Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Exodus 17 OLCB

Side by side with the Father's Heart Bible™

Amazzi Agaava mu Lwazi

1Awo ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri ne kisitula okuva mu ddungu lya Sini, ne batambula ng’ekiragiro kya Mukama bwe kyali. Ne bakuba eweema zaabwe mu Lefidimu, naye nga tewaliiwo mazzi bantu ge banaanywa. 2Abantu ne bayombesa Musa nga bagamba nti, “Tuwe amazzi tunywe.” Musa n’abaddamu nti, “Lwaki munnyombesa? Lwaki mugezesa Mukama?”

3Naye abantu ennyonta y’amazzi n’ebaluma, ne beemulugunyiza Musa. Ne bagamba nti, “Lwaki watuggya mu Misiri, ennyonta okututtira wano, ffe n’abaana baffe n’ebisibo byaffe?”

4Musa n’akaabira Mukama nti, “Abantu bano mbakole ntya? Baabano baagala kunkuba mayinja.”

5Mukama n’addamu Musa nti, “Abantu abo bakulembere, otwale ne ku bakulembeze ba Isirayiri; n’omuggo gwo gwe wakubisa ku mugga genda nagwo ng’ogukutte mu mukono gwo, mutambule. 6Nange nzija kukwesooka mu maaso nyimirire ku lwazi e Kolebu, onookuba olwazi ne muvaamu amazzi abantu banywe.” Musa n’akola bw’atyo nga n’abakulembeze ba Isirayiri balaba. 7Ekifo ekyo n’akituuma erinnya Masa ne Meriba, olw’okuyomba kw’abaana ba Isirayiri, n’olw’okugezesa Mukama nga bagamba nti, “Mukama waali mu ffe oba taliiwo?”

Olutalo Abayisirayiri lwe Baasooka Okulwana

8Awo Abamaleki ne bajja balwane ne Isirayiri mu Lefidimu. 9Musa n’agamba Yoswa nti, “Tuyunguliremu abasajja bagende balwanyise Abamaleki. Enkya nzija kuyimirira ku ntikko y’olusozi nga nkutte omuggo gwa Katonda mu mukono gwange.”

10Yoswa n’akola nga Musa bwe yamulagira, n’alwana n’Abamaleki. Musa ne Alooni ne Kuli ne bambuka ku ntikko y’olusozi. 11Musa bwe yawanikanga emikono gye, Abayisirayiri nga bagoba, naye bwe yagissanga, nga Abamaleki bagoba. 12Emikono gya Musa ne gitandika okumufuuyirira. Alooni ne Kuli ne bamuleetera ejjinja, n’atuula okwo; ne bawanirira emikono gye, omu ng’ali ku ludda olumu, ne munne ku ludda olulala, emikono gye olwo ne ginywerera waggulu okutuusa enjuba lwe yagwa. 13Yoswa n’awangula Abamaleki ng’akozesa obwogi bw’ekitala.

14Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Kino kiwandiike mu kitabo kiryoke kijjukirwenga ennaku zonna, era Yoswa asaana akimanye, kubanga Abamaleki ŋŋenda kubasangulirawo ddala ku nsi.”

15Musa n’azimbawo ekyoto n’akituuma erinnya Mukama ye Bendera Yange. 16N’agamba nti, “Kubanga Abamaleki baalwanyisa entebe ya Mukama ey’obwakabaka, Mukama alayidde okubalwanyisa emirembe gyonna.”

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]