Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Exodus 6 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Then our Father told Moses, "Now you'll see what I'll do to Pharaoh: with a strong hand he'll send them out; with a strong hand drive them from his land." Awo Mukama n’addamu Musa nti, “Kaakano ojja kulaba kye nnaakola Falaawo. Kubanga alibaleka ne bagenda olw’amaanyi, era olw’amaanyi alibagoba mu nsi ye.”
2 Our Father spoke to Moses and said to him, "I am your Father. Katonda n’agamba Musa nti, “Nze Mukama.
3 I appeared to Abraham, Isaac, and Jacob as El Shaddai—our Father Almighty—but they didn't know me by my name, Father. Nalabikira Ibulayimu, ne Isaaka ne Yakobo nga Katonda Ayinzabyonna; kyokka saabategeeza linnya lyange nti Nze Mukama.
4 I also confirmed my covenant with them, to give them Canaan, land where they lived as foreigners. Era nabasuubiza mu ndagaano yange okubawa ensi ya Kanani, gye baabeerangamu ng’abagwira abatambuze.
5 I have also heard the groaning of the Israelites, whom the Egyptians enslave, and remembered my covenant. Kaakano mpulidde okusinda kw’abaana ba Isirayiri abatuntuzibwa Abamisiri mu buddu, ne nzijukira endagaano yange.
6 Tell Israel's sons: I am your Father. I will bring you out from under Egypt's burdens, rescue you from their slavery, and redeem you with an extended arm and great judgments. “Noolwekyo tegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Nze Mukama. Ndibatikkulako emigugu gy’Abamisiri, era ndibawonya obuddu, ne mbanunula n’omukono gwange ogw’amaanyi nga nsalira Abamisiri omusango.
7 I'll take you as my children, be your Father. You'll know I am your Father, freeing you from under Egypt's burdens. Ndibafuula abantu bange, era nnaabeeranga Katonda wammwe, era mulitegeera nga nze Mukama Katonda wammwe abawonyezza ebizibu by’Abamisiri.
8 I will bring you to the land I swore, hand raised, to give to Abraham, to Isaac, and to Jacob, and give it to you as a possession. I am your Father." Ndibaleeta mu nsi gye nalayira okuwa Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo; ndigibawa n’efuuka yammwe. Nze Mukama.’ ”
9 Moses told the Israelites this, but they wouldn't listen to Moses because of their broken spirit and their harsh slavery. Musa n’ategeeza abaana ba Isirayiri ebigambo ebyo. Naye tebaamuwuliriza, kubanga emitima gyali gibennyise, nga n’okutuntuzibwa kubayitiridde.
10 Then our Father said to Moses, Awo Mukama n’agamba Musa nti,
11 "Go, tell Pharaoh king of Egypt to let the Israelites go out of his land." “Genda otegeeze Falaawo kabaka w’e Misiri aleke abaana ba Isirayiri bave mu nsi ye.”
12 But Moses said in our Father's presence, "If the Israelites won't listen to me, why would Pharaoh? I speak poorly." Naye Musa n’addamu Mukama nti, “Laba, abaana ba Isirayiri bagaanyi okumpuliriza, kale Falaawo anampuliriza atya nze atayogera bulungi?”
13 Now our Father spoke to Moses and Aaron, ordering them regarding the Israelites and Pharaoh king of Egypt, to bring the Israelites out of Egypt. Naye Mukama n’ayogera ne Musa ne Alooni, n’abalagira bategeeze abaana ba Isirayiri ne Falaawo nti, Mukama abalagidde okuggya abaana ba Isirayiri mu nsi y’e Misiri.
14 Heads of their fathers' houses: Reuben's sons, Israel's firstborn—Hanoch, Pallu, Hezron, Carmi. These were Reuben's clans. Gano ge mannya aga bajjajjaabwe ab’omu bika byabwe: Batabani ba Lewubeeni, mutabani wa Isirayiri omubereberye, be bano: Kanoki ne Palu, Kezulooni ne Kalumi.
15 Simeon's sons: Jemuel, Jamin, Ohad, Jachin, Zohar, and Shaul son of a Canaanite woman—Simeon's clans. Batabani ba Simyoni: Yamweri ne Yamini, ne Okadi, Yakini ne Zokali, Sawuli (omwana w’omukyala Omukanani). Abo be b’omu mu bika bya Simyoni.
16 Sons of Levi by their generations: Gershon, Kohath, Merari. Levi lived 137 years. Gano ge mannya ga batabani ba Leevi ng’emirembe bwe giri: Gerusoni ne Kokasi ne Merali. Leevi yawangaala emyaka kikumi mu asatu mu musanvu.
17 The sons of Gershon: Libni and Shimei, by their clans. Batabani ba Gerusoni be bano mu bika byabwe: Libuni ne Simeeyi.
18 The sons of Kohath: Amram, Izhar, Hebron, and Uzziel. Kohath lived 133 years. Bano be batabani ba Kokasi: Amulaani ne Izukali, Kebbulooni ne Wuziyeeri. Kokasi yawangaala emyaka kikumi mu asatu mu esatu.
19 The sons of Merari: Mahli and Mushi. These were the clans of Levi according to their generations. Bano be batabani ba Merali: Makuli ne Musi. Abo be b’omu bika bya Leevi ng’emirembe gyabwe bwe gyali.
20 Amram married his father's sister Jochebed; she bore him Aaron and Moses. He lived 137 years. Amulaamu n’awasa senga we Yokebedi; n’amuzaalira: Alooni ne Musa. Amulaamu n’awangaala emyaka kikumi mu asatu mu musanvu.
21 The sons of Izhar: Korah, Nepheg, and Zichri. Bano be baana ba Izukali: Koola ne Nefega ne Zikiri.
22 The sons of Uzziel: Mishael, Elzaphan, and Sithri. Abaana ba Wuziyeeri be bano: Misayeri ne Erizafani ne Sisiri.
23 Aaron married Elisheba daughter of Amminadab, sister of Nahshon; she bore him Nadab, Abihu, Eleazar, and Ithamar. Alooni n’awasa Eriseba, muwala wa Aminadaabu era nga ye mwannyina wa Nakayisoni. Yamuzaalira abaana bano: Nadabu ne Abiku, Eriyazaali ne Isamaali.
24 The sons of Korah: Assir, Elkanah, and Abiasaph. These were the clans of the Korahites. Bano be baana ba Koola: Asira ne Erukaana, ne Abiyasaafu. Abo be b’omu kika kya Abakoola.
25 Eleazar, Aaron's son, married one of Putiel's daughters; she bore him Phinehas. These are heads of Levite houses, by clan. Eriyazaali, mutabani wa Alooni, yawasa omu ku bawala ba Putiyeeri, n’amuzaalira Finekaasi. Ago ge mannya g’abakulu b’ebika by’Abaleevi, n’ennyumba zaabwe mu bika ebyo.
26 This was Aaron and Moses whom our Father told, "Bring Israel out of Egypt by their divisions." Abo ye Alooni ne Musa Mukama be yalagira nti, “Muggyeeyo abaana ba Isirayiri bonna mu nsi y’e Misiri.”
27 These spoke to Pharaoh king of Egypt to bring the Israelites out of Egypt: Moses and Aaron. Be bo abaayogera ne Falaawo, kabaka w’e Misiri, ku by’okuggyayo abaana ba Isirayiri mu Misiri. Ye Musa oyo, ne Alooni oyo.
28 Now on the day our Father spoke to Moses in the land of Egypt, Ku lunaku olwo Mukama kwe yayogerera ne Musa mu nsi y’e Misiri,
29 our Father told him, "I am your Father. Tell Pharaoh king of Egypt all I tell you." Mukama yagamba Musa nti, “Nze Mukama. Tegeeza Falaawo, kabaka w’e Misiri, buli kimu kyonna kye nkugamba.”
30 But Moses said before our Father, "Since I speak poorly, how will Pharaoh listen to me?" Naye Musa n’addamu Mukama nti, “Nze atamanyi kwogera bulungi, Falaawo anampuliriza atya?”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]