Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

2 Chronicles 31 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 When this ended, all Israel present went out to the towns of Judah, smashed the sacred pillars, cut down the Asherah poles, and tore down the high places and altars throughout Judah, Benjamin, Ephraim, and Manasseh, destroying them completely. Then all Israel returned to their towns, each to his own property. Ebyo byonna bwe byaggwa, Abayisirayiri bonna abaaliyo ne bagenda mu bibuga bya Yuda, ne baasaayasa amayinja agaasinzibwanga, ne bamenyaamenya n’empagi za Baasera. Ne basaanyizaawo ddala ebifo ebigulumivu n’ebyoto ebyali mu Yuda, ne mu Benyamini, ne mu Efulayimu ne mu Manase. Awo Abayisirayiri bwe baamala okubisaanyaawo byonna, ne baddayo mu bibuga byabwe, ku butaka bwabwe.
2 Hezekiah assigned the priests and Levites to their divisions, each by his service, priests and Levites alike, for burnt offerings and peace offerings, to serve, give thanks, and praise in the gates of our Father's camps. Keezeekiya n’addira bakabona n’Abaleevi n’abassa mu bibinja, buli omu ng’obuweereza bwe bwali, oba kabona oba muleevi, okuwangayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe okuweerezanga, n’okwebazanga, n’okutenderezanga ku nzigi eza yeekaalu ya Mukama.
3 The king gave from his own wealth for the burnt offerings—morning and evening burnt offerings, and those for Sabbaths, new moons, and appointed feasts—as written in our Father's law. Kabaka n’awaayo ku byobugagga bwe ebiweebwayo ebyokebwa eby’enkya n’eby’akawungeezi, n’ebiweebwayo ebyokebwa ebya ssabbiiti, n’eby’emyezi egyakaboneka, n’assaawo n’embaga ezaalagirwa nga bwe kyawandiikibwa mu tteeka lya Mukama.
4 He told Jerusalem's residents to give the priests' and Levites' portion, so they could devote themselves to our Father's law. N’alagira abantu abaabeeranga mu Yerusaalemi okuwangayo omugabo nga bwe kyali kibagwanira eri bakabona n’Abaleevi, nabo beeweerengayo ddala nga bwe kyalagirwa mu tteeka lya Mukama.
5 As soon as the order spread, Israelites abundantly gave firstfruits of grain, new wine, oil, honey, and all the field's produce, and brought in the tenth of everything abundantly. Awo ekiragiro ekyo bwe kyabuna wonna, amangwago Abayisirayiri ne bawaayo ku bibala byabwe ebibereberye bingi eby’eŋŋaano, n’ebya wayini omusu, n’eby’amafuta, n’eby’omubisi gw’enjuki ne ku ebyo byonna ebyava mu nnimiro. Ne baleeta bingi nnyo, ekitundu eky’ekkumi ku buli kintu.
6 The Israelites and Judahites living in Judah's towns also brought the tenth of cattle and sheep, and the tenth of what was dedicated to our Father, piling them in heaps. Abantu ba Isirayiri ne Yuda abaabeeranga mu bibuga bya Yuda, nabo ne baleeta ekimu eky’ekkumi ku nte n’endiga, n’ekimu eky’ekkumi eky’ebintu ebyatukuzibwa ebyayawulirwa Mukama Katonda waabwe, ne babituuma entuumo.
7 They began piling the heaps in the third month, finishing in the seventh. Baatandika okutuuma ebintu ebyo entuumo mu mwezi ogwokusatu ne bamaliriza mu mwezi ogw’omusanvu.
8 Hezekiah and the officials came, saw the heaps, and blessed our Father and his people Israel. Awo Keezeekiya n’abakungu be, bwe bajja ne balaba entuumo ne beebaza Mukama, ne basabira n’abantu be, Isirayiri, omukisa.
9 Hezekiah asked the priests and Levites about the heaps. Keezeekiya n’abuuza bakabona n’Abaleevi ebikwata ku ntuumu.
10 Azariah the chief priest, of Zadok's house, answered him, "Since people began bringing contributions into our Father's house, we've eaten well with plenty remaining, for our Father blessed his people, leaving this large surplus." Azaliya kabona asinga obukulu ow’omu nnyumba ya Zadooki n’amuddamu nti, “Okuva abantu lwe baatandika okuleeta ebirabo byabwe mu yeekaalu ya Mukama, tubadde n’ebyokulya ebiwera n’ebirala ne bifikkawo, kubanga Mukama awadde abantu be omukisa, n’ebifisseewo bye bino obungi.”
11 Then Hezekiah ordered them to prepare storerooms in the house of our Father, and they prepared them. Awo Keezeekiya n’alagira bateeketeeke amaterekero mu yeekaalu ya Mukama, ne bagateekateeka.
12 They faithfully brought in the contributions, the tenth, and dedicated gifts. Conaniah the Levite led them; Shimei his brother was second. Ne balyoka baleeta ebirabo, ebintu eby’ekimu eky’ekkumi, n’ebintu ebyatukuzibwa. Konaniya Omuleevi ye yavunaanyizibwanga ebintu ebyo, ate nga Simeeyi muganda we ye mumyuka we.
13 Jehiel, Azaziah, Nahath, Asahel, Jerimoth, Jozabad, Eliel, Ismachiah, Mahath, and Benaiah oversaw, under Conaniah and his brother Shimei, appointed by King Hezekiah and Azariah, chief officer of our Father's house. Yekyeri, ne Azaziya, ne Nakasi, ne Asakeri, ne Yerimosi, Yozabadi, ne Eryeri, ne Isumakiya, ne Makasi ne Benaya be baabayambangako. Konaniya ne Simeeyi muganda we, baalondebwa Kabaka Keezeekiya ne Azaliya omukungu omukulu eyavunaanyizibwanga yeekaalu ya Katonda.
14 Kore son of Imnah, the Levite gatekeeper toward the east, oversaw the voluntary offerings to our Father, distributing our Father's contributions and the most holy gifts. Kole mutabani wa Imuna Omuleevi, omuggazi w’omulyango ogw’ebuvanjuba, ye yavunaanyizibwanga ebyo bye baawangayo eri Katonda ku bwabwe awatali kuwalirizibwa, ng’agabanyamu ebyatonebwanga eri Mukama, n’ebirabo ebyayawulibwanga.
15 Under him, Eden, Miniamin, Jeshua, Shemaiah, Amariah, and Shecaniah served faithfully in the priestly towns, distributing to fellow priests by divisions, great and small alike, Edene, ne Miniyamini, ne Yesuwa, ne Semaaya, ne Amaliya ne Sekaniya, be baamuyambangako n’obwesigwa mu bibuga bya bakabona okugabiranga bakabona bannaabwe ng’ebibinja byabwe bwe byali, abakulu n’abato.
16 besides giving to those registered by genealogy, males three and up—all entering the house of our Father for daily duty—for their service by office and division. Ate era baagabiranga n’abalenzi ab’emyaka esatu n’okukirawo abaali babalibbwa ng’okuzaalibwa kwe mbala bwe kwalinga, abo bonna abayingiranga mu yeekaalu ya Mukama okutuukirizanga emirimu gyabwe nga bwe kyabagwaniranga, mu bibinja byabwe.
17 Priests were registered by clans; Levites twenty and up, by duty and division. Ne bagabiranga ne bakabona abaabalibwa ng’enzaalwa mu kubala okw’okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, n’Abaleevi abaali ab’emyaka amakumi abiri n’okukirawo ne babagabira ng’eby’obuvunaanyizibwa bwabwe mu bibinja byabwe bwe byali.
18 They were registered with all their little ones, wives, sons, and daughters—the whole community—for they faithfully dedicated themselves in holiness. Omwo mwe mwali abaana abato, n’abakyala, ne batabani baabwe, ne bawala baabwe ng’ebitundu byabwe bwe byali biwandiikiddwa mu byafaayo eby’okuzaalibwa. Ne babeera beesigwa mu kwekuuma nga batukuvu.
19 For Aaron's priestly descendants living in the pasture-fields around their towns, men were named in each and every town to give shares to every male priest and all Levites listed by genealogy. Bazzukulu ba Alooni, bakabona abaabeeranga ku ttaka okwalimibwanga, eryabanga ery’ebibuga byabwe, mu buli kibuga, buli musajja mu bo yaweebwa omugabo, n’abo bonna abaali bawandiikiddwa mu byafaayo eby’okuzaalibwa kw’Abaleevi, nabo ne bagabana.
20 Hezekiah did this throughout all Judah. He did what was good, right, and faithful before our Father. Bw’atyo Keezeekiya bwe yakola ne mu Yuda yonna, n’akola ebirungi era ebituufu n’obwesigwa mu maaso ga Mukama Katonda we.
21 In all he undertook—serving the house of our Father, keeping the law and command, seeking our Father—he gave his whole heart, and thrived. Buli mulimu gwe yatandika mu buweereza mu yeekaalu ya Katonda, ng’agoberera amateeka n’ebiragiro, yanoonyanga Katonda we, era n’akolanga n’omutima gwe gwonna, n’alaba omukisa.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]