Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Exodus 9 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Then our Father told Moses, "Go tell Pharaoh, 'This is what the Father of the Hebrews says: "Let my people go to worship me. Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Genda ewa Falaawo omugambe nti, Mukama Katonda wa Abaebbulaniya agambye nti, ‘Leka abantu bange bagende, bansinze.
2 For if you refuse to let them go and keep holding them, Singa ogaana okubakkiriza okugenda, n’oyongera okubakuumira wano,
3 the hand of our Father will be on your livestock in the field: horses, donkeys, camels, herds, and flocks—a very severe plague. Mukama ajja kusindika nsotoka omukambwe ennyo mu magana go agali mu malundiro, ne mu mbalaasi ne mu ndogoyi, ne mu ŋŋamira, ne mu zisseddume z’ente ne mu ndiga.
4 But our Father will distinguish Israel's livestock from Egypt's, so none of Israel's will die."'" Naye Mukama ajja kwawulamu amagana aga Isirayiri n’aga Misiri, waleme kubaawo nsolo n’emu efa mu magana ag’abaana ba Isirayiri.’ ”
5 And our Father set a time, saying, "Tomorrow I will do this in the land." Mukama n’alonda ekiseera, n’agamba nti, “Enkya Mukama w’anaakolera ekintu kino mu nsi eno.”
6 The next day our Father did this: all Egypt's livestock died, but Israel's livestock—not one died. Era enkeera Mukama n’akola ekikolwa ekyo: amagana aga Misiri gonna ne gafa, naye ne wataba nsolo n’emu ku magana ag’abaana ba Isirayiri eyafa.
7 Pharaoh sent to check: not one of Israel's animals had died. Yet Pharaoh's heart stayed hard, and he refused to let the people go. Falaawo n’atuma abantu okwetegereza, ne basanga nga tewali wadde ensolo n’emu ey’abaana ba Isirayiri eyali efudde. Naye era omutima gwa Falaawo ne gusigala nga gukyakakanyadde, Abayisirayiri n’atabakkiriza kugenda.
8 Then our Father told Moses and Aaron, "Take handfuls of soot from a kiln, and let Moses scatter it skyward before Pharaoh. Awo Mukama n’agamba Musa ne Alooni nti, “Muyoole mu kyokero embatu z’omunyale, Musa agumanse waggulu mu bbanga nga ne Falaawo alaba.
9 It will become fine dust over all Egypt, breaking into festering boils on people and animals throughout Egypt." Gujja kufuuka nfuufu mu nsi yonna ey’e Misiri, guleete amayute ku bantu ne ku nsolo aganaatulikamu amabwa mu nsi yonna ey’e Misiri.”
10 They took kiln soot and stood before Pharaoh. Moses threw it skyward, and boils broke out, festering on people and animals. Bwe batyo ne bayoola omunyale mu kyokero, ne bagenda bayimirira mu maaso ga Falaawo. Musa n’amansa evvu waggulu mu bbanga, ne lifuuka amayute, ne gatulikamu amabwa ku bantu ne ku nsolo.
11 The magicians could not stand before Moses, for boils were on them and all Egyptians. Abalogo ne batasobola kuyimirira mu maaso ga Musa olw’amayute; kubanga amayute gaakwata abalogo n’Abamisiri bonna.
12 But our Father hardened Pharaoh's heart; he wouldn't listen to them, as our Father had told Moses. Naye Mukama n’akakanyaza omutima gwa Falaawo, n’atawuliriza Musa ne Alooni, era nga Mukama bwe yagamba Musa.
13 Then our Father told Moses, "Get up early in the morning, stand before Pharaoh, and say to him: 'This is what the Father of the Hebrews says: "Let my people go to worship me. Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Ozuukuka mu makya nnyo, n’ogenda oyolekera Falaawo, n’omugamba nti, Mukama Katonda wa Abaebbulaniya agamba bw’ati nti, ‘Leka abantu bange bagende, bampeereze.
14 This time I am sending all my plagues against you, your officials, and your people, so you know there is no one like me in all the earth. Kubanga ku mulundi guno nzija kukusindikira kawumpuli ku ggwe kennyini, ne ku baweereza bo, ne ku bakungu bo, olyoke otegeere nga tewali ali nga nze mu nsi yonna.
15 By now I could have raised my hand and struck you and your people with a plague, erasing you from the earth. Kubanga nandiyinzizza okugolola omukono gwange ne nkusindikira olumbe, ggwe n’abantu bo, ne lubamalawo ku nsi.
16 But I raised you up to show you my power and proclaim my name throughout all the earth. Naye olw’ensonga eno kyennava nkuleka n’obeera mulamu, ndyoke njolese amaanyi gange, era n’erinnya lyange liryoke litegeezebwe mu nsi yonna.
17 You are still setting yourself against my people and refusing to let them go. Kyokka okyekulumbaliza ku bantu bange n’otobakkiriza kugenda,
18 Tomorrow at this time I will rain down hail so severe none like it has hit Egypt from its founding until now. noolwekyo, enkya obudde nga bwe buti, nzija kusindika kibuyaga ow’omuzira ogw’amayinja ogutagwangako mu Misiri kasookedde ensi eyo ebaawo.
19 Now send: get your livestock and all you have in the field to safety, for the hail will fall on every person and animal left in the field, not brought inside, and they will die."'" Kale, lagira bayingize amagana go ag’ente, n’ebisolo byonna ebiri mu ddundiro, kubanga omuzira gujja kukuba buli muntu ali ebweru era ajja kufa; ne buli nsolo yonna eneebeera ebweru mu ddundiro gujja kugikuba efe.’ ”
20 Those among Pharaoh's officials who feared the word of our Father hurried their servants and livestock indoors, Abakungu ba Falaawo abaali batya ekigambo kya Mukama, ne banguwa ne bayingiza abaddu baabwe n’amagana gaabwe.
21 but whoever ignored the word of our Father left his servants and livestock in the field. Naye abo abatassaayo mwoyo ku kigambo kya Mukama ne baleka abaddu baabwe n’amagana gaabwe ebweru.
22 Then our Father said to Moses, "Stretch your hand toward the sky, and hail will fall on all Egypt—on people, animals, and every plant in the field, throughout Egypt." Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Golola omukono gwo eri eggulu, omuzira gugwe ku nsi yonna ey’e Misiri: gukube abantu, n’ensolo, ne buli kimera kyonna ekiri mu nnimiro mu Misiri.”
23 Moses stretched his staff toward the sky, and our Father sent thunder and hail, and fire ran to the ground. Our Father rained hail on the land of Egypt. Musa n’ayolekeza omuggo gwe eri eggulu; Mukama n’asindika okubwatuka n’omuzira; laddu ne yakira ku ttaka. Bw’atyo Mukama n’atonnyesa omuzira ku nsi y’e Misiri.
24 There was hail, and fire flashing continually within the hail, so heavy that nothing like it had occurred in all the land of Egypt since it became a nation. Omuzira ne gugwa, n’okumyansa ne kwetabika n’omuzira awatali kusalako, ne guba mungi nnyo, nga tegugwangako bwe gutyo kasookedde ensi ya Misiri efuuka ggwanga.
25 Throughout Egypt hail struck everything in the field, both people and animals; it struck every plant of the field and shattered every tree of the field. Omuzira gwakuba buli kintu kyonna ekyali ebweru mu nnimiro mu nsi yonna ey’e Misiri: abantu n’ensolo; era omuzira ne gukuba buli kimera kyonna mu nnimiro, ne gusensebula emiti gyonna ku ttale.
26 Only in the land of Goshen, where the people of Israel lived, was there no hail. Ekitundu kyokka ekitaatuukwamu muzira, kye kya Goseni, abaana ba Isirayiri gye baabeeranga.
27 Pharaoh sent for Moses and Aaron and said, "This time I've sinned. God is right; I and my people are wrong. Awo Falaawo n’atumya Musa ne Alooni, n’abagamba nti, “Leero luno nnyonoonye; Mukama ye mutuufu, naye nze n’abantu bange ffe bakyamu.
28 Plead with your Father—there's been enough of God's thunder and hail. I will let you go; stay no longer." Weegayirire Mukama; kubanga omuzira n’okubwatuka bitwetamizza. Nzija kubaleka mugende; siraba kyemuva mweyongera kubeera wano.”
29 Moses told him, "Once I leave the city, I'll spread my hands to our Father. The thunder will stop and hail will end, so you'll know the earth is our Father's. Musa n’addamu nti, “Olunaafuluma mu kibuga, nnaagolola emikono gyange waggulu eri Mukama ne mmusaba. Okubwatuka kunaasirika, n’omuzira gunaalekera awo okugwa; olyoke otegeere ng’ensi eno Mukama ye nannyini yo.
30 But as for you and your officials, I know that you still do not fear our Father." Kyokka mmanyi nga ggwe n’abakungu bo temunnatya Mukama Katonda.”
31 (Flax and barley were ruined, because barley had headed and flax was blooming. (Obugoogwa ne sayiri byakubwa ne bizikirizibwa, kubanga sayiri yali ayengera nga n’obugoogwa bumulisizza.
32 But the wheat and the emmer wheat were not ruined, because they ripen later.). Naye eŋŋaano n’omukyere, byo tebyayonoonebwa kubanga byali tebinnayengera.)
33 Moses left Pharaoh, went out of the city, and spread his hands to our Father. The thunder and hail stopped, and rain no longer poured on the land. Musa n’ava mu kibuga ewa Falaawo, n’awanika emikono gye eri Mukama ng’amusaba; okubwatuka n’omuzira ne bisirika, era n’enkuba n’ekya.
34 When Pharaoh saw the rain, hail, and thunder had stopped, he sinned again, hardening his heart—he and his officials. Naye Falaawo bwe yalaba enkuba, n’omuzira, n’okubwatuka nga birekeddaawo, ate ne yeeyongera okusobya; ye n’abakungu be ne bakakanyaza emitima gyabwe.
35 So Pharaoh's heart hardened; he refused to let Israel go, as our Father had said through Moses. Omutima gwa Falaawo bwe gutyo ne gukakanyala; n’ataleka baana ba Isirayiri kugenda, era nga Mukama bwe yayogerera mu Musa.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]