Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Exodus 7 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Our Father told Moses, "See, I have made you as God to Pharaoh, and Aaron your brother will be your prophet. Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Laba, nkufudde nga Katonda awali Falaawo, ne muganda wo Alooni y’ajja okubeera nnabbi wo.
2 You will speak all I command you; Aaron your brother will tell Pharaoh to send the Israelites out of his land. Ojjanga kwogera bye nkulagira, ne muganda wo Alooni ayogere ne Falaawo asobole okuleka abaana ba Isirayiri bave mu nsi ye.
3 But I will harden Pharaoh's heart and multiply my signs and wonders in the land of Egypt. Naye ndikakanyaza omutima gwa Falaawo; ne bwe ndikolera ebyamagero ebingi ennyo mu nsi y’e Misiri,
4 Pharaoh won't listen to you, so I'll set my hand against Egypt and bring my armies—my people, Israel's descendants—out of the land of Egypt through great judgments. tagenda kubawuliriza. Ndirumba Misiri n’amaanyi, ne ngisalira omusango, ne ndyoka nzigyayo abantu bange Abayisirayiri bonna.
5 The Egyptians will know I am the Father when I reach out my hand against Egypt and bring Israel's people out from among them." Era Abamisiri balitegeera nti Nze Mukama, bwe ndirumba Misiri n’amaanyi ne nzigyayo Abayisirayiri.”
6 Moses and Aaron did so; they did just as our Father had commanded them. Awo Musa ne Alooni ne bakola nga Mukama bwe yabalagira.
7 Now Moses was eighty years old and Aaron eighty-three years old when they spoke to Pharaoh. We baayogerera ne Falaawo, Musa yali aweza emyaka kinaana egy’obukulu, ne Alooni ng’aweza emyaka kinaana mu esatu.
8 Then our Father said to Moses and Aaron, Mukama n’agamba Musa ne Alooni nti,
9 when Pharaoh tells you, "Prove yourselves with a wonder," say to Aaron, "Take your staff, throw it down before Pharaoh, and it will become a serpent." “Falaawo bw’anaabagamba nti, ‘Mukoleeyo ekyamagero,’ nga ggwe ogamba Alooni nti, ‘Ddira omuggo gwo ogusuule wansi awali Falaawo,’ era gunaafuuka omusota.”
10 Moses and Aaron went to Pharaoh and did as our Father commanded. Aaron threw his staff before Pharaoh and his servants, and it became a snake. Awo Musa ne Alooni ne bagenda ewa Falaawo, ne bakola nga Mukama bwe yabalagira. Alooni n’asuula omuggo gwe wansi awali Falaawo n’abaweereza be, ne gufuuka omusota.
11 So Pharaoh also summoned wise men and sorcerers, and Egypt's magicians did the same with their secret arts. Falaawo naye n’atumya basajja be abagezigezi, n’abalogo; abakujjukujju abo Abamisiri ne bakola ekintu kye kimu mu magezi gaabwe ag’ekyama.
12 Each one threw down his staff, and they became serpents. But Aaron's staff swallowed up their staffs. Kubanga nabo baasuula wansi emiggo gyabwe, ne gifuuka emisota; naye omuggo gwa Alooni ne gumira emiggo gyabwe.
13 Pharaoh's heart hardened; he wouldn't listen to them, as our Father had said. Naye era omutima gwa Falaawo ne gukakanyala, nga Mukama bwe yali agambye.
14 Then our Father said to Moses, "Pharaoh's heart is unyielding; he refuses to let the people go. Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Omutima gwa Falaawo gukakanyadde, era agaanye okuleka abantu okugenda.
15 Go to Pharaoh in the morning as he goes out to the water. Stand on Nile's bank to meet him, and take in your hand the staff that turned into a snake. Mu makya genda eri Falaawo ng’afuluma okulaga ku mazzi, omulindirire ku lubalama lw’omugga Kiyira. Era twala n’omuggo ogwafuuka omusota.
16 Say to him: our Father of the Hebrews sent me to you, saying, "Let my people go to serve me in the wilderness." Yet until now you have not listened. Olyoke omugambe nti, ‘Mukama Katonda wa Abaebbulaniya yantuma gy’oli ng’agamba nti, Leka abantu bange bajje mu ddungu bansinze; naye, laba, n’okutuusa leero okyagaanyi okuŋŋondera.’
17 This is what our Father says: "By this you will know I am the Father: look, with the staff in my hand I will strike the Nile's water, and it will turn to blood. Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Ku kino kw’olitegeerera nga nze Mukama: laba ndikuba ku mazzi agali mu mugga, n’omuggo oguli mu mukono gwange, era galifuuka musaayi,
18 Fish in the Nile will die, the Nile will stink, and Egyptians won't be able to bear to drink water from the Nile."'" n’ebyennyanja ebiri mu mugga birifa, n’omugga guliwunya; era n’Abamisiri nga tebakyayagala kunywa ku mazzi gaagwo.’ ”
19 Our Father said to Moses, "Tell Aaron: Take your staff and stretch out your hand over Egypt's waters—over their rivers, canals, ponds, and all their reservoirs—and they will become blood. Blood will fill all Egypt, even in vessels of wood and stone." Mukama n’agamba Musa nti, “Tegeeza Alooni nti, ‘Twala omuggo gwo ogwolekeze amazzi gonna mu Misiri: ku migga gyabwe, n’emikutu gyabwe, n’obuyanja bwabwe, n’ebidiba byabwe, byonna bifuuke musaayi. Era wagenda kubeerawo omusaayi mu nsi yonna ey’e Misiri: mu ntiba ez’emiti ne mu matogero ag’amayinja.’ ”
20 Moses and Aaron did as our Father commanded: before Pharaoh and his servants, Aaron raised the staff and struck the Nile's water, and all its water turned to blood. Awo Musa ne Alooni ne bakola nga Mukama bwe yabalagira. Alooni n’addira omuggo gwe n’akuba ku mazzi ag’omu mugga, nga Falaawo n’abaweereza be balaba; amazzi gonna ag’omu mugga ne gafuuka omusaayi.
21 The fish in the Nile died, the Nile stank, and the Egyptians could not drink water from the Nile. Blood was in all the land of Egypt. Era n’ebyennyanja byonna mu mugga Kiyira ne bifa. Omugga ne guwunya, Abamisiri nga tebakyasobola kunywa mazzi ga mu mugga Kiyira; omusaayi ne gubuna wonna mu nsi y’e Misiri.
22 But Egypt's magicians did the same with their secret arts. So Pharaoh's heart stayed hard; he wouldn't listen to them, as our Father had said. Abalogo ab’omu Misiri nabo ne bakola bwe batyo mu magezi gaabwe ag’ekyama. Omutima gwa Falaawo ne gweyongera okukakanyala, ebya Musa ne Alooni n’atabiwuliriza era nga Mukama bwe yali agambye;
23 Pharaoh turned and went into his house, and he did not take even this to heart. n’akyuka ne yeddirayo mu lubiri lwe, nga byonna ebibaddewo tabissizzaako mwoyo.
24 All the Egyptians dug along the Nile for water to drink, since they couldn't drink the Nile's water. Abamisiri bonna ne basimaasima okumpi n’omugga nga banoonya amazzi ag’okunywa, kubanga amazzi g’omu mugga nga tegakyanyweka.
25 Seven full days passed after our Father struck the Nile. Awo ne wayitawo ennaku musanvu okuva ku lunaku Mukama lwe yakubirako omugga.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]