Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Exodus 17 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 All Israel's community left the Wilderness of Sin, journeying stage by stage as our Father commanded, and camped at Rephidim—but there was no water for the people to drink. Awo ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri ne kisitula okuva mu ddungu lya Sini, ne batambula ng’ekiragiro kya Mukama bwe kyali. Ne bakuba eweema zaabwe mu Lefidimu, naye nga tewaliiwo mazzi bantu ge banaanywa.
2 The people argued with Moses: "Give us water to drink." Moses replied, "Why argue with me? Why test our Father?" Abantu ne bayombesa Musa nga bagamba nti, “Tuwe amazzi tunywe.” Musa n’abaddamu nti, “Lwaki munnyombesa? Lwaki mugezesa Mukama?”
3 The people were thirsty there for water and grumbled against Moses, saying, "Why did you bring us up from Egypt to kill us and our children and our livestock with thirst?" Naye abantu ennyonta y’amazzi n’ebaluma, ne beemulugunyiza Musa. Ne bagamba nti, “Lwaki watuggya mu Misiri, ennyonta okututtira wano, ffe n’abaana baffe n’ebisibo byaffe?”
4 Moses cried out to our Father, "What should I do with this people? They're about to stone me." Musa n’akaabira Mukama nti, “Abantu bano mbakole ntya? Baabano baagala kunkuba mayinja.”
5 Our Father said to Moses, "Go ahead of the people. Take some elders of Israel with you, and take in your hand the staff you struck the Nile with, then go. Mukama n’addamu Musa nti, “Abantu abo bakulembere, otwale ne ku bakulembeze ba Isirayiri; n’omuggo gwo gwe wakubisa ku mugga genda nagwo ng’ogukutte mu mukono gwo, mutambule.
6 I will stand there before you on the rock at Horeb. Strike the rock, and water will come out of it for the people to drink." Moses did so as Israel's elders watched. Nange nzija kukwesooka mu maaso nyimirire ku lwazi e Kolebu, onookuba olwazi ne muvaamu amazzi abantu banywe.” Musa n’akola bw’atyo nga n’abakulembeze ba Isirayiri balaba.
7 He named the place Massah and Meribah, because the people of Israel quarreled and tested our Father, asking, "Is our Father among us or not?" Ekifo ekyo n’akituuma erinnya Masa ne Meriba, olw’okuyomba kw’abaana ba Isirayiri, n’olw’okugezesa Mukama nga bagamba nti, “Mukama waali mu ffe oba taliiwo?”
8 Then Amalek came and fought against Israel at Rephidim. Awo Abamaleki ne bajja balwane ne Isirayiri mu Lefidimu.
9 Moses said to Joshua, "Choose men for us, and go out to fight Amalek. Tomorrow I will stand on the hilltop with our Father's staff in my hand." Musa n’agamba Yoswa nti, “Tuyunguliremu abasajja bagende balwanyise Abamaleki. Enkya nzija kuyimirira ku ntikko y’olusozi nga nkutte omuggo gwa Katonda mu mukono gwange.”
10 Joshua did as Moses said and fought Amalek; Moses, Aaron, and Hur went up to the hilltop. Yoswa n’akola nga Musa bwe yamulagira, n’alwana n’Abamaleki. Musa ne Alooni ne Kuli ne bambuka ku ntikko y’olusozi.
11 Now whenever Moses held up his hand, Israel prevailed; but whenever he lowered his hand, Amalek prevailed. Musa bwe yawanikanga emikono gye, Abayisirayiri nga bagoba, naye bwe yagissanga, nga Abamaleki bagoba.
12 Moses' hands grew heavy, so they set a stone under him and he sat on it, while Aaron and Hur supported his hands, one on each side, so they stayed steady until sunset. Emikono gya Musa ne gitandika okumufuuyirira. Alooni ne Kuli ne bamuleetera ejjinja, n’atuula okwo; ne bawanirira emikono gye, omu ng’ali ku ludda olumu, ne munne ku ludda olulala, emikono gye olwo ne ginywerera waggulu okutuusa enjuba lwe yagwa.
13 And Joshua overwhelmed Amalek and his people with the edge of the sword. Yoswa n’awangula Abamaleki ng’akozesa obwogi bw’ekitala.
14 Our Father told Moses, "Write this in a book as a reminder, and recite it aloud to Joshua: I will completely erase Amalek's memory from under heaven." Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Kino kiwandiike mu kitabo kiryoke kijjukirwenga ennaku zonna, era Yoswa asaana akimanye, kubanga Abamaleki ŋŋenda kubasangulirawo ddala ku nsi.”
15 Moses built an altar and named it "Our Father Is My Banner," Musa n’azimbawo ekyoto n’akituuma erinnya Mukama ye Bendera Yange.
16 and he said, "For a hand is on the throne of our Father: He will war against Amalek generation after generation." N’agamba nti, “Kubanga Abamaleki baalwanyisa entebe ya Mukama ey’obwakabaka, Mukama alayidde okubalwanyisa emirembe gyonna.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]