Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Exodus 3 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Moses was shepherding the flock of his father-in-law Jethro, priest of Midian. He led the flock to the far side of the wilderness and came to Horeb, the mountain of our Father. Awo olwatuuka, Musa bwe yali ng’alunda ekisibo ky’endiga za mukoddomi we Yesero, kabona w’e Midiyaani, n’atwala ekisibo ku ludda olw’ebugwanjuba olw’eddungu; n’atuuka ku lusozi lwa Katonda oluyitibwa Kolebu.
2 There the messenger of our Father appeared to him in a fire flaming from within a bush. Moses looked: the bush was blazing but not consumed. Malayika wa Mukama n’amulabikira ng’asinziira mu muliro ogwaka, mu makkati g’ekisaka. Musa n’atunuulira ekisaka, n’alaba nga kyaka naye nga tekisiriira.
3 Moses said, "Let me go over and see this extraordinary sight—why the bush isn't burning up." Musa n’ayogera mu mwoyo gwe nti, “Leka nneetoolooleko neetegereze ekintu kino ekitali kya bulijjo, eky’ekitalo, ekireetedde ekisaka obutasiriira.”
4 When our Father saw he had turned aside to look, he called to him from within the bush, "Moses, Moses!" Moses said, "Here I am." Mukama bwe yalaba nga Musa agenze okwetegereza, Katonda n’amuyita ng’asinziira mu kisaka wakati nti, “Musa, Musa!” Musa n’ayitaba nti, “Nze nzuuno.”
5 He said, "Don't come closer. Take your sandals off your feet, for the ground you're standing on is holy." Katonda n’amugamba nti, “Teweeyongera kusembera. Ggyamu engatto zo, kubanga ekifo w’oyimiridde kitukuvu.”
6 He said, "I am your Father, the God of Abraham, of Isaac, and of Jacob." Moses hid his face, for he was afraid to look at our Father. Ne yeeyongera n’amugamba nti, “Nze Katonda wa kitaawo, era nze Katonda wa Ibulayimu, nze Katonda wa Isaaka, era nze Katonda wa Yakobo.” Musa bwe yawulira ebyo n’akweka amaaso ge, kubanga yatya okutunuulira Katonda.
7 Then our Father said, "I have truly seen my people's suffering in Egypt, heard their cry under their slave drivers, for I know their hardships. Awo Mukama Katonda n’ayogera nti, “Ndabidde ddala okubonaabona kw’abantu bange abali mu Misiri. Mpulidde ebiwoobe byabwe olw’abo ababatuntuza ng’abaddu; era ntegedde okubonaabona kwabwe.
8 So I've come down to rescue them from Egypt's grip and bring them up from that land to a good, spacious land—a land flowing with milk and honey—to the place of the Canaanites, Hittites, Amorites, Perizzites, Hivites, and Jebusites. Kyenvudde nzika, mbawonye effugabbi ery’Abamisiri, era mbaggye mu nsi eyo, mbaleete mu nsi ennungi era engazi, y’ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki; kaakano mwe muli Abakanani, n’Abakiiti, n’Abamoli, n’Abaperezi, n’Abakiivi n’Abayebusi.
9 Now the cry of Israel's people has reached me, and I've seen the oppression the Egyptians oppress them with. Kale mpulidde okukaaba kw’abaana ba Isirayiri, era ndabye ng’Abamisiri bwe bababonyaabonya.
10 Now go—I'm sending you to Pharaoh, to bring my people, Israel's sons, out of Egypt." Noolwekyo, jjangu nkutume ewa Falaawo, oggyeyo abantu bange abaana ba Isirayiri mu Misiri.”
11 Moses said to our Father, "Who am I to go to Pharaoh and bring the Israelites out of Egypt?" Naye Musa n’agamba Katonda nti, “Nange nze ani agenda ewa Falaawo nziggyeyo abaana ba Isirayiri mu Misiri?”
12 He said, "I will surely be with you. This is your sign that I have sent you: when you bring the people out of Egypt, you will worship your Father on this mountain." Katonda n’amuddamu nti, “Ddala, nnaabeeranga naawe. Era kino kye kikakasa nti nze nkutumye: Bw’olimala okuggya abantu abo mu Misiri, mulisinziza Katonda ku lusozi luno.”
13 Then Moses said to our Father, "If I go to Israel's people and tell them, 'The God of your fathers sent me to you,' and they ask me, 'What is his name?'—what do I tell them?" Awo Musa n’abuuza Katonda nti, “Bwe ndituuka mu baana ba Isirayiri ne mbategeeza nti, ‘Katonda wa bajjajjammwe antumye gye muli;’ nabo ne bambuuza nti, ‘Erinnya lye ye ani?’ Ndibaddamu ntya?”
14 Our Father told Moses, "I AM WHO I AM." Then he said, "Tell the Israelites: 'I AM has sent me to you.'" Katonda n’agamba Musa nti, “Ndi nga bwe Ndi,” n’ayongera nti, “Bw’otyo bw’onootegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Ndi y’antumye gye muli.’ ”
15 Our Father also told Moses, "Tell the Israelites: 'Your Father—the God of Abraham, Isaac, and Jacob—has sent me to you.' This is my name forever, and how I am remembered in every generation. Katonda n’ayongera n’agamba Musa nti, “Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Mukama, Katonda wa bajjajjammwe: Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Isaaka, era nga ye Katonda wa Yakobo, y’antumye gye muli.’ “Eryo lye linnya lyange ery’olubeerera, era lye linnya lye nnajjuukirirwangako mu buli mulembe ogunaddiriranga gunnaagwo.
16 Go, gather Israel's elders and tell them: your Father—the God of Abraham, Isaac, and Jacob—appeared to me and said: I have surely watched over you, and seen what is done to you in Egypt, “Genda okuŋŋaanye abakadde ba Isirayiri, obategeeze nti, ‘Mukama, Katonda wa bajjajjammwe, Katonda wa Ibulayimu, era owa Isaaka, era owa Yakobo, yandabikira, n’aŋŋamba nti, Ntunuulidde abantu bange, ne ndaba ebibakolebwa mu Misiri.
17 I have promised to bring you up out of Egypt's misery to the land of the Canaanites, the Hittites, the Amorites, the Perizzites, the Hivites, and the Jebusites—a land flowing with milk and honey. Kyenvudde nsuubiza okubaggya mu kubonaabona kwe balimu mu Misiri, mbaleete mu nsi y’Abakanani, n’Abakiiti, n’Abamoli, n’Abaperezi, n’Abakiivi, n’Abayebusi; y’ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki.’
18 They will listen to you. You and Israel's elders must go to Egypt's king and tell him, 'the Father of the Hebrews has met us. Now please let us travel three days into the wilderness to sacrifice to our Father.' “Abakadde ba Isirayiri bagenda kuwuliriza by’ogamba. Kale, ggwe n’abakadde ba Isirayiri muligenda eri kabaka wa Misiri ne mumugamba nti, ‘Mukama, Katonda w’Abaebbulaniya yeeraga gye tuli. Tukkirize tugende mu ddungu, olugendo lwa nnaku ssatu, tuweeyo ssaddaaka eri Mukama Katonda waffe.’
19 But I know Egypt's king won't let you go unless by a mighty hand. Naye mmanyi nga kabaka w’e Misiri talibakkiriza kugenda, wabula ng’awalirizibbwa n’amaanyi mangi.
20 I will reach out my hand and strike Egypt with all the wonders I do there; then he will release you. Kyendiva nkozesa amaanyi gange, ne mbonereza Misiri n’ebyamagero bye ndikolera mu nsi omwo; n’oluvannyuma alibakkiriza ne mugenda.
21 I will make the Egyptians favor this people, so when you leave, you won't go empty-handed. “Era Abamisiri ndibaagazisa abantu abo; bwe mutyo bwe muliba musitula, temulivaayo ngalo nsa.
22 Each woman must ask her neighbor and the woman living in her house for silver and gold items and clothing, and dress your sons and daughters with them. So you will plunder the Egyptians." Buli mukazi Omuyisirayiri alisaba omukazi Omumisiri muliraanwa we, n’oyo bwe basula mu nju emu, ebitemagana ebya ffeeza n’ebya zaabu, n’engoye ez’okwambala. Ebyo byonna mulibyambaza batabani bammwe ne bawala bammwe; Abamisiri ne muleka nga mubakalizza.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]