Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Exodus 8 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Then our Father told Moses, "Go to Pharaoh and tell him, 'This is what our Father says: Let my people go, so they may serve me.'" Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Ggenda ewa Falaawo omugambe nti, ‘Mukama agambye bw’ati nti, “Leka abantu bange bagende, balyoke bansinze.
2 But if you refuse to let them go, I will plague your whole country with frogs. Naye bw’onoogaana n’otabakkiriza kugenda, laba, nnaasindika ebikere ne bijjula ensi yo yonna.
3 The Nile will swarm with frogs that come up and enter your house, bedroom, and bed, the houses of your servants and people, your ovens and kneading bowls. Omugga gulivaamu ebikere enkumu ennyo ebirituuka ne mu lubiri lwo. Biriyingira mu kisenge kyo mw’osula, ne ku kitanda kyo. Biriyingira mu nnyumba z’abaweereza bo ne mu z’abantu bo. Biriyingira ne mu byoto omufumbirwa.
4 The frogs will come up on you, on your people, and on all your servants."'" Ebikere birikuwalampa ne bikutambulirako ne ku bakungu bo bonna ne ku bantu bo.” ’ ”
5 And our Father said to Moses, "Tell Aaron: 'Stretch out your hand with your staff over the rivers, canals, and pools, and bring up the frogs over the land of Egypt.'" Mukama n’agamba Musa nti, “Tegeeza Alooni nti, ‘Golola omukono gwo oyolekeze omuggo gwo eri emigga, n’eri emikutu gy’amazzi, n’eri ebidiba, osobozese ebikere okubuna ensi yonna ey’e Misiri.’ ”
6 Aaron stretched his hand over the waters of Egypt, and frogs came up and covered the land of Egypt. Bw’atyo Alooni n’agolola omukono gwe ku mazzi gonna ag’omu Misiri; ebikere ne bivaayo ne bijjula ensi yonna ey’e Misiri.
7 But the magicians did the same with their secret arts, bringing frogs up over the land of Egypt. Abalogo nabo ne bakola bwe batyo mu magezi gaabwe ag’ekyama, nabo ne baleeta ebikere mu nsi ey’e Misiri.
8 Pharaoh summoned Moses and Aaron and said, "Plead with God to remove the frogs from me and my people, and I will let the people go to sacrifice to God." Awo Falaawo n’atumya Musa ne Alooni n’abagamba nti, “Mwegayirire Mukama anziggyeeko ebikere bino era ne ku bantu bange, ndyoke nange ndeke abantu bammwe bagende baweeyo ssaddaaka eri Mukama.”
9 Moses said to Pharaoh, "The honor is yours—set the time yourself: when should I pray for you, your servants, and your people, that the frogs be cut off from you and your houses, left only in the Nile?" Musa n’addamu Falaawo nti, “Weerondere ekiseera nga bw’osiima, w’oyagalira neegayirire Mukama ku lulwo ne ku lw’abaweereza bo, ne ku lw’abantu bo, ebikere ebikuliko n’ebiri mu nnyumba zo bizikirizibwe, bisigale mu mugga Kiyira mwokka.”
10 "Tomorrow," he said. Moses replied, "As you say, so you'll know no one is like our Father. Falaawo n’agamba nti, “Enkya.” Musa n’agamba nti, “Kijja kubeera nga bw’ogambye, olyoke otegeere nga bwe watali n’omu afaanana nga Mukama Katonda waffe.
11 The frogs will leave you, your houses, your servants, and your people, remaining only in the Nile." Ebikere bijja kukuviira, bive ne mu mayumba go, biviire n’abaweereza bo n’abantu bo; bijja kusigala mu mugga mwokka.”
12 Moses and Aaron left Pharaoh, and Moses cried out to our Father about the frogs our Father had brought on Pharaoh. Awo Musa ne Alooni ne bava ewa Falaawo. Musa ne yeegayirira Mukama olw’ebikere Mukama bye yali aleetedde Falaawo.
13 And our Father did as Moses asked. The frogs died in the houses, the courtyards, and the fields. Mukama n’akolera Musa kye yamusaba. Ebikere ne bifiira mu mayumba, ne mu mpya mu byalo, ne mu nnimiro.
14 They piled them in heaps upon heaps, and the land stank. Ne bikuŋŋaanyizibwa entuumo n’entuumo; ensi n’ejjula ekivundu.
15 But when Pharaoh saw there was relief, he hardened his heart and would not listen to them, as our Father had said. Naye Falaawo bwe yalaba nga waliwo wassiza ku mukka, n’akakanyaza omutima gwe, ebya Musa ne Alooni n’alekera awo okubiwuliriza, era nga Mukama bwe yali agambye.
16 Then our Father told Moses, "Tell Aaron: Stretch out your staff and strike the dust of the ground, and it will become gnats throughout all the land of Egypt." Awo Mukama n’ayogera ne Musa nti, “Gamba Alooni bw’oti nti, ‘Golola omuggo gwo, okube ku nfuufu eri ku ttaka, eryoke efuuke ensekere mu nsi yonna ey’e Misiri.’ ”
17 They did so. Aaron stretched out his hand with his staff and struck the ground's dust, and gnats came on people and animals. All the ground's dust became gnats throughout the whole land of Egypt. Ne bakola nga Mukama bw’abagambye; Alooni n’agolola omukono gwe ogwali gukute omuggo, n’akuba ku nfuufu ku ttaka, ne muvaamu ensekere ne zitambulira ku bantu ne ku nsolo; enfuufu yonna mu nsi y’e Misiri n’efuuka nsekere.
18 The magicians tried their secret arts to make gnats, but failed. Gnats covered people and animals. Abalogo nabo ne bagezaako mu magezi gaabwe ag’ekyama okufuusa ensekere, naye ne balemwa. Ensekere ne ziteevuunya ku bantu ne ku nsolo.
19 The magicians told Pharaoh, "This is the finger of God." But Pharaoh's heart stayed hard; he wouldn't listen to them, as our Father had said. Abalogo ne bagamba Falaawo nti, “Engalo ya Katonda bino y’ebikoze.” Naye omutima gwa Falaawo ne gukakanyala, n’atabawuliriza, nga Mukama bwe yali agambye.
20 Then our Father said to Moses, "Get up early in the morning and stand before Pharaoh as he goes out to the water. Tell him, 'This is what our Father says: Let my people go, so they may serve me. Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Keera mu makya nnyo, ogende osisinkane Falaawo ng’aserengeta ku mazzi omugambe nti, ‘Mukama agambye bw’ati nti, Leka abantu bange bagende, bansinze.
21 "If you won't let my people go, I'll send flies swarming on you, your servants, your people, and your houses. Egyptian houses will be full of flies, and even the ground they stand on. Naye abantu bange bw’otoobakkirize kugenda, laba, ndireeta ebikuukuulu by’ensowera, ku ggwe ne ku baweereza bo, ne ku bantu bo, ne mu nnyumba zammwe. Ensowera zirijjula mu mayumba ga Bamisiri ne ku ttaka kwe gaazimbibwa.
22 On that day I will set apart the land of Goshen, where my people live, so no flies swarm there, so you will know I, your Father, am in the land's midst. “ ‘Naye ku lunaku olwo, ekitundu Goseni abantu bange gye babeera ndikiyisa mu ngeri ya njawulo; kubanga yo teribaayo bikuukuulu bya nsowera n’akatono, olyoke otegeere nga nze, Mukama, ndi wano wakati mu nsi.
23 I will make a distinction between my people and your people. Tomorrow this sign will happen.'" Nzija kussaawo enjawulo wakati w’abantu bange n’abantu bo. Ekyamagero kino kijja kubaawo enkeera.’ ”
24 So our Father did. Thick swarms of flies filled Pharaoh's house and his servants' houses; throughout all the land of Egypt, the land was ruined by the swarms. Mukama n’akola bw’atyo. Ebikuukuulu by’ensowera ne byeyiwa mu lubiri lwa Falaawo, mu nnyumba ye, ne mu mayumba g’abaweereza be, ne mu nsi yonna ey’e Misiri: ensi n’eyonooneka olw’ebikuukuulu by’ensowera.
25 Pharaoh summoned Moses and Aaron and said, "Go, sacrifice to your God in the land." Awo Falaawo n’atumira Musa ne Alooni, n’abagamba nti, “Kale, muweereeyo wano mu nsi eno ssaddaaka eri Katonda wammwe.”
26 But Moses said, "That wouldn't be right—what we sacrifice to our Father is detestable to the Egyptians. If we sacrifice what is detestable to them before their eyes, will they not stone us? Naye Musa n’addamu nti, “Ekyo bwe tukikola, tekijja kuba kituufu. Kubanga ssaddaaka ze tuwaayo eri Mukama Katonda waffe, Abamisiri tebajja kuzaagala. Kale singa tuddira ssaddaaka Abamisiri ze bakyawa ennyo bwe batyo, ne tuziwaayo nga balaba, tebajja kutukuba amayinja?
27 We must go a three days' journey into the wilderness and sacrifice to our Father, as he commands us." Kitugwanira tutambule olugendo lwa nnaku ssatu mu ddungu, tuweeyo ssaddaaka eri Mukama Katonda waffe nga bw’anaatulagira.”
28 Pharaoh said, "I will let you go and sacrifice to the LORD your God in the wilderness—only don't go too far away. Plead for me." Falaawo n’agamba nti, “Nzija kubaleka mugende muweeyo ssaddaaka eri Mukama Katonda wammwe mu ddungu, kyokka temugenda ewala ennyo. Kale munsabire.”
29 Then Moses said, "As soon as I leave you, I will plead with our Father, and tomorrow the swarms of flies will leave Pharaoh, his servants, and his people. Only let Pharaoh not deceive again by refusing to let the people go and sacrifice to our Father." Musa n’addamu nti, “Bwe nnaaba nakava wano w’oli nzija kusaba Mukama, enkya ensowera ziviire Falaawo n’abakungu be awamu n’abantu be. Naye kirungi Falaawo aleme nate kulimbalimba, n’atakkiriza bantu kugenda kuwaayo ssaddaaka eri Mukama.”
30 So Moses went out from Pharaoh and pleaded with our Father. Musa n’avaayo ewa Falaawo, n’asaba Mukama.
31 As Moses asked, our Father removed the swarms of flies from Pharaoh, his servants, and his people—not one remained. Mukama n’akola nga Musa bwe yamusaba, n’aggyawo ebikuukuulu by’ensowera ewa Falaawo ne mu baweereza be, ne mu bantu be; ne watasigala nsowera n’emu.
32 But Pharaoh hardened his heart this time also, and he would not let the people go. Kyokka ne ku mulundi guno, Falaawo yakakanyaza omutima gwe, abantu n’atabakkiriza kugenda.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]