria sent his servants to Jerusalem, to Hezekiah king of Judah and all Judah there, saying: Awo Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli n’eggye lye lyonna bwe baali bakyali e Lakisi kye baali bazingizza, n’atuma abakungu be e Yerusaalemi eri Keezeekiya kabaka wa Yuda, n’eri abantu bonna aba Yuda abaaliyo, ng’agamba nti,
10 "This is what Sennacherib king of Assyria says: On what are you trusting, staying under siege in Jerusalem? “Bw’ati bw’ayogera Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli nti, ‘Mwesiga ki okusigala mu Yerusaalemi nga kizingiziddwa?
11 Isn't Hezekiah deceiving you, surrendering you to die by famine and thirst, when he says, 'The LORD our God will save us from the hand of the king of Assyria'? Mulowooza nga Keezeekiya bw’ayogera nti, “Mukama Katonda waffe alitulokola mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli,” abatalimba, n’okwagala okubassa enjala n’ennyonta?
12 Wasn't it Hezekiah who removed his high places and altars, telling Judah and Jerusalem to worship at one altar and burn offerings there? Keezeekiya si ye yaggyawo ebifo ebigulumivu n’ebyoto, n’alagira Yuda ne Yerusaalemi ng’agamba nti, “Munaasinzizanga mu maaso g’ekyoto kimu, era okwo kwe munaayoterezanga obubaane”?
13 Don't you know what I and my fathers did to all peoples of other lands? Could their nations' gods rescue their lands from my hand? “ ‘Temumanyi, nze ne bajjajjange bye twakola amawanga gonna ag’omu nsi endala? Bakatonda abamawanga ago, baayinza okubawonya mu mukono gwange?
14 What god of nations my fathers devoted to destruction could save his people from my hand? How then can your God save you from my hand? Ani ku bakatonda abamawanga ago bajjajjange ge baazikiriza, eyayinza okubalokola mu mukono gwange? Katonda wammwe anaabawonya atya mu mukono gwange?
15 Don't let Hezekiah deceive or mislead you like this, and don't believe him: no god of any nation or kingdom could rescue his people from my hand or my fathers'—much less will your God rescue you from my hand!" Kale nno, Keezeekiya aleme kubalimbalimba newaakubadde okubasendasenda mu nsonga eyo. Temumukkiriza, kubanga tewali katonda ow’eggwanga lyonna oba bwakabaka, eyayinza okulokola abantu be mu mukono gwange newaakubadde eyayinza okubalokola mu mukono gwa bajjajjange. Kale Katonda wammwe alibawonya atya mu mukono gwange?’ ”
16 And his servants spoke still more against our Father and against his servant Hezekiah. Abakungu ba Sennakeribu ne boogera bingi nnyo n’okusingawo ku Mukama Katonda ne ku muddu we Keezeekiya.
17 Sennacherib also wrote letters insulting our Father, the God of Israel, speaking against him: "The nations' gods did not rescue their people from my hand; neither will Hezekiah's God rescue his people from my hand." Kabaka oyo n’awandiika n’amabaluwa agavuma Mukama Katonda wa Isirayiri, ng’agamba nti, “Nga bakatonda abamawanga ag’ensi bwe bataabawonya mu mukono gwange, bw’atyo ne Katonda wa Keezeekiya bw’ataliwonya bantu be mu mukono gwange.”
18 They shouted loudly in Judah's language to Jerusalem's people on the wall, to frighten and terrify them, to seize the city. Ne bakoowoola abantu ba Yerusaalemi abaali ku bbugwe mu lw’Ebbulaniya, nga babatiisatiisa baggweemu amaanyi, balyoke bawambe ekibuga.
19 They spoke of Jerusalem's God like the gods of earth's peoples, the work of human hands. Ne boogera ku Katonda wa Yerusaalemi nga bwe baayogeranga ku bakatonda abamawanga amalala ag’omu nsi endala, abakolebwa abantu.
20 Then King Hezekiah and the prophet Isaiah son of Amoz prayed about this, crying out to heaven. Awo Kabaka Keezeekiya ne nnabbi Isaaya mutabani wa Amozi ne basaba nga bakaabira eri eggulu ku nsonga eyo.
21 So our Father sent an angel who killed every mighty warrior, commander, and officer in the Assyrian king's camp. Sennacherib returned home in disgrace, and when he entered his god's temple, some of his own sons killed him there with the sword. Mukama n’atuma malayika, n’atemaatema abasajja abalwanyi abazira ab’amaanyi bonna n’abaduumizi, n’abakungu mu nkambi ya kabaka w’e Bwasuli. Sennakeribu n’addayo mu nsi ye ng’ensonyi zimukutte. Bwe yayingira mu yeekaalu ya katonda we, abamu ku batabani be ne bamutta n’ekitala.
22 So our Father saved Hezekiah and Jerusalem's people from the hand of Sennacherib king of Assyria and all others, and he cared for them on every side. Awo Mukama n’alokola Keezeekiya n’abantu ba Yerusaalemi mu mukono gwa Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli ne mu mukono gw’abalabe baabwe bonna abalala. N’abaakuumanga enjuuyi zonna.
23 Many brought gifts to our Father in Jerusalem, and treasures to Hezekiah king of Judah; afterward all nations honored Hezekiah highly. Bangi ne baleetera Mukama ebirabo e Yerusaalemi, ne Keezeekiya kabaka wa Yuda n’afuna ebirabo eby’omuwendo omungi. N’okuva ku lunaku olwo n’aweebwa ekitiibwa kinene mu mawanga gonna.
24 In those days Hezekiah grew sick to death; he prayed to our Father, who answered, giving him a sign. Mu biro ebyo, Keezeekiya n’alwala nnyo kumpi n’okufa. N’asaba Mukama amuwonye, n’amuddamu n’akabonero.
25 But Hezekiah didn't repay the good done him; his heart grew proud, so anger came on him and on Judah and Jerusalem. Naye Keezeekiya n’ateebaza ebyekisa ekya mukolerwa, olw’amalala agaali mu ye. Obusungu bwa Mukama kyebwava bubuubuukira ku ye ne ku Yuda ne ku Yerusaalemi.
26 Hezekiah humbled himself for his proud heart, he and Jerusalem's people, so our Father's wrath didn't reach them in Hezekiah's days. Oluvannyuma, Keezeekiya ne yeenenya amalala agaali mu ye, ku lulwe ne ku lw’abantu ab’omu Yerusaalemi, ekiruyi kya Mukama ne butababuubuukirako mu mirembe gya Keezeekiya.
27 Hezekiah had great wealth and honor. He built storerooms for silver, gold, gems, spices, shields, and other valuables, Keezeekiya yalina eby’obugagga bingi nnyo n’ekitiibwa, ne yeezimbira n’amawanika ag’okukuumirangamu effeeza, ne zaabu, n’amayinja ag’omuwendo omungi, n’ebyakaloosa, n’engabo, n’ebintu eby’engeri zonna eby’omuwendo.
28 storerooms for the harvest of grain, new wine, and oil; stalls for all kinds of livestock; pens for flocks. N’azimba n’amaterekero ag’eŋŋaano, ne wayini, n’amafuta; n’azimba n’ebiraalo eby’ebika by’ente byonna, n’ebifo eby’ebisibo by’endiga.
29 He built cities for himself and gained huge flocks and herds, for our Father gave him very great wealth. Ne yeezimbira ebibuga, ne yeefunira n’ebisibo n’amagana mangi, kubanga Katonda yali amuwadde eby’obugagga bingi nnyo nnyini.
30 Hezekiah stopped Gihon's upper outlet and directed the water down the west side of David's city. He succeeded in all he did. Keezeekiya, ye yaziba oluzzi olwa waggulu olwa Gikoni, amazzi n’agaserengesa ku luuyi olw’ebugwanjuba olw’ekibuga kya Dawudi. N’alaba omukisa mu buli kye yakolanga.
31 When Babylon's rulers sent envoys to him asking about the land's sign, our Father left him to himself, to test him and to know all in his heart. Naye mu bigambo eby’ababaka abaatumibwa abakungu b’e Babulooni okumubuuza ku byamagero ebyakolebwa mu nsi ye, Katonda n’amugeza alyoke ategeere byonna ebyali mu mutima gwe.
32 Hezekiah's remaining acts and faithful deeds are written in the vision of Isaiah the prophet, son of Amoz, in the Book of the Kings of Judah and Israel. Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Keezeekiya, n’ebikolwa bye ebirungi eby’obunyiikivu, byawandiikibwa mu kwolesebwa kwa Isaaya nnabbi mutabani wa Amozi, mu kitabo kya bassekabaka ba Yuda ne Isirayiri.
33 Hezekiah slept with his ancestors, buried in the upper tombs of David's sons. All Judah and Jerusalem's residents honored him at death. His son Manasseh succeeded him. Keezeekiya ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, n’aziikibwa mu masiro g’abazzukulu ba Dawudi, era Yuda yonna, n’abatuuze bonna aba Yerusaalemi ne bamukungubagira ne bamuwa ekitiibwa ne mu kufa kwe. Manase mutabani we n’amusikira.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]