Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Exodus 16 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 The whole Israelite community set out from Elim and came to the wilderness of Sin, between Elim and Sinai, on the fifteenth day of the second month after leaving the land of Egypt. Awo abaana ba Isirayiri, nga kibiina kinene, ne basitula okuva mu Erimu; ne batuuka mu ddungu lya Sini, eriri wakati wa Erimu ne Sinaayi, nga baakamala emyezi ebiri n’ennaku kkumi na ttaano kasookedde bava mu nsi y’e Misiri.
2 And the whole congregation of the people of Israel grumbled against Moses and Aaron in the wilderness. Nga bali mu ddungu eryo, ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri ne kyemulugunyiza Musa ne Alooni.
3 The Israelites said to them, "If only we had died by our Father's hand in Egypt, sitting by pots of meat, eating bread to the full! For you brought us into this wilderness to kill this whole assembly with hunger." Abaana ba Isirayiri ne babagamba nti, “Singa twasigala mu nsi y’e Misiri, Mukama n’atuttira eyo n’omukono gwe! Kubanga eyo twalyanga sefuliya z’ennyama, n’emmere nnyingi nga bwe twayagalanga, ne tukkuta; naye kaakano mutuleese mu ddungu lino, ekibiina kino kyonna kife enjala.”
4 Then our Father said to Moses, "Look, I will rain bread from heaven for you. Each day the people must go out and gather that day's portion, so I can test them—will they follow my instruction or not? Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Nzija kubatonnyeseza emmere ng’eva mu ggulu. Abantu banaakuŋŋaanyanga buli lunaku ekitundu eky’olunaku olwo; ndyoke mbagezese ndabe obanga banaakwatanga amateeka gange, oba tebaagakwatenga.
5 On the sixth day, they will prepare what they bring in—twice what they gather daily." Ku lunaku olw’omukaaga bwe banaabanga bakuŋŋaanya emmere ey’olunaku olwo, bakuŋŋaanyanga eyenkanaankana n’ey’ennaku bbiri.”
6 Moses and Aaron told all Israel's people, "At evening you will know it was our Father who brought you out of the land of Egypt, Awo Musa ne Alooni ne bagamba abaana ba Isirayiri bonna nti, “Obudde nga buwungeera, we munaategeerera nga Mukama ye yabaggya mu nsi y’e Misiri:
7 in the morning you'll see the glory of our Father—he's heard your grumbling against him. What are we, that you grumble against us?" ate enkya lwe munaalaba ekitiibwa kya Mukama, kubanga awulidde nga mumwemulugunyiza. Kubanga naffe ffe b’ani mmwe okutwemulugunyiza?”
8 Moses said, "When our Father gives you meat to eat in the evening and all the bread you want in the morning, since he heard your grumbling against him—what are we? Your grumbling isn't against us, but against our Father." Musa n’ayongera okubagamba nti, “Mujja kwongera okutegeera Mukama, olweggulo nga buwungeera bw’anaabawa ennyama ne mulya, ate enkya n’abawa emmere ebamala: kubanga Mukama awulidde nga mumwemulugunyiza. Naffe ffe b’ani? Temwemulugunyiza ffe, wabula Mukama.”
9 Moses told Aaron, "Tell all Israel's community, 'Come near before our Father—he's heard your grumbling.'" Awo Musa n’agamba Alooni nti, “Tegeeza ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri nti, ‘Musembere awali Mukama, kubanga awulidde okwemulungunya kwammwe!’ ”
10 Aaron spoke to all Israel's people; they looked toward the wilderness, and our Father's glory appeared in the cloud. Awo olwatuuka, Alooni bwe yali ng’akyategeeza ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri, ne batunula mu ddungu; era, laba, ekitiibwa kya Mukama ne kirabikira mu kire.
11 And our Father said to Moses, Mukama n’ayogera ne Musa, ng’agamba nti,
12 "I have heard Israel's grumbling. Tell them: At twilight you will eat meat; in the morning you will be filled with bread. Then you will know I am your Father." “Mpulidde okwemulugunya kw’abaana ba Isirayiri. Bagambe nti, ‘Obudde nga buwungeera munaalya ennyama, n’enkya munakkusibwa emmere. Bwe mutyo munaategeera nga nze Mukama Katonda wammwe.’ ”
13 That evening quail came and covered the camp; in the morning a layer of dew lay around it. Obudde nga buwungeera enkwale ne zijja ne zijjula olusiisira; ne mu makya ne wabaawo omusulo ku ttaka mu lusiisira.
14 When the layer of dew lifted, fine flakes, fine as frost, covered the wilderness surface. Omusulo nga gwamuse ng’obudde bukaze, laba, ku ttaka ne kulabikako obuntu obutono obwekulungirivu obufaanana ng’omusulo ogukutte olw’obunnyogovu obungi.
15 Seeing it, the Israelites asked each other, "What is this?"—not knowing what it was. Moses said, "This is the bread our Father has given you to eat." Abaana ba Isirayiri bwe baabulaba ne beebuzaganya nti, “Kiki kino?” Kubanga baali tebakimanyi. Musa n’abategeeza nti, “Eno ye mmere Mukama gy’abawadde okulya.
16 This is what our Father has commanded: "Gather what each person can eat, about two quarts per head, for everyone in your tent." Mukama alagidde bw’ati nti, ‘Buli muntu akuŋŋaanye gy’anaamalawo. Buli muntu ali mu weema zammwe mumukuŋŋaanyize kilo bbiri.’ ”
17 And the people of Israel did so. They gathered, some more, some less. Abaana ba Isirayiri ne bakola nga bwe baalagirwa; abamu ne bakuŋŋaanya nnyingi, n’abalala ntono.
18 But when measured by the two-quart measure, whoever gathered much had no surplus, and whoever gathered little had no shortage—each gathered exactly what he could eat. Bwe baagipimiranga mu kabakuli aka oma, ze lita ebbiri, oyo eyali akuŋŋaanyizza ennyingi teyasukkirizanga, n’oyo ow’entono nga teyeeseera. Buli muntu yakuŋŋaanyanga ng’okwetaaga kwe bwe kwabanga.
19 And Moses said to them, "Let no one leave any of it over until the morning." Musa n’abagamba nti, “Tewabaawo omuntu n’omu agifissaako okutuusa enkeera.”
20 They didn't listen to Moses—some left part until morning; it bred worms and stank. Moses was angry with them. Kyokka abamu Musa tebaamufaako; ne beeterekerako okutuusa enkeera; n’ezaala envunyu, era n’ewunya. Musa n’abasunguwalira.
21 Morning by morning they gathered it, each according to his eating; when the sun grew hot, it melted. Buli nkya ne bakuŋŋaanyanga buli omu gye yayinzanga okulya nga anaagimalawo; naye akasana bwe kaayakanga nga kakazizza, n’esaanuuka.
22 On the sixth day they gathered double the bread, about four quarts each, and all the leaders of the community came and told Moses. Awo ku lunaku olw’omukaaga ne bakuŋŋaanya emmere ya mirundi ebiri, ze kilo nnya buli muntu; abakulembeze bonna mu kibiina ne bajja ne bategeeza Musa.
23 He told them, "This is what our Father said: Tomorrow is a solemn rest, a holy Sabbath to your Father. Bake what you'll bake, boil what you'll boil, and keep whatever's left until morning." N’abagamba nti, “Mukama yalagidde bw’ati nti, ‘Enkya lunaaba lunaku lwa kuwummula, ye Ssabbiiti ya Mukama Entukuvu. Leero mwokye emmere yammwe gye mwetaaga okwokya, era mufumbe gye mwagala okufumba; eneeba esigaddewo mugyeterekere okutuusa enkya.’ ”
24 So they set it aside until morning, as Moses commanded, and it did not stink or breed worms. Bwe batyo ne bagyeterekera okutuusa enkeera, nga Musa bwe yabalagira; n’etewunya wadde okuzaala envunyu.
25 Moses said, "Eat it today; today is a Sabbath to our Father; today you won't find it in the field. Musa n’abagamba nti, “Eyo mugirye leero, kubanga leero ye Ssabbiiti ya Mukama, ku ttaka temujja kusangako mmere.
26 Six days you are to gather it, but on the seventh day, the Sabbath, there will be none." Mu nnaku omukaaga mujjanga kugikuŋŋaanya, naye ku lunaku olw’omusanvu, olwa Ssabbiiti, emmere teebeerengawo.”
27 On the seventh day some of the people went out to gather, but they found none. Naye era abamu ku bantu baafuluma ku lunaku olw’omusanvu bagikuŋŋaanye, naye tebaasangayo kantu.
28 And our Father said to Moses, "How long will you refuse to keep my commandments and my instructions? Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Mulituusa ddi nga mukyajeemera ebiragiro byange?
29 See, I have given you the Sabbath; so on the sixth day I give you two days' bread. Everyone, stay in your place; no one may leave your place on the seventh day." Mutegeere nga Mukama abawadde Ssabbiiti; ku lunaku olw’omukaaga kyava abawa emmere ya nnaku bbiri. Buli muntu abeerenga mu maka ge nga tafulumye n’akatono ku lunaku olw’omusanvu.”
30 So the people rested on the seventh day. Abantu bwe batyo ne bawummula ku lunaku olw’omusanvu.
31 The house of Israel named it "manna"; it was like coriander seed, white, and tasted like honey wafers. Ab’omu nnyumba ya Isirayiri, emmere eyo ne bagiyitanga maanu. Yali efaanana ng’akasigo ka koliyanda, nga njeru; ng’ewoomerera ng’obusukuuti obufumbiddwa n’omubisi gw’enjuki.
32 Moses said, "This is what our Father commanded: 'Keep about two quarts of it for your generations, so they may see the bread I fed you in the wilderness when I brought you out of the land of Egypt.'" Musa n’agamba nti, “Mukama alagidde bw’ati nti, ‘Muddire akabakuli aka kilo bbiri mukajjuze maanu mugiterekere ab’emirembe egigenda okujja; balyoke balabe ku mmere gye nabaliisanga mu ddungu, bwe nabaggya mu nsi y’e Misiri.’ ”
33 Moses told Aaron, "Take a jar, fill it with about two quarts of manna, and set it before our Father, kept through your generations." Musa n’agamba Alooni nti, “Ddira akabakuli osseemu maanu ejjuza oma, ze lita bbiri, obungi, ogisse awali Mukama, eterekerwe ab’emirembe egigenda okujja.”
34 As our Father commanded Moses, so Aaron placed it before the testimony to be kept. Bw’atyo Alooni n’ateeka maanu awali Endagaano, ekuumirwe awo, nga Mukama bwe yalagira Musa.
35 The Israelites ate manna forty years, until they reached a settled land. They ate manna until they reached the border of the land of Canaan. Abaana ba Isirayiri ne balya maanu okumala emyaka amakumi ana, okutuusa lwe baatuuka mu nsi omuli abantu. Baalya maanu okutuusa lwe baatuuka ku nsalo ya Kanani.
36 (An omer holds about two quarts—one-tenth of an ephah.). Oma emu yenkana kimu kya kkumi ekya efa.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]