Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Exodus 18 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Jethro, priest of Midian, Moses' father-in-law, heard all our Father did for Moses and Israel his people, bringing Israel out of Egypt. Yesero, kabona w’e Midiyaani, era kitaawe wa mukyala wa Musa, n’awulira byonna Katonda bye yakolera Musa n’abantu be, Abayisirayiri; era nga Mukama yaggya Isirayiri mu Misiri.
2 Now Jethro, Moses' father-in-law, had taken in Zipporah, Moses' wife, after Moses had sent her home, Ye yalabiriranga Zipola, mukyala wa Musa; kubanga Musa yali amuzzizza ewaabwe ng’amumulekedde,
3 with her two sons—one named Gershom, for Moses said, "I was a foreigner in a foreign land," ne batabani be babiri. Mutabani we omu yamutuuma Gerusomu, kubanga Musa yagamba nti, “Mbadde mugwira mu nsi etali yange;”
4 the other was named Eliezer, for he said, "the God of my father helped me, and rescued me from Pharaoh's sword." n’erinnya ly’omulala lyali Eryeza, kubanga yagamba nti, “Katonda wa kitange ye yali omubeezi wange, era n’amponya ekitala kya Falaawo.”
5 Jethro, Moses' father-in-law, came with Moses' sons and wife to him at his wilderness camp, the mountain of our Father. Yesero, mukoddomi wa Musa, n’ajja ne batabani ba Musa ne mukyala we eri Musa mu ddungu, we yali asiisidde okuliraana olusozi lwa Katonda.
6 He said to Moses, "I, your father-in-law Jethro, am coming with your wife and her two sons." Yesero yali amutumidde nti, “Nze Yesero mukoddomi wo, nzija okukulabako. Ndi ne mukyala wo ne batabani be bombi.”
7 Moses went out to meet his father-in-law, bowed, and kissed him. They greeted each other and asked after each other's welfare, then went into the tent. Awo Musa n’afuluma n’agenda okwaniriza mukoddomi we; n’akutamako ng’amulamusa, n’amugwa mu kifuba. Ne balamusaganya, n’oluvannyuma ne bayingira mu weema.
8 Moses told his father-in-law all our Father had done to Pharaoh and Egypt for Israel, every hardship they faced on the way, and how he rescued them. Musa n’anyumiza mukoddomi we ebyo byonna Mukama bye yakola Falaawo n’Abamisiri ng’abalanga Isirayiri; n’ebizibu ebyabatuukako mu lugendo lwabe, ne Mukama nga bwe yabibawonya.
9 Jethro rejoiced over all the good our Father had done for Israel, rescuing them from Egypt's hand. Yesero n’asanyuka nnyo okuwulira ebirungi ebyo byonna Mukama bye yakolera Isirayiri, ng’abanunula ku Bamisiri.
10 Jethro said, Blessed is our Father, who rescued you from Egypt's hand and Pharaoh's hand, who rescued the people from under Egypt's hand. Yesero n’agamba nti, “Mukama atenderezebwe eyabanunula mu mikono gy’Abamisiri ne mu mukono gwa Falaawo, n’aggya abantu be mu mikono gy’Abamisiri.
11 Now I know our Father is greater than all gods, for he overcame them in what they were arrogant about. Kaakano ntegedde nga Mukama mukulu wa kitiibwa okukira bakatonda bonna, kubanga yanunula abantu be mu mikono gyabo abaali babeeragirako.”
12 Jethro, Moses' father-in-law, took a burnt offering and sacrifices for our Father; Aaron and all Israel's elders came to eat bread with Moses' father-in-law before our Father. Awo Yesero, mukoddomi wa Musa, n’awaayo eri Katonda ekiweebwayo ekyokye ne ssaddaaka endala; Alooni n’abakulembeze ba Isirayiri bonna ne balya ne mukoddomi wa Musa emmere mu maaso ga Katonda.
13 The next day Moses sat to judge the people, who stood around him from morning to evening. Awo bwe bwakya enkya, Musa n’atuula ku ntebe ye okulamula abantu. Abantu ne bamwetooloola okuva enkya okutuusa akawungeezi.
14 When his father-in-law saw all he did for the people, he said, "What is this you're doing? Why sit alone, everyone standing around you from morning to evening?" Mukoddomi we bwe yalaba Musa bye yali akolera abantu, n’amugamba nti, “Kiki kino ky’okola? Lwaki olamula bw’omu, abantu bano bonna ne bayimirira okukwetooloola okuva ku nkya okutuusa akawungeezi?”
15 Moses said to his father-in-law, "Because the people come to me to seek our Father; Musa n’addamu mukoddomi we nti, “Kubanga abantu bajja gye ndi bategeere Katonda by’ayagala.
16 when they dispute, they come to me; I judge between one and their neighbor, and explain our Father's statutes and laws." Buli lwe babeera n’obutakkiriziganya, bajja gye ndi, ne mbasalirawo, era ne mbategeeza amateeka ga Katonda n’ebiragiro bye.”
17 Moses' father-in-law said to him, "What you are doing is not good. Mukoddomi wa Musa n’amugamba nti, “Ky’okola si kirungi.
18 You and these people will wear out—the task's too heavy for you; you can't do it alone. Ggwe, n’abantu bano bonna abajja gy’oli, mujja kukoowa nnyo. Kubanga omulimu guno munene nnyo; tosobola kugukola bw’omu.
19 Now listen to me: I'll advise you—may our Father be with you. Represent the people before him and bring their cases to him. Nkusaba ompulirize nkusalire ku magezi, ne Katonda ng’ali naawe. Osaana obeere omubaka w’abantu ewa Katonda, era omutuusengako ensonga zaabwe.
20 Warn them of the statutes and laws, and show the way to walk and work to do. Bayigirize amateeka n’ebiragiro, era obalage nga bwe basaana okweyisanga, awamu n’emirimu gye basaanidde okukola.
21 From all the people, select capable men who fear our Father, truthful and hating unjust gain; set them as leaders of thousands, of hundreds, of fifties, and of tens. Londayo abasajja abalina ebisaanyizo, ng’obaggya mu bantu bonna, abasajja abatya Katonda, ab’amazima era abatalya nguzi; obawe obukulembeze, ng’abamu bavunaanyizibwa abantu enkumi, n’abalala abantu ebikumi, n’abamu ebibiina eby’ataano n’abalala eby’ekkumi kkumi.
22 Let them judge the people at all times, bringing you every major matter but deciding every minor matter themselves—lightening your load as they carry it with you. Bawe obuyinza okulamulanga abantu ebbanga lyonna, naye ng’emisango emizibu bagikuleetera, emisango emyangu bo bagisalenga. Ekyo kinaawewulanga ku buzito bw’omugugu gwo, kubanga banaabanga bagukukwatirako.
23 If you do this and our Father commands you, you'll endure, and all these people will go to their place in peace." Singa okola bw’otyo, nga ne Katonda bw’akulagidde, ojja kusobola okugumira emirimu egyo, era n’abantu bano bonna balyoke baddeyo ewaabwe nga basanyuse.”
24 So Moses listened to his father-in-law and did all that he had said. Musa bw’atyo n’awuliriza amagezi gonna mukoddomi we ge yamuwa, n’akolera ku ebyo byonna bye yamubuulirira.
25 Moses chose able men from all Israel and made them heads over the people—leaders of thousands, of hundreds, of fifties, and of tens. Musa n’alonda mu Isirayiri yonna abasajja abasobola, n’abafuula abakulembeze b’abantu; nga bavunaanyizibwa enkumi, n’abalala ebikumi, n’abamu amakumi ataano ataano, n’abalala kkumi kkumi.
26 They judged the people at all times, bringing hard cases to Moses but judging small matters themselves. Ne balamula abantu ebbanga lyonna. Emisango emizibu nga bagireetera Musa, naye emyangu nga bagisala.
27 Then Moses sent his father-in-law on his way, and he went back to his own land. Awo Musa n’asiibula mukoddomi we, mukoddomi we n’akwata ekkubo ne yeddirayo mu nsi y’ewaabwe.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]