Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Exodus 1 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 These are the names of Israel's sons who came to Egypt with Jacob, each with his household: Gano ge mannya ga batabani ba Isirayiri, era ye Yakobo, abajja naye mu Misiri; buli omu n’ab’omu nnyumba ye:
2 Reuben, Simeon, Levi, and Judah, Lewubeeni, ne Simyoni, ne Leevi ne Yuda,
3 Issachar, Zebulun, and Benjamin, ne Isakaali, ne Zebbulooni, ne Benyamini,
4 Dan and Naphtali, Gad and Asher. ne Ddaani, ne Nafutaali, ne Gaadi, ne Aseri.
5 All who descended from Jacob were seventy people; Joseph was already in Egypt. Abaana bonna awamu Yakobo yennyini be yazaala baali bawera nsanvu; Yusufu ye, yali yabeera dda mu Misiri.
6 Then Joseph died, and all his brothers, and all that generation. Awo Yusufu n’afa; ne baganda be ne bonna ab’omulembe ogwo ne bafa.
7 But Israel's people were fruitful, swarmed, multiplied, and grew immensely strong, till the land was filled with them. Naye Abayisirayiri ne bazaala nnyo, ne baala, ne bayitirira obungi, era ne baba ba maanyi nnyo; ne bajjula ekitundu ekyo mwe baali.
8 Now a new king came to power in Egypt, who did not know Joseph. Awo ne waddawo kabaka omuggya mu Misiri ataamanya Yusufu.
9 He said to his people, "Look, the Israelites are more numerous and powerful than we are. N’agamba abantu be nti, “Abayisirayiri batuyitiriddeko obungi era ba maanyi.
10 Come, let's deal shrewdly with them, or they'll multiply, and if war comes, they'll join our enemies, fight us, and leave the land." Ka tubasalire amagezi baleme kweyongera bungi. Kubanga singa wagwawo olutalo ne beegatta n’abalabe baffe, ne batulwanyisa, balituddukako ne bava mu nsi eno.”
11 So they set taskmasters over them to crush them with forced labor, building Pharaoh's supply cities: Pithom and Rameses. Bwe batyo ne babateekako bannampala bababonyeebonye n’emirimu egy’obuwaze; ne bazimbira Falaawo ebibuga eby’amaterekero, Pisomu ne Lamusesi.
12 But the more the Egyptians oppressed them, the more the Israelites multiplied and spread out, until the Egyptians dreaded Israel's people. Naye gye baakoma okutuntuzibwa, ate gye baakoma okweyongera obungi, ne basaasaana wonna. Abamisiri ne bakyawa abaana ba Isirayiri ate nga bwe babatya.
13 So the Egyptians ruthlessly made the people of Israel work as slaves. Ne bongera okutuntuza abaana ba Isirayiri n’obukambwe.
14 They made their lives bitter with hard labor in mortar and brick and all kinds of field work. In all their harsh labor the Egyptians worked them ruthlessly. Obulamu bw’Abayisirayiri ne bubakaayirira nga bakozesebwa ng’abaddu; nga batabula ebbumba okukola amatoffaali; n’emirimu egya buli ngeri egikolebwa mu nnimiro. Mu mirimu egyo gyonna baabakozesanga n’amaanyi era n’obukambwe.
15 Then the king of Egypt said to the Hebrew midwives, one named Shiphrah and the other Puah, Awo kabaka w’e Misiri n’ayogera n’abazaalisa b’Abaebbulaniya, amannya gaabwe Sifira ne Puwa, n’abagamba nti,
16 "When you assist the Hebrew women in childbirth, watch at the birthstool: if it's a son, kill him; but if a daughter, let her live." “Bwe mubanga muzaalisa abakazi Abaebbulaniya, ne mulaba ng’omwana wabulenzi, mumuttanga bussi, naye bw’abanga owoobuwala, mumulekanga n’alama.”
17 But the midwives feared our Heavenly Father and did not do as Egypt's king commanded them; they let the boys live. Naye abazaalisa baali batya Katonda, nga bamussaamu ekitiibwa, ebyo kabaka w’e Misiri bye yabalagira ne batabikolerako, n’abaana abalenzi nabo ne babaleka ne balama.
18 So the king of Egypt called the midwives and said to them, "Why have you done this, letting the boys live?" Kabaka w’e Misiri n’ayita abazaalisa, n’ababuuza nti, “Kiki ekibakozesezza bwe mutyo, okuleka abaana abalenzi ne balama?”
19 The midwives told Pharaoh, "Hebrew women aren't like Egyptian women—they're vigorous, giving birth before the midwife arrives." Abazaalisa, ne baddamu Falaawo nti, “Abakazi Abaebbulaniya tebali ng’abakazi Abamisiri; bo balamu bulungi era ba maanyi; abazaalisa we bagendera okubatuukako nga bamaze okuzaala.”
20 So our Father was good to the midwives, and the people multiplied and grew very strong. Katonda, n’ayisanga bulungi abazaalisa n’abawa emikisa. Abaana ba Isirayiri ne beeyongera nnyo obungi era ne baba ba maanyi nnyo.
21 And because the midwives feared our Father, he gave them households of their own. Olwokubanga abazaalisa bassangamu Katonda ekitiibwa, nga bamutya, n’abawa ezzadde.
22 Then Pharaoh commanded all his people, "Throw every son born to the Hebrews into the Nile, but let every daughter live." Falaawo n’alyoka alagira abantu be bonna nti, “Buli mwana wabulenzi Abaebbulaniya gwe banaazaalanga mumusuulanga mu mugga Kiyira, naye owoobuwala mumulekanga.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]