Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Exodus 5 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Afterward Moses and Aaron went to Pharaoh and said, "This is what our Father of Israel says: Let my people go to hold a feast for me in the wilderness." Oluvannyuma lw’ebyo, Musa ne Alooni ne bajja eri Falaawo, ne bamugamba nti, “Tutumiddwa Mukama Katonda wa Isirayiri ng’akugamba nti, ‘Leka abantu bange bagende, bankolere embaga mu ddungu.’ ”
2 Pharaoh said, "Who is God, that I should obey his voice and let Israel go? I don't know God, and I won't let Israel go." Naye Falaawo n’abaddamu nti, “Mukama ye ani, mmugondere, nzikirize Abayisirayiri okugenda? Mukama ssimumanyi, era sijja kubakkiriza kugenda.”
3 They said, "Our Father has met with us. Let us take a three-day journey into the wilderness to sacrifice to our Father, or he may strike us with plague or sword." Ne bamugamba nti, “Katonda w’Abaebbulaniya yatulabikira. Tukusaba otuleke tugende olugendo lwa nnaku ssatu mu ddungu, tuweeyo ssaddaaka eri Mukama Katonda waffe; aleme kututta ne kawumpuli, oba n’ekitala.”
4 But Egypt's king said to them, "Moses and Aaron, why pull the people from their work? Get back to your labor!" Naye kabaka w’e Misiri n’abagamba nti, “Mmwe Musa ne Alooni, lwaki mwagala okuggya abantu ku mirimu gyabwe? Muddeeyo mangu ku mirimu gyammwe.”
5 Pharaoh said, "Look, the land's people are now many, and you'd have them stop working!" Falaawo n’ayongera n’agamba nti, “Kale, mulabe abantu nga bwe beeyongedde obungi mu ggwanga ate mmwe mubaziyiza kukola.”
6 That same day Pharaoh commanded the slave drivers and the foremen over the people: Ku lunaku olwo lwennyini Falaawo n’alagira abagabi b’emirimu ne bannampala b’abantu nti,
7 "Stop giving the people straw for bricks as before. They must go gather straw themselves. “Mulekeraawo okuwanga abantu essubi ery’okukozesa mu kubumba amatoffaali; mubaleke bagende beenoonyezenga essubi lyabwe.
8 Require the same brick quota as before; don't reduce it. They're lazy; that's why they cry, 'Let us go sacrifice to our God.' Naye mubalagire babumbenga obungi bw’amatoffaali bwe bumu nga ge babadde babumba; temukendeezanga ku muwendo ogwabasalirwa. Bagayaavu; era kyebava bankaabirira nti, ‘Tuleke tugende tuweeyo ssaddaaka eri Katonda waffe.’
9 Make the work harder for the men, so they keep at it and ignore lies." Abasajja mubongereko ku mirimu gye mubasalira, bakole nnyo, balyoke baleme na kufa ku ebyo bye babalimbalimba.”
10 The slave drivers and foremen went out and told the people, "Pharaoh says: 'I will give you no more straw.' Awo abakozesa ne bannampala ne bagenda ne bategeeza abantu nti, “Falaawo agambye bw’ati nti, ‘Sijja kwongera kubawanga ssubi.
11 Go get your own straw wherever you find it—but your work will not be reduced at all.'" Mugende mwenoonyeze essubi yonna gye musobola okuliraba; kyokka emirimu gyammwe tegijja kukendeezebwako n’akatono.’ ”
12 So the people scattered throughout all the land of Egypt to gather stubble for straw. Bwe batyo abantu ne basaasaanira Misiri yonna okukuŋŋaanya obukonge bw’essubi ly’eŋŋaano bakozese obwo mu kifo ky’essubi.
13 The slave drivers kept pressing them: "Finish your daily quota, just as when you had straw." Abakozesa ne babakuluusanyanga nga babalagira nti, “Emirimu gyammwe egibasalirwa buli lunaku, mugituukirize nga bwe mwakolanga ng’essubi likyabaweebwa.”
14 The Israelite foremen, whom Pharaoh's slave drivers had set over them, were beaten and asked, "Why haven't you met your brick quota yesterday and today, as before?" Bannampala Abayisirayiri, abaalondebwa abakozesa ba Falaawo, ne bakubibwanga nga bwe babuuzibwa nti, “Lwaki omuwendo gw’amatoffaali ogwa jjo n’ogwa leero ogwabasalirwa temugutuukirizza nga bwe mwakolanga edda?”
15 Then the Israelite foremen came and cried out to Pharaoh, "Why do you treat your servants this way? Awo bannampala Abayisirayiri ne bajja ne bajulira ewa Falaawo, ne bamugamba nti, “Ffe abaddu bo, lwaki otuyisizza bw’oti?
16 No straw is given your servants, yet they tell us, 'Make bricks!' Look, your servants are beaten, but your own people are at fault." Abaddu bo tetuweebwa ssubi, kyokka tulagirwa nti, ‘Mubumbe amatoffaali!’ Abaddu bo tukubibwa, so ng’omusango guli mu bantu bo.”
17 Pharaoh said, "Lazy! You're lazy! That's why you say, 'Let us go and sacrifice to God.' Falaawo n’abaddamu nti, “Muli bagayaavu bugayaavu kyokka. Kyemuva mundeeberera nti, ‘Tuleke tugende tuweeyo ssaddaaka eri Mukama.’
18 Now go, work. No straw will be given you, yet you must deliver your full quota of bricks." Kale, mugende mukole! Temujja kuweebwa ssubi, naye muteekwa okubumba omuwendo gw’amatoffaali omujjuvu nga bwe gwabasalirwa.”
19 The Israelite foremen saw they were in trouble when told, "Don't reduce your daily quota of bricks." Bannampala Abayisirayiri ne bategeera ng’akacwano kabatuukiridde, bwe baagambibwa nti, “Omuwendo gw’amatoffaali ogwabasalirwa okubumbanga buli lunaku tegujja kukendeezebwako.”
20 When they left Pharaoh, they found Moses and Aaron waiting to meet them, Bwe baava ewa Falaawo, baasanga Musa ne Alooni nga babalindiridde.
21 and said to them, "May our Father look on you and judge, for you have made us a stench to Pharaoh and his officials, putting a sword in their hand to kill us." Bannampala ne babagamba nti, “Mukama abatunuulire era asalewo; kubanga mutufudde ekyenyinyalwa ewa Falaawo n’abaweereza be, era mubakwasizza ekitala okututta.”
22 Then Moses returned to our Father and said, "My Sovereign Father, why have you brought trouble on this people? Why did you ever send me? Awo Musa n’akomawo awali Mukama, n’ayogera nti, “Ayi Mukama, abantu bano lwaki obaleetedde emitawaana? Eyo y’ensonga kyewava ontuma?
23 Since I went to Pharaoh to speak in your name, he has harmed this people, and you have not rescued your people at all." Kubanga kasookedde ŋŋenda ne njogera ne Falaawo mu linnya lyo, abantu bo abataddeko ebizibu bingi; era abantu bo tobawonyezza n’akatono.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]