Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Exodus 2 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Now a man from the house of Levi went and married a daughter of Levi. Awo olwatuuka omusajja ow’omu kika kya Leevi, n’agenda n’awasa omukazi, nga naye Muleevi.
2 The woman conceived and bore a son; seeing he was healthy, she hid him three months. Omukazi oyo n’aba olubuto n’azaala omwana mulenzi; naye bwe yalaba nga mwana alabika obulungi ennyo, n’amukwekera emyezi esatu.
3 Unable to hide him longer, she got a papyrus basket, coated it with tar and pitch, put the child in, and set it among the reeds on the Nile's bank. Naye bwe yatuusa ekiseera nga takyasobola kumukweka, n’amufunira ekibaya eky’ebitoogo, n’akisiigako ebitosi ne koolaasi; omwana n’amuteeka omwo, n’akissa mu bitoogo ku lubalama lw’omugga Kiyira.
4 His sister stood at a distance to see what would happen to him. Mwannyina w’omwana n’ayimiriranga nga yeesuddeko akabanga, alabe ebinaamutuukangako.
5 Pharaoh's daughter went down to bathe at the Nile, her maids walking along the Nile. She saw the basket among the reeds, sent her maid to get it. Awo muwala wa Falaawo n’aserengeta ku mugga Kiyira okunaaba; abaweereza be abawala ne batambulira ku lubalama lw’omugga; muwala wa Falaawo n’alaba ekibaya mu bitoogo, n’atuma omu ku bawala okukikima, n’akireeta.
6 She opened it, saw the child—a baby boy, crying. Her heart went out to him, and she said, "This is one of the Hebrew children." Bwe yakisaanukulako, n’alabamu omwana. Omwana yali akaaba, n’amusaasira nnyo, n’agamba nti, “Ono y’omu ku baana abawere aba Baebbulaniya.”
7 His sister asked Pharaoh's daughter, "Should I call a Hebrew woman to nurse the child for you?" Awo mwannyina w’omwana n’asembera, n’agamba muwala wa Falaawo nti, “Ŋŋende nkuyitire omulezi w’abaana Omwebbulaniya ajje akumulerere?”
8 "Yes, go," Pharaoh's daughter answered. So the girl went and called the child's mother. Muwala wa Falaawo n’amuddamu nti, “Kale, genda.” Omuwala mwannyina w’omwana oyo bwe yagenda, yaleeta nnyina wa mwana!
9 Pharaoh's daughter told her, "Take this child and nurse him for me; I'll pay your wages." The woman took the child and nursed him. Muwala wa Falaawo n’agamba nnyina w’omwana nti, “Twala omwana ono omunderere, nnaakusasulanga.” Omukazi oyo n’atwala omwana n’amulera.
10 The boy grew; she brought him to Pharaoh's daughter, who adopted him, naming him Moses: "Because I drew him from the water." Omwana bwe yakula, n’amutwalira muwala wa Falaawo, n’afuuka omwana wa muwala wa Falaawo. N’amutuuma erinnya Musa, n’agamba nti, “Kubanga namuggya mu mazzi.”
11 In those days Moses grew up, went out to his people, saw their burdens, and saw an Egyptian striking a Hebrew, one of his relatives. Awo olwatuuka, Musa ng’amaze okukula, n’agendako mu bantu be Abaebbulaniya, n’alaba emirimu emikakanyavu gye baali bakozesebwa. N’alaba Omumisiri ng’akuba Omwebbulaniya, omuntu ow’omu baganda be.
12 He glanced around and, seeing no one, killed the Egyptian and hid him in the sand. Awo Musa n’amagamaga, bwe yalaba nga teri muntu mulala amulaba, n’akwata Omumisiri n’amutta, n’amukweka mu musenyu.
13 Next day he went out, saw two Hebrews fighting, and asked the offender, "Why hit your companion?" Bwe yaddayo enkeera, n’alaba abasajja babiri Abaebbulaniya nga balwana. N’abuuza oyo eyali asobezza nti, “Lwaki okuba Mwebbulaniya munno?”
14 He said, "Who made you ruler and judge over us? Are you thinking of killing me as you killed the Egyptian?" Moses was afraid and thought, "Indeed, the matter is known." Omusajja n’amuddamu nti, “Ani eyakulonda okuba omufuzi waffe era omulamuzi waffe? Oyagala kunzita nga bwe watta Omumisiri?” Musa n’atya, n’ayogera mu mutima gwe nti, “Ekintu kye nakola kirabika kyategeerebwa.”
15 Pharaoh heard and sought to kill Moses; he fled from Pharaoh, settled in the land of Midian, and sat by a well. Awo Falaawo bwe yakiwulira, n’agezaako okutta Musa. Naye Musa n’aviira Falaawo, n’addukira mu nsi ya Midiyaani; n’atuula awali oluzzi.
16 Midian's priest had seven daughters; they came to draw water and fill the troughs to water their father's flock. Waaliwo kabona mu Midiyaani eyalina abaana be abawala musanvu, ne bajja okusena amazzi bajjuze ebyesero banywese endiga za kitaabwe.
17 When the shepherds came and drove them away, Moses got up, rescued them, and watered their flock. Kyokka ne wabaawo abasumba ne bajja ne babagobawo; naye Musa n’asituka n’abalwanirira, n’anywesa endiga zaabwe.
18 When they returned to their father Reuel, he asked, "Why have you come back so early today?" Abawala bwe baddayo eka eri kitaabwe Leweri, n’ababuuza nti, “Nga mukomyewo mangu leero?”
19 They said, "An Egyptian saved us from the shepherds, even drew us water and watered the flock." Ne bamuddamu nti, “Omusajja Omumisiri atulwaniridde ng’abasumba batujoogereza; y’atusenedde n’amazzi n’anywesa ekisibo kyaffe.”
20 "Where is he?" he asked his daughters. "Why did you leave the man? Call him to eat." N’abuuza bawala be nti, “Ali ludda wa? Ye lwaki mumuleseeyo? Mumuyite ajje alye ku mmere.”
21 Moses agreed to stay with the man, who gave his daughter Zipporah to Moses in marriage. Musa n’akkiriza. N’abeerera ddala mu maka ga Leweri. Leweri n’awa Musa muwala we Zipola okuba mukyala we.
22 She bore a son; Moses named him Gershom, saying, "I have been a foreigner in a foreign land." Zipola n’amuzaalira omwana owoobulenzi. Musa n’amutuuma erinnya Gerusomu, ng’agamba nti, “Kubanga ndi mugwira mu nsi etali yange.”
23 Long after, Egypt's king died. Israel's sons groaned from slavery, cried out; their cry rose to our Father from slavery. Awo nga wayiseewo ebbanga ggwanvu, kabaka w’e Misiri n’afa. Abaana ba Isirayiri ne basindanga era ne bakaabanga olw’obuddu bwe baalimu, n’okukaaba kwabwe ne kutuuka eri Katonda.
24 Our Father heard their groaning, and he remembered his covenant with Abraham, with Isaac, and with Jacob. Katonda n’awulira okusinda kwabwe. Katonda n’ajjukira endagaano ye gye yalagaana ne Ibulayimu, ne Isaaka ne Yakobo.
25 Our Father looked on the Israelites, and he understood. Katonda n’atunuulira abaana ba Isirayiri, n’ategeera okubonaabona kwabwe.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]